YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 3

3
Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka Abusaalomu mutabani we.
1 # 2 Sam 15:12 Mukama, abalabe bange nga beeyongedde!
Abagolokoka okunnumba bangi.
2 # Zab 71:11 Bangi aboogera ku mmeeme yange,
Nti Talina kuyambwa mu Katonda. (Seera)
3 # Lub 15:1, Zab 27:6; 28:7; 119:114 Naye ggwe, Mukama, oli ngabo enkuuma;
Ekitiibwa kyange, era ayimiriza omutwe gwange.
4 # Zab 2:6 N'eddoboozi lyange nkoowoola Mukama,
Naye anziramu okuva ku lusozi lwe olutukuvu. (Seera)
5 # Zab 4:8, Nge 3:24 Naagalamira ne nneebaka;
Ne nzuukuka; kubanga Mukama ye ankuuma.
6 # Zab 27:3, Zab 84:3 Siritya bukumi bwa bantu,
Abanneetooloola okunnumba.
7 # Zab 10:12; 58:6 Golokoka, ai Mukama: ondokole, ai Katonda wange:
Kubanga wakuba abalabe bange bonna ku ttama;
Wamenya amannyo g'ababi.
8 # Zab 37:39, Nge 21:31, Yer 3:23, Yon 2:9 Obulokozi buli eri Mukama:
Omukisa gwo gubeere ku bantu bo. (Seera)

Currently Selected:

Zabbuli 3: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in