1
1 ABAKORINTO 13:4-5
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Okwagala kugumiikiriza era kulina ekisa. Okwagala tekuba na buggya. Okwagala tekwenyumiikiriza era okwagala tekwekulumbaza. Tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo byokka, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo.
Compare
Explore 1 ABAKORINTO 13:4-5
2
1 ABAKORINTO 13:7
Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, era kugumiikiriza byonna.
Explore 1 ABAKORINTO 13:7
3
1 ABAKORINTO 13:6
Okwagala tekusanyukira butali bwenkanya, wabula kusanyukira mazima.
Explore 1 ABAKORINTO 13:6
4
1 ABAKORINTO 13:13
Naye kaakano ebiriwo biri bisatu: okukkiriza, okusuubira, era n'okwagala. Naye ekisinga obukulu, kwe kwagala.
Explore 1 ABAKORINTO 13:13
5
1 ABAKORINTO 13:8
Ne bwe wabaawo obulanzi, bulivaawo. Ne bwe wabaawo ekirabo eky'okwogera ennimi, kirikoma. Ne bwe wabaawo amagezi, galiggwaawo. Naye okwagala tekuggwaawo.
Explore 1 ABAKORINTO 13:8
6
1 ABAKORINTO 13:1
Ne bwe njogera ennimi z'abantu n'eza bamalayika, naye ne siba na kwagala, mba ng'ekide ekimala gavuga, oba ng'ebirebe ebikubagana.
Explore 1 ABAKORINTO 13:1
7
1 ABAKORINTO 13:2
Ne bwe mba n'ekirabo eky'obulanzi, ne ntegeera ebyama byonna, era ne mmanya ebintu byonna, era ne bwe mba n'okukkiriza kwonna, okunsobozesa n'okusiguukulula ensozi, naye ne siba na kwagala, mba siriiko kye ngasa.
Explore 1 ABAKORINTO 13:2
8
1 ABAKORINTO 13:3
Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuliisa abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne gwokebwa, naye nga sirina kwagala, sibaako kye ngasiddwa.
Explore 1 ABAKORINTO 13:3
9
1 ABAKORINTO 13:11
Bwe nali nkyali muto, nayogeranga ng'omuto. Naye bwe nakula, ne ndeka eby'obuto.
Explore 1 ABAKORINTO 13:11