OKUBALA 20
20
Ebyaliwo e Kadesi
(Laba ne Kuv 17:1-7)
1Mu mwezi ogusooka, ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kituuka mu Ddungu ly'e Ziini, ne kisiisira e Kadesi. Miriyamu n'afiira eyo, era n'aziikibwa eyo.
2Ekibiina kyonna ne kitaba na mazzi, abantu ne bakuŋŋaanira ku Musa ne Arooni nga beemulugunya.#Laba ne Kuv 17:1-7 3Ne bayombesa Musa nga bagamba nti: “Singa twafa baganda baffe lwe baafiira mu maaso ga Mukama! 4Lwaki mwaleeta ekibiina kya Mukama mu ddungu lino? Mwagala tufiire muno, n'amagana gaffe? 5Era lwaki mwatuggya e Misiri, ne mutuleeta mu kifo kino ekibi, omutali ŋŋaano, omutali mitiini, omutali mizabbibu, omutali makomamawanga, era omutali wadde amazzi ag'okunywa?” 6Musa ne Arooni ne bava mu maaso g'ekibiina, ne bagenda ku mulyango gw'Eweema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, ne beeyala ku ttaka nga beevuunise, ekitiibwa kya Mukama ne kibalabikira.
7Mukama n'agamba Musa nti: 8“Kwata omuggo ogwo, okuŋŋaanye ekibiina, ng'oli wamu ne Arooni muganda wo, mulagire olwazi olwo, bonna nga balaba, luveemu amazzi. Obaggyire amazzi mu lwazi, bw'otyo onywese ekibiina ky'abantu n'amagana gaabwe.” 9Musa n'aggya omuggo ku Ssanduuko ey'Endagaano, nga Mukama bwe yamulagira. 10Musa ne Arooni ne bakuŋŋaanyiza ekibiina mu maaso g'olwazi. Musa n'agamba abantu nti: “Bajeemu mmwe, muwulirize! Tuyinza okubaggyira amazzi mu lwazi luno?” 11Musa n'agalula omuggo n'agukubisa olwazi emirundi ebiri, amazzi mangi ne gawamatukamu. Abantu bonna ne banywa era n'amagana gaabwe.
12Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Nga bwe mutanneesize, ne mutampeesa kitiibwa mu maaso g'Abayisirayeli, temuliyingiza kibiina ky'abantu bano mu nsi bo gye mbawa.”
13Ago ge mazzi g'e Meriba,#20:13 Meriba: Mu Lwebureeyi kitegeeza “Mpaka.” Abayisirayeli gye baawakanyiza Mukama n'abalaga bw'ali omutuukirivu.
Abeedomu bagaana Abayisirayeli okuyita mu nsi yaabwe
14Awo Musa ng'ali e Kadesi, n'atuma ababaka eri kabaka wa Edomu okumutegeeza nti baganda be Abayisirayeli bagamba nti: “Omanyi bulungi ebizibu byonna ebyatutuukako. 15Bajjajjaffe baagenda e Misiri, ne tubeera mu Misiri okumala emyaka mingi. Abamisiri ne batubonyaabonya ffe ne bajjajjaffe. 16Twakaabirira Mukama atuyambe, n'awulira okukaaba kwaffe, n'atuma omubaka n'atuggya e Misiri. Kaakano tuutuno tuli Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n'ensi yo. 17Tukwegayiridde, tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetujja kulinnyako mu nnimiro n'emu, wadde ey'emizabbibu, era tetujja kunywa ku mazzi ag'omu nzizi zammwe. Tujja kutambulira mu luguudo mwokka, awatali kuwunjawunjako ku ddyo oba ku kkono, okutuusa lwe tulimala okuyita mu nsi yo.”
18Naye Abeedomu ne bamuddamu nti: “Tojja kuyita mu nsi yaffe. Bw'onoogezaako okuyitamu, tujja kukwata ebyokulwanyisa tukulwanyise.”
19Abayisirayeli ne bagamba nti: “Tujja kutambulira mu luguudo mwokka, era ffe n'amagana gaffe, buli lwe tunaanywa ku mazzi gammwe, tujja kugasasulira. Tusaba kimu kyokka: mutukkirize tuyitemu buyisi.”
20Abeedomu ne bagamba nti: “Temujja kuyitamu.” Ne basindika eggye eddene n'ebyokulwanyisa eby'amaanyi okulumba Abayisirayeli. 21Bwe batyo Abeedomu ne bagaana Abayisirayeli okuyita mu nsi yaabwe. Abayisirayeli ne bakyuka ne bakwata ekkubo eddala.
Okufa kwa Arooni
22Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kiva e Kadesi, ne kitambula, ne kituuka ku Lusozi Hoori, 23ku nsalo ne Edomu. Nga bali eyo, Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: 24“Arooni ajja kufa yeegatte ku bajjajjaabe. Tajja kuyingira mu nsi gye mpa Abayisirayeli, kubanga mmwe mwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku mazzi ag'e Meriba. 25Twala Arooni ne Eleyazaari mutabani we, oyambuke nabo ku Lusozi Hoori. 26Arooni omwambulemu ebyambalo bye eby'obwakabona, obyambaze Eleyazaari mutabani we. Arooni ajja kufiira eyo, yeegatte ku bajjajjaabe.”
27Musa n'akola nga Mukama bwe yalagira. Ne bambuka ku Lusozi Hoori, ng'ekibiina kyonna kiraba. 28Musa n'ayambulamu Arooni ebyambalo eby'obwakabona, n'abyambaza Eleyazaari mutabani wa Arooni. Arooni n'afiira eyo ku ntikko y'olusozi. Olwo Musa ne Eleyazaari ne baserengeta ne bava ku lusozi.#Laba ne Kuv 29:29; Kubal 33:38; Ma 10:6 29Awo ekibiina ky'Abayisirayeli bwe kyamanya nga Arooni afudde, ne kimukungubagira okumala ennaku amakumi asatu.
Currently Selected:
OKUBALA 20: LB03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.