YouVersion Logo
Search Icon

ABAFILIPPI Ennyanjula

Ennyanjula
Ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abafilippi, Pawulo yagiwandiikira ekibiina ekyo eky'abakkiriza Kristo ekyasooka ku lukalu lw'e Bulaaya, Pawulo yennyini kye yatandikawo e Filippi, mu ttwale ly'Abarooma mu Makedooniya. Pawulo yagiwandiikira mu kkomera, mu kiseera we yatawaanyizibwa okuwakanyizibwa bakozi banne mu gw'okubunyisa enzikiriza ya Kristo. Mu budde obwo Pawulo era yali munakuwavu olw'enjigiriza enkyamu eyali esenseredde ekibiina kino eky'abakkiriza Kristo eky'e Filippi. Newaakubadde kyali bwe kityo, naye ebbaluwa eno eraga essanyu n'okwesiga, ebiyinza okunnyonnyola okukkiriza okw'amaanyi Pawulo kwe yalina mu Yesu Kristo.
Ensonga esookera ddala eyawandiisa Pawulo ebbaluwa eno, kwali kwebaza Bakristo b'e Filippi olw'ekirabo kye baamuweereza ng'ali mu bwetaavu. Akozesa omukisa ogwo okubazzaamu amaanyi bagume, era beesige Mukama, wadde nga ye Pawulo yalina, era nabo bennyini baalina, ebizibu. Abakubiriza okuba n'endowooza ey'obwetoowaze nga Kristo gye yalina, baleme kwefaako bokka na kwegulumiza. Abajjukiza ng'obulamu bwabwe obw'okuba obumu ne Kristo, kirabo ekyabaweebwa Katonda omusaasizi. Yakibawa kubanga bamukkiriza, sso si lwa kuba nti bawulize abatuukiriza emikolo egiragirwa mu mateeka g'Ekiyudaaya. Pawulo bw'amala ebyo, n'awandiika ku ssanyu n'emirembe Katonda by'awa abo abali obumu ne Kristo.
Ebbaluwa eno emanyiddwa mu kuggumiza essanyu, okwesiga, obumu n'obutaddirira mu kukkiriza ne mu bulamu obunyweredde ku Kristo.
Ebiri mu bbaluwa eno mu bufunze
Ennyanjula 1:1-11
Embeera Pawulo gye yalimu 1:12-26
Obulamu mu Kristo 1:27–2:18
Entegeka ezaakolerwa Timoteewo ne Epafuradito 2:19-30
Okulabula okwewala abalabe n'okwewala akabi 3:1–4:9
Pawulo ne mikwano gye Abafilippi 4:10-20
Okufundikira 4:21-23

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in