1 ABAKORINTO 12
12
Ebirabo Mwoyo Mutuukirivu by'agaba
1Abooluganda, njagala mutegeere ebifa ku birabo ebigasa omwoyo. 2Mumanyi nti bwe mwali mukyali bantu ab'ensi, mwabuzibwabuzibwanga ne mutwalibwa eri ebyo ebitali Katonda, era ebitayogera. 3Kyenva njagala mutegeere nti tewali muntu n'omu, Mwoyo wa Katonda gw'ayogeza, n'agamba nti: “Yesu avumirirwe!” Era tewali n'omu agamba nti: “Yesu ye Mukama,” wabula nga Mwoyo Mutuukirivu ye akimwogezezza.
4Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Mwoyo abigaba ye omu.#Laba ne Bar 12:6-8 5Waliwo engeri nnyingi ez'okuweerezaamu, naye Mukama aweerezebwa ye omu. 6Waliwo okukola kwa ngeri nnyingi, kyokka Katonda ye omu asobozesa bonna mu buli kye bakola.
7Mwoyo alabikira mu buli omu olw'okugasa bonna. 8Omu, Mwoyo amuwa okwogera eby'amagezi, omulala, Mwoyo ye omu n'amuwa okutegeera. 9Omulala, Mwoyo ye omu amuwa okukkiriza, n'omulala n'amuwa obuyinza obw'okuwonya abalwadde. 10Omu, Mwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, n'omulala n'amuwa okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda; ate omulala n'amuwa okumanya emyoyo emirungi n'emibi. Omulala amuwa okwogera ennimi, n'omulala n'amuwa okuzivvuunula. 11Naye Mwoyo akola ebyo byonna ye omu, ye agabira bonna nga bw'ayagala.
Omubiri gumu
12Kristo afaanaanyirizibwa n'omubiri. Newaakubadde nga gulina ebitundu bingi, naye gusigala nga guli gumu.#Laba ne Bar 12:4-5 13Bwe tutyo naffe ffenna, Abayudaaya n'ab'amawanga amalala, abaddu n'ab'eddembe, twabatizibwa Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, era ffenna twafuna Mwoyo omu.
14Omubiri teguba na kitundu kimu, naye guba n'ebitundu bingi. 15Singa ekigere kigamba nti: “Siri mukono, n'olwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikiggyaako kubeera kitundu kya mubiri. 16Era singa okutu kugamba nti: “Siri liiso, n'olwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikuggyaako kubeera kitundu kya mubiri. 17Singa omubiri gwonna gwali liiso, okuwulira kwandibadde wa? Era singa omubiri gwonna gwali kutu, okuwunyiriza kwandibadde wa? 18Naye kaakano Katonda yateeka mu mubiri ebitundu ebyenjawulo, nga bwe yayagala. 19Singa byonna byali ekitundu kimu, olwo omubiri gwandibadde wa? 20Naye kaakano ebitundu bingi, naye omubiri guli gumu.
21Eriiso teriyinza kugamba mukono nti: “Ggwe sikwetaaga,” wadde omutwe okugamba ebigere nti: “Mmwe sibeetaaga.” 22Naye mu mazima, ebitundu by'omubiri ebirabika ng'ebisinga obunafu, bye bisinga okwetaagibwa. 23Era ebitundu ebyo eby'omubiri bye tulowooza okuba ebinyoomebwa, bye tusinga okwambaza ekitiibwa, n'ebyo ebitalabika bulungi, bye tusinga okuwa ekitiibwa ekingi, 24ebitundu byaffe ebisinga obulungi kye biteetaaga.
Bw'atyo Katonda bwe yatereeza omubiri, ebitundu ebinyoomebwa n'abiwa ekitiibwa ekisinga obunene, 25omubiri guleme kwesalaasalamu, wabula ebitundu byagwo bikolaganirenga wamu. 26Ekitundu ekimu bwe kirumwa, n'ebirala byonna birumirwa wamu nakyo. Era ekitundu ekimu bwe kiweebwa ekitiibwa, ebitundu byonna bisanyukira wamu nakyo.
27Kale mwenna muli mubiri gwa Kristo, era buli omu mu mmwe kitundu kyagwo. 28Era mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, Katonda yateekamu abantu: abasooka be batume, abaddako be balanzi, ne kuddako abayigiriza, ne kuddako abakozi b'ebyamagero, abawonya abalwadde, abayambi b'abantu, abafuzi, era n'aboogera ennimi.#Laba ne Beef 4:11
29Bonna batume? Bonna balanzi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyamagero? 30Bonna balina ebirabo eby'okuwonya abalwadde? Bonna boogera ennimi? Bonna bavvuunula ennimi? 31Kale mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu. Era ka mbalage ekkubo erisingira ddala obulungi.
Currently Selected:
1 ABAKORINTO 12: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.