YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 4

4
Ya mukulu w'abayimbi; ya bintu eby'engoye. Zabbuli ya Dawudi.
1 # Yer 23:6 Onziremu bwe nkukaabira, ai Katonda ow'obutuukirivu bwange;
Wansumulula bwe nnali mu nnaku:
Onsaasire, ompulire okusaba kwange.
2Mmwe abaana b'abantu, mulituusa wa okukyusa ekitiibwa kyange mu nsonyi?
Mulituusa wa okwagala ebitaliimu, n'okugoberera eby'obulimba? (Seera)
3 # Kuv 33:16 Naye mutegeere nga Mukama yeeterekedde atya Katonda:
Mukama anaawuliranga bwe nnaamukoowoolanga.
4 # Zab 77:6, Bef 4:26 Muyimirire nga mutya, muleme okwonoona:
Mulowooze mu mutima gwammwe ku kitanda kyammwe, musiriikirire.
5 # Ma 33:19, Zab 37:3; 51:19 Muweeyo esaddaaka ez'obutuukirivu,
Era mwesige Mukama.
6 # Kubal 6:26, Zab 89:15 Waliwo bangi aboogera nti Ani alitulaga ekintu ekirungi?
Mukama, ggwe oyimuse omusana ogw'amaaso go ku ffe.
7 # Is 9:3 Otadde essanyu mu mutima gwange,
Okusinga ery'omu kyengera ky'emmere n'omwenge gwabwe.
8 # Leev 25:18,19, Zab 3:5 Mu butatya naagalamiranga ne nneebaka:
Kubanga ggwe wekka, Mukama, ontuusa mu mirembe.

Currently Selected:

Zabbuli 4: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in