YouVersion Logo
Search Icon

ABAFILIPPI 2

2
Okutoowazibwa kwa Kristo n'okugulumizibwa kwe
1Okuba aba Kristo kibawa amaanyi? Okwagala kwe kubasanyusa? Mussa kimu ne Mwoyo Mutuukirivu? Mukwatirwagana ekisa, era musaasiragana? 2Kale munzijuze essanyu nga mussa kimu, nga mwagalana, nga mulina omwoyo gumu, era nga mukkiriziganya. 3Temukolanga kintu na kimu mu kwepanka, wadde mu kwefaako mwekka, wabula mukolenga byonna mu bwetoowaze, nga temulowooza nti mmwe musinga abalala. 4Temufanga ku byammwe byokka, naye mufenga ne ku by'abalala. 5Mubenga n'endowooza nga Kristo gye yalina:
6Yalina obulamu obw'Obwakatonda,
kyokka teyalemera
ku kwenkanankana ne Katonda,
7wabula yeggyako ekitiibwa,
n'afuuka omuweereza.
Yeefuula omuntu nga ffe.
8Era bwe yessa ku mutindo gw'abantu,
ne yeetoowaza, n'aba muwulize
n'atuukira ddala ku kufa,
ate okufa okw'oku musaalaba.
9Katonda kyeyava amugulumiza ennyo,
n'amuwa erinnya
erisinga amannya gonna,
10bonna abali mu ggulu,
n'abali ku nsi,
era n'abali wansi w'ensi
balyoke bafukaamirirenga
erinnya lya Yesu,#Laba ne Yis 45:23
11era bonna baatulenga nti
Yesu Kristo ye Mukama,
Katonda Kitaffe
alyoke aweebwe ekitiibwa.
Okuba ekitangaala mu nsi
12Kale abaagalwa, nga bwe mwali abawulize bulijjo nga ndi nammwe, kaakano nga bwe siri nammwe, mube bawulize nnyo n'okusinga bwe mwali. Mmwe mwennyini mukolererenga okulokolebwa kwammwe, nga mutya era nga mukankana, 13kubanga Katonda ye akolera mu mmwe okubaagazisa n'okubasobozesa okukola by'ayagala. 14Byonna mubikolenga awatali kwemulugunya wadde empaka, 15mulyoke mube nga temulina musango, wadde kye munenyezebwa, mube baana ba Katonda abatalina bbala, nga muli mu nsi ejjudde abantu ababi era aboonoonefu. Muteekwa okulabika mu bo nga muli ng'emmunyeenye ezimulisa eggulu,#Laba ne Ma 32:5 16nga mubatuusaako ekigambo ky'obulamu. Bwe munaakolanga bwe mutyo, ndiba n'eky'okwenyumiriza ku lunaku Kristo lw'aliddirako, kubanga ekyo kiriraga nti okufuba n'okukola kwange tebyafiira bwereere.
17Singa omusaayi gwange guyiibwa ne gutabulwa n'ekitambiro kye muwa Katonda, kwe kukkiriza kwammwe, nsanyuka ne neesiima wamu nammwe mwenna. 18Era nammwe muteekwa okusanyuka bwe mutyo, n'okwesiima awamu nange.
Timoteewo ne Epafuradito
19Mukama Yesu Kristo bw'alyagala, nsuubira okubatumira mangu Timoteewo, ndyoke ŋŋume omwoyo olw'okutegeera ebibafaako. 20Sirina mulala asobola kubalumirwa nnyo nga ye. 21Abalala bonna bafa ku byabwe byokka, tebafa ku bya Yesu Kristo. 22Kyokka Timoteewo mumumanyi nti asaana. Mumanyi bw'aweereza awamu nange, ng'ali ng'omwana akola ne kitaawe, nga tukola omulimu gw'okubunyisa Amawulire Amalungi. 23Kale oyo gwe nsuubira okutuma gye muli, amangu ddala nga naakamanya nga bwe nnaabeera. 24Era nkakasa nti Mukama bw'alisiima, nange nzennyini sirimala bbanga ddene nga sinnajja gye muli.
25Era ndabye nga kisaanye okubatumira owooluganda Epafuradito gwe mwantumira okunnyamba mu byetaago byange, era gwe nkola naye, nga tulwanira wamu. 26Ayagala nnyo okubalabako mwenna, kyokka yanyolwa nnyo bwe yamanya nti mwawulira bwe yalwala. 27Ddala yalwala, era yali kumpi okufa. Kyokka Katonda yamusaasira, era teyasaasira ye yekka, wabula nange yansaasira, obulumi bwange ne buteeyongerako. 28Kyenva njagala ennyo okumutuma gye muli, mulyoke musanyuke okuddamu okumulabako, nange ndyoke nkendeeze ku kunakuwala kwange. 29Kale mumwanirize n'essanyu lingi ng'owooluganda mu Mukama waffe. Abafaanana ng'oyo mubassengamu ekitiibwa, 30kubanga yabulako katono okufa, ng'ali ku mulimu gwa Kristo, bwe yawaayo obulamu bwe, alyoke annyambe ku lwammwe.

Currently Selected:

ABAFILIPPI 2: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in