Omu, Mwoyo amuwa okwogera eby'amagezi, omulala, Mwoyo ye omu n'amuwa okutegeera. Omulala, Mwoyo ye omu amuwa okukkiriza, n'omulala n'amuwa obuyinza obw'okuwonya abalwadde. Omu, Mwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, n'omulala n'amuwa okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda; ate omulala n'amuwa okumanya emyoyo emirungi n'emibi. Omulala amuwa okwogera ennimi, n'omulala n'amuwa okuzivvuunula.