ABAFILIPPI 1
1
Okulamusa
1Nze Pawulo ne Timoteewo abaweereza ba Kristo Yesu, tuwandiikira mmwe abantu ba Katonda abali e Filippi, abassa ekimu ne Kristo Yesu. Era tuwandiikira n'abalabirizi awamu n'abaweereza.#Laba ne Bik 16:12 2Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo babakwatirwe mmwe ekisa era babawe emirembe.
Okwebaza n'okusaba Katonda
3Neebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira, 4era buli lwe mbasabira mwenna eri Katonda, nsaba nga ndi musanyufu, 5kubanga okuviira ddala ku lunaku olwasooka n'okutuusa kaakano, mwetaba wamu nange mu kubunyisa Amawulire Amalungi. 6Nkakasiza ddala nti Katonda eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, alyongera okugukola, okutuusa lwe gulimalirizibwa ku lunaku Kristo Yesu lw'aliddirako.
7Kino kituufu nze okubalowoozaako bwe ntyo mwenna, kubanga temunva ku mutima, olw'okubanga mwenna mugabana wamu nange ekisa Katonda kye yankwatirwa mu kusibibwa kwange, ne mu kulwanirira n'okunyweza Amawulire Amalungi. 8Katonda amanyi nga njogera mazima bwe ŋŋamba nti mwenna mbaagala n'okwagala okuva eri Kristo Yesu.
9Kye mbasabira eri Katonda kye kino, okwagala kwammwe kweyongerenga, kujjule amagezi n'okutegeera, 10mulyoke musobole okulondawo ekisinga obulungi, olunaku Kristo lw'aliddirako bwe lulituuka, lubasange nga muli balongoofu, abataliiko kamogo, 11nga mujjudde ebikolwa ebirungi, Yesu Kristo yekka by'ayinza okubakozesa olw'okuweesa Katonda ekitiibwa n'okumutendereza.
12Abooluganda, njagala mumanye nti ebyo ebyantuukako, byongera bwongezi kubunyisa Amawulire Amalungi. 13N'ekivuddemu, abaserikale abakuumi b'omu lubiri bonna era n'abalala bonna, bategedde nti ndi mu kkomera lwa kubanga ndi mugoberezi wa Kristo.#Laba ne Bik 28:30 14Era olw'okusibibwa kwange, abooluganda abasinga obungi beeyongedde okwesiga Mukama, n'okuba n'obuvumu okwogera ekigambo kya Katonda nga tebatya.
15Weewaawo abamu bamanyisa Kristo mu bantu lwa buggya na kuvuganya, naye abalala bakikola mu mwoyo mulungi. 16Bano bakikola lwa kwagala, kubanga bamanyi nga nateekebwawo lwa kulwanirira Amawulire Amalungi. 17Naye bali, Kristo bamumanyisa mu bantu lwa kuvuganya, sso si mu mwoyo mulungi. Balowooza nti banaayongera okunnakuwaza mu busibe bwe ndimu.
18Naye nze nfaayo ki? Kristo kasita amanyisibwa mu bantu mu ngeri zonna, oba za bukuusa, oba za mazima, nze nsanyuka busanyusi. Era nja kweyongera okusanyuka, 19kubanga mmanyi nti mmwe olw'okunsabira, n'olw'obuyambi bwa Mwoyo wa Yesu Kristo, nditeebwa. 20Neesiga era nsuubirira ddala nti sijja kuswala, wabula ne kaakano nja kuguma nga bulijjo, nkole kyonna kye nsobola okugulumiza Kristo, oba mba mulamu, oba nfa. 21Nze mba mulamu lwa Kristo, era bwe nfa, mba ngobolodde. 22Naye oba nga bwe nsigala nga ndi mulamu mu mubiri lwe nkola ekisinga okugasa, olwo mba simanyi kye nsaana kulondawo. 23Nkwatiddwa eruuyi n'eruuyi. Neegomba okuva mu bulamu buno, ŋŋende mbeere ne Kristo, kubanga ekyo kye kisingira ddala obulungi. 24Naye okusigala nga nkyali mulamu mu mubiri, kye kisinga okwetaagibwa ku lwammwe. 25Ekyo nkikakasa, era mmanyi nti nja kuba nga nkyaliwo, nga ndi nammwe mwenna, mulyoke mweyongere okusanyuka n'okukula mu kukkiriza. 26Bwe ndikomawo gye muli, mulyeyongera okwenyumiririza mu Kristo ku lwange.
27Naye kyokka obulamu bwammwe bube nga bwe kisaanira Amawulire Amalungi aga Kristo. Ne bwe ndiba nzize oba nga sizze kubalaba, njagala mpulire nti munywedde, mwegasse mu mwoyo gumu, nga mulwanirira okukkiriza okw'Amawulire Amalungi. 28Temutya balabe bammwe. Mubeere bazira bulijjo, balyoke bamanye nti bo Katonda ajja kubazikiriza, kyokka mmwe abawonye, 29kubanga mwaweebwa omukisa, si kukkiriza Kristo kwokka, wabula n'okubonaabona ku lulwe. 30Nammwe muli ku lutalo lwe lumu, lwe mwalaba, era lwe muwulira nti nkyalwana.#Laba ne Bik 16:19-40
Currently Selected:
ABAFILIPPI 1: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.