YouVersion Logo
Search Icon

OKUBALA 19

19
Evvu ly'ente eya lukunyu
1Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: 2“Kino kye kiragiro ekiri mu tteeka, Nze Mukama lye nteekawo. Ŋŋamba bwe nti: Gamba Abayisirayeli bakuleetere ente eya lukunyu eteriiko kamogo, era eteteekebwangako kikoligo. 3Mugiwe Eleyazaari kabona, agitwale ebweru w'olusiisira, bagitte ng'alaba. 4Awo Eleyazaari kabona annyike olugalo lwe mu musaayi gwayo, agumansire emirundi musanvu okwolekera obwenyi bw'Eweema Ey'Okunsisinkanirangamu Nze Mukama. 5Ente eyo yonna, okutwaliramu eddiba, n'ennyama, n'omusaayi, n'ebyenda byayo, eyokebwe, nga Eleyazaari kabona, alaba. 6Kabona oyo akwate omuti omwerezi, n'akati aka yisopu, n'ekiwuzi ky'olugoye olumyufu, abisuule mu muliro, ente eyo mw'eyokerwa. 7Olwo Eleyazaari ayoze engoye ze, anaabe omubiri, alyoke ayingire mu lusiisira, wabula asigale nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 8N'omuntu ayokezza ente eyo, ayoze engoye ze, anaabe omubiri, wabula naye asigale nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 9Omuntu omulongoofu ayoole evvu ly'ente eyo, alitereke ebweru w'olusiisira mu kifo ekirongoofu, gye liba likuumirwa. Evvu eryo linaakozesebwanga ekibiina ky'Abayisirayeli, okutegeka amazzi agakozesebwa mu mukolo ogw'okwetukuza, ogukolebwa okuggyawo ebibi.#Laba ne Beb 9:13 10Omuntu ayodde evvu ly'ente eyo, ayoze engoye ze, wabula abe atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Etteeka lino linaabanga lya lubeerera ku Bayisirayeli ne ku bagwira ababeera mu bo.
Obutali bulongoofu obuva ku kukoona ku mulambo
11“Buli anaakoonanga ku mulambo gw'omuntu, anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu. 12Ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw'omusanvu, anaanaabanga amazzi ag'okwetukuza, n'alyoka aba omulongoofu. Kyokka ku lunaku olwo olwokusatu ne ku lunaku olw'omusanvu bw'ateetukuzenga, anaasigalanga nga si mulongoofu. 13Buli akoona ku mulambo gw'omuntu n'ateetukuza, avumaganya Eweema ya Mukama, era anaaboolebwanga mu Bayisirayeli. Anaasigalanga nga si mulongoofu, kubanga tamansiddwako mazzi ag'okwetukuza.
14“Omuntu bw'afiira mu weema,#19:14 mu weema: Oba mu nnyumba. lino lye tteeka: buli ayingira mu weema eyo, na buli aba asangiddwamu, aba atali mulongoofu okumala ennaku musanvu. 15Buli kintu mu weema eyo ekyasaamiridde, ekitabikiddwako kisaanikira,#19:15 ekitabikiddwako kisaanikizo: Mu Lwebureeyi bongerako “Ekisibiddwa ku kyo.” tekiba kirongoofu. 16Era ebweru, buli akoona ku gwe basse obussi, oba ku afudde yekka, oba akoona ku ggumba ly'omufu, oba ku malaalo, taba mulongoofu okumala ennaku musanvu.
17“Olw'okuggyawo obutali bulongoofu, banaatoolanga ku vvu ery'ekitone ky'ente eya lukunyu ekyayokebwa olw'okutukuza, ne baliteeka mu kibya, ne baliyiwamu amazzi agaggyiddwa mu mugga ogukulukuta. 18Omuntu omulongoofu anaakwatanga akati aka yisopu, n'akannyika mu mazzi ago, n'agamansira ku weema, ne ku bintu byamu byonna, ne ku bantu abaagirimu, ne ku oyo eyakoona ku ggumba oba ku gwe basse obussi oba ku afudde yekka oba ku malaalo. 19Ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw'omusanvu, omuntu omulongoofu anaamansiranga ku atali mulongoofu. Ku lunaku olw'omusanvu, anaamutukuzanga. Olwo omuntu oyo atannaba mulongoofu, anaayozanga engoye ze, n'anaaba, n'aba omulongoofu akawungeezi.
20“Omuntu atali mulongoofu bw'ateetukuza, asigala nga si mulongoofu, kubanga amazzi ag'okwetukuza gaba tegamumansiddwako. Era olw'obutaba mulongoofu, avumaganya Weema ya Mukama, era anaaboolebwanga n'ava mu kibiina ky'abantu ba Katonda. 21Etteeka lino munaalikuumanga ennaku zonna. Omuntu amansira amazzi agakozesebwa okutukuza, naye anaayozanga engoye ze. N'oyo anaakoonanga ku mazzi agakozesebwa okutukuza, taabenga mulongoofu okutuuka akawungeezi. 22Buli kintu atali mulongoofu ky'anaakoonangako, kinaafuukanga ekitali kirongoofu, ne buli anaakikoonangako, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.”

Currently Selected:

OKUBALA 19: LB03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for OKUBALA 19