2 ABAKORINTO 3
3
Abaweereza b'endagaano empya
1Mulowooza nti tutandise ate okwetenda? Oba mulowooza nti twetaaga ebbaluwa ng'abalala, ezitusemba gye muli, oba mmwe ze muwandiise nga zitusemba? 2Mmwe mwennyini, mmwe bbaluwa yaffe etusemba, ewandiikiddwa ku mitima gyaffe, emanyibwa era esomebwa abantu bonna. 3Bonna babalaba nti muli bbaluwa eyava eri Kristo, gye twaleeta. Ebbaluwa eyo, teyawandiikibwa na bwino, wabula yawandiikibwa na Mwoyo wa Katonda Nnannyinibulamu. Era teyawandiikibwa ku bipande bya mayinja, wabula yawandiikibwa ku bipande eby'emitima gy'abantu.#Laba ne Kuv 24:12; Yer 31:33; Ezek 11:19; 36:26
4Obwo bwe bwesige bwe tulina mu Katonda, nga tuyita mu Kristo. 5Tetugamba nti twemalirira, oba nti tulina kye tukola ku bwaffe, wabula amaanyi gaffe gava eri Katonda. 6Ye yatusaanyiza okuba abaweereza b'endagaano empya, eteri ya mateeka mawandiike, naye eya Mwoyo. Amateeka amawandiike galeeta kufa, naye Mwoyo aleeta bulamu.#Laba ne Yer 31:31
7Naye oba nga Amateeka agaleeta okufa, agaayolebwa mu nnukuta ku bipande eby'amayinja, gaaweebwa mu kitiibwa ekinene, Abayisirayeli ne batayinza na kutunuulira Musa mu maaso olw'okwakaayakana kwago, okwali okw'okuggwaawo,#Laba ne Kuv 34:29 8kale Mwoyo Mutuukirivu taliweebwa mu kitiibwa kinene okusingawo?
9Oba nga okuweebwa ekyo ekisingisa abantu omusango kwa kitiibwa, okuweebwa ekyo ekireetera abantu obutuukirivu kwa kitiibwa nnyo okusingawo. 10N'olwekyo, ekyo ekyali kirina ekitiibwa luli, kaakano tekikyakirina, kubanga kyamalibwawo ekitiibwa ekisingirawo ddala. 11Kuba oba nga ekyo ekiggwaawo kyalina ekitiibwa, ekyo eky'olubeerera kiteekwa okuba n'ekitiibwa ekisingawo.
12N'olwekyo nga bwe tulina essuubi eryo eryenkana awo, tuli bagumu nnyo. 13Tetuli nga Musa eyeebikkanga ekitambaala ku maaso, Abayisirayeli baleme kulaba kwakaayakana kw'amaaso ge bwe kuggwaawo.#Laba ne Kuv 34:33 14Emitima gyabwe gyaguba n'okutuusiza ddala kaakano. Bwe basoma endagaano enkadde, ekibikka ekyo kyennyini tekibaggyibwangako. Ekibikka ekyo kiggyibwa ku abo abeegatta ne Kristo.
15Ddala n'okutuusiza ddala kaakano, ebyawandiikibwa Musa buli lwe bisomebwa, emitima gyabwe giba gibikkiddwako. 16Naye omuntu bw'akyuka n'adda eri Mukama, ekibikka kiggwaawo.#Laba ne Kuv 34:34 17Mukama ye Mwoyo, era Mwoyo wa Mukama w'abeera, we waba eddembe.
18N'olwekyo ffe ffenna bwe tuggyibwako ekibikka ku maaso, ekitiibwa kya Mukama kirabikira mu ffe, nga bwe kyandirabikidde mu ndabirwamu. Ekitiibwa ekyo ekiva eri Mukama, ye Mwoyo, kitufuula ne tufaanana nga ye, mu kitiibwa ekigenda nga kyeyongera.
Currently Selected:
2 ABAKORINTO 3: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.