1
OKUBALA 20:12
Luganda Bible 2003
LB03
Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Nga bwe mutanneesize, ne mutampeesa kitiibwa mu maaso g'Abayisirayeli, temuliyingiza kibiina ky'abantu bano mu nsi bo gye mbawa.”
Compare
Explore OKUBALA 20:12
2
OKUBALA 20:8
“Kwata omuggo ogwo, okuŋŋaanye ekibiina, ng'oli wamu ne Arooni muganda wo, mulagire olwazi olwo, bonna nga balaba, luveemu amazzi. Obaggyire amazzi mu lwazi, bw'otyo onywese ekibiina ky'abantu n'amagana gaabwe.”
Explore OKUBALA 20:8
3
OKUBALA 20:11
Musa n'agalula omuggo n'agukubisa olwazi emirundi ebiri, amazzi mangi ne gawamatukamu. Abantu bonna ne banywa era n'amagana gaabwe.
Explore OKUBALA 20:11
4
OKUBALA 20:10
Musa ne Arooni ne bakuŋŋaanyiza ekibiina mu maaso g'olwazi. Musa n'agamba abantu nti: “Bajeemu mmwe, muwulirize! Tuyinza okubaggyira amazzi mu lwazi luno?”
Explore OKUBALA 20:10