Zabbuli 3
3
Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka Abusaalomu mutabani we.
1 #
2 Sam 15:12
Mukama, abalabe bange nga beeyongedde!
Abagolokoka okunnumba bangi.
2 #
Zab 71:11
Bangi aboogera ku mmeeme yange,
Nti Talina kuyambwa mu Katonda. (Seera)
3 #
Lub 15:1, Zab 27:6; 28:7; 119:114 Naye ggwe, Mukama, oli ngabo enkuuma;
Ekitiibwa kyange, era ayimiriza omutwe gwange.
4 #
Zab 2:6
N'eddoboozi lyange nkoowoola Mukama,
Naye anziramu okuva ku lusozi lwe olutukuvu. (Seera)
5 #
Zab 4:8, Nge 3:24 Naagalamira ne nneebaka;
Ne nzuukuka; kubanga Mukama ye ankuuma.
6 #
Zab 27:3, Zab 84:3 Siritya bukumi bwa bantu,
Abanneetooloola okunnumba.
7 #
Zab 10:12; 58:6 Golokoka, ai Mukama: ondokole, ai Katonda wange:
Kubanga wakuba abalabe bange bonna ku ttama;
Wamenya amannyo g'ababi.
8 #
Zab 37:39, Nge 21:31, Yer 3:23, Yon 2:9 Obulokozi buli eri Mukama:
Omukisa gwo gubeere ku bantu bo. (Seera)
Currently Selected:
Zabbuli 3: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.