YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 2

2
1 # Zab 46:6 # Bik 4:25,26 Kiki ekibagugumusizza ab'amawanga,
N'abantu kiki ekibalowoozesezza ekitaliimu?
2 # Zab 18:50; 45:7 Bakabaka ab'ensi beeteeseteese,
N'abafuga bateesezza ebigambo wamu,
Ku Mukama ne ku Masiya we nga boogera nti
3 # Yer 5:5 Ka tumenyemenye enjegere zaabwe,
Tusuule wala emigwa gyabwe.
4 # Zab 11:4; 37:13, Nge 1:26 Atuula mu ggulu aliseka,
Mukama alibaduulira.
5Mu biro biri alibagamba mu busungu bwe,
Alibateganya mu kiruyi kye ekingi:
6 # Zab 3:4; 15:1; 43:3 Naye naateeka kabaka wange
Ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.
7 # Bik 13:33, Beb 1:5; 5:5 Ekiragiro ndikibuulira:
Mukama yaŋŋamba nti Ggwe oli mwana wange;
Leero nkuzadde.
8 # Zab 72:8, Dan 7:14 Onsabe nze, nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo,
N'ensonda ez'ensi okubeera amatwale go.
9 # Is 30:14, Kub 2:27 Olibimenya n'omuggo ogw'ekyuma;
Olibyasayasa ng'entamu ey'omubumbi.
10Kale kaakano mubeere n'amagezi, mmwe bakabaka:
Muyige, mmwe abasala omusango gw'ensi.
11 # Beb 12:28 Muweereze Mukama n'okutya,
Era musanyuke n'okukankana.
12 # Zab 34:8; 84:12, Yer 17:7 Munywegere omwana, aleme okusunguwala, nammwe ne mubula mu kkubo,
Kubanga obusungu bwe bulibuubuuka mangu.
Balina omukisa bonna abamweyuna ye.

Currently Selected:

Zabbuli 2: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in