OKUBALA 21
21
Abakanaani bazikirizibwa
1Araadi, Kabaka Omukanaani, eyabeeranga mu kitundu kya Kanaani eky'ebukiikaddyo, bwe yawulira ng'Abayisirayeli bajja, nga bakutte ekkubo ly'e Atariimu, n'agenda okubalwanyisa, n'awamba abamu ku bo.#Laba ne Kubal 33:40 2Abayisirayeli ne beeyama obweyamo eri Mukama ne bagamba nti: “Bw'onooweerayo ddala abantu bano mu mikono gyaffe, tujja kuzikiririza ddala ebibuga byabwe.” 3Mukama n'akkiriza Abayisirayeli kye baasaba, n'abawa okuwangula Abakanaani, ne babazikiririza ddala, bo n'ebibuga byabwe. Ekifo ne kituumibwa erinnya Horuma.#21:3 Horuma: Mu Lwebureeyi “Hormah” ekitegeeza “Okuzikirizibwa.”
Omusota ogw'ekikomo
4Abayisirayeli ne bava ku Lusozi Hoori, ne batambula, nga bakutte ekkubo eridda ku Nnyanja Emmyufu, basobole okwetooloola ensi ya Edomu. Abantu ne beetamwa olw'olugendo,#Laba ne Ma 2:1 5ne boogera bubi ku Katonda ne ku Musa nti: “Lwaki mwatuggya e Misiri? Mwatuleeta tufiire mu ddungu? Tewali mmere, tewali mazzi. N'okwetamwa twetamiddwa ekyokulya kino ekitalina bwe kiri.”#Laba ne 1 Kor 10:9
6Awo Mukama n'asindika emisota egy'obusagwa, era bangi ku Bayisirayeli ne bafa. 7Abantu ne bajja eri Musa, ne bagamba nti: “Twakola kibi bwe twayogera obubi ku Katonda ne ku ggwe. Weegayirire Mukama atuggyeko emisota.” Musa n'asabira abantu. 8Mukama n'agamba Musa nti: “Kola omusota ogufaanana egyo egy'obusagwa, oguwanike ku mulongooti. Buli anaaba alumiddwa omusota, bw'anaatunula ku ogwo, anaawona.” 9Musa n'aweesa omusota ogw'ekikomo, n'aguwanika ku mulongooti. Awo buli eyabanga alumiddwa omusota, bwe yatunuuliranga omusota ogwo ogw'ekikomo, ng'awona.#Laba ne 2 Bassek 18:4; Yow 3:14
Okuva ku Lusozi Hoori okutuuka mu Kiwonvu ky'e Mowaabu
10Abayisirayeli ne batambula, ne basiisira mu Obooti. 11Bwe baava mu Obooti, ne basiisira mu Yiye-Abariimu, mu ddungu eryolekera Mowaabu, ku ludda olw'ebuvanjuba. 12Bwe baava eyo, ne batambula ne basiisira mu Kiwonvu ky'e Zeredi. 13Bwe baava eyo, ne batambula ne basiisira emitala w'Omugga Arunoni, oguli mu ddungu erituuka ne mu nsi y'Abaamori. Omugga Arunoni gwe gwawula ensi y'Abamowaabu ku y'Abaamori. 14Mu Kitabo ky'Entalo za Mukama kyebava bagamba nti:
“Waaheebu mu Suufa
n'ebiwonvu bya Arunoni,
15okukkirira mu biwonvu,
okutuuka ku Kibuga Ari,
okuliraana ensalo ne Mowaabu.”
16Bwe baava eyo ne batambula, ne batuuka ku Beeri. Olwo lwe luzzi Mukama lwe yagamba Musa nti:
“Kuŋŋaanya abantu,
Ŋŋenda kubawa amazzi.”
17Abayisirayeli ne bayimba oluyimba luno nti:
“Muluyimbire!
Ggwe oluzzi,
sumulula ensulo zo.
18Oluzzi olwasimwa abakulu,
abakungu b'abantu,
nga balagirwa omufuzi.
Baalusimisanga miti
gye bakwata: gye miggo.”
Ne bava mu ddungu, ne bagenda e Mataana. 19Bwe baava e Mataana, ne bagenda e Nahaliyeeli. Bwe baava e Nahaliyeeli ne batuuka e Bamooti. 20Bwe baava e Bamooti, ne batuuka mu kiwonvu ekiri mu nsi y'Abamowaabu, ku ntikko y'Olusozi Pisuga, okulengererwa eddungu.
Bakabaka Sihoni ne Ogi bawangulwa
(Laba ne Ma 2:26–3:11)
21Abayisirayeli ne batuma ababaka eri Sihoni, Kabaka w'Abaamori, okumugamba nti: 22“Tukwegayiridde, tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetujja kuwunjawunjako mu nnimiro n'emu, wadde ey'emizabbibu. Tetujja na kunywa mazzi ga mu nzizi zammwe. Tujja kutambulira mu luguudo mwokka, okutuusa lwe tulimala okuyita mu nsi yo.” 23Kyokka Sihoni n'atakkiriza Bayisirayeli kuyita mu nsi ye. N'akuŋŋaanya abantu be bonna, n'agenda e Yahazi mu ddungu, n'alwanyisa Abayisirayeli. 24Abayisirayeli ne battira abantu be mu lutalo, ne beefuga ensi ye, okuva ku Mugga Arunoni okutuuka ku Mugga Yabboki, kwe kugamba okutuuka ku Bammoni, kubanga ensalo y'Abammoni yali ekuumibwa na maanyi. 25Abayisirayeli ne bawamba ebibuga by'Abaamori byonna, omuli ne Hesubooni, n'obubuga bwonna obwali bukyetoolodde, ne babibeeramu. 26Hesubooni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sihoni kabaka w'Abaamori, eyali amaze okulwanyisa kabaka wa Mowaabu mu kusooka, n'amuwangula, n'awamba ensi ye yonna, okutuukira ddala ku Mugga Arunoni. 27Abayimbi kyebaava bayimba nti:
“Mujje mu Hesubooni
ekibuga kya Sihoni,
mukizimbe buggya kinywezebwe.
28Omuliro gwava mu Hesubooni,
ennimi zaagwo mu kibuga kya Sihoni,
ne gwokya Ari, ekibuga kya Mowaabu,
ne guzikiriza ebifo#21:28 ne guzikiriza ebifo…: Kye kiri mu Bayibuli ey'Oluyonaani, naye mu y'Olwebureeyi kigamba nti: “Abakungu ab'ebifo…” ebigulumivu
ebya Arunoni.#Laba ne Yer 48:45-46
29Nga zibasanze Abamowaabu!
Muzikiridde mmwe
abasinza lubaale Kemosi!
Alese batabani bammwe
bafuuke ababungeese,
ne bawala bammwe
bawambibwe Sihoni,
Kabaka w'Abaamori.
30Naye ffe tubasaanyizzaawo
okuva ku Hesubooni,
okutuuka e Diboni.
Tubazikirizza n'okutuuka e Noofa,
ekituuka ku Medeba.”
31Bwe batyo Abayisirayeli ne bafuukira ddala batuuze mu nsi y'Abaamori. 32Musa n'atuma abantu okuketta Ekibuga Yazeri. Abayisirayeli ne bakiwamba, awamu n'obubuga obwali bukyetoolodde, ne bagobamu Abaamori abaalimu.
33Abayisirayeli ne bakyuka, ne bakwata ekkubo ly'e Basani. Ogi, Kabaka w'e Basani, n'abalumba n'abantu be bonna okubalwanyisiza mu Edereyi. 34Mukama n'agamba Musa nti: “Tomutya, kubanga mmuwaddeyo mu mikono gyo, ye n'abantu be bonna, era n'ensi ye. Onoomukolako kye wakola ku Sihoni, kabaka w'Abaamori, eyabeeranga mu Hesubooni.” 35Awo Abayisirayeli ne batta Ogi ne batabani be, n'abantu be bonna, obutalekaawo n'omu, ne beefunira ensi ye.
Currently Selected:
OKUBALA 21: LB03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.