Era bw'atyo bwe yakola ne ku kikopo. Bwe baamala okulya, n'agamba nti: “Ekikopo kino ye ndagaano empya ekoleddwa Katonda, n'ekakasibwa n'omusaayi gwange. Buli lwe munaakinywangako, mukinywengako olw'okunjijukira.” Buli lwe munaalyanga ku mugaati guno, era buli lwe munaanywanga ku kikopo kino, munaategeezanga abantu okufa kwa Mukama, okutuusa lw'alijja.