YouVersion Logo
Search Icon

2 ABAKORINTO 4

4
Eky'omuwendo ennyo mu bibya eby'ebbumba
1N'olwekyo Katonda nga bwe yatusaasira, n'atuwa omulimu ogwo ogw'obuweereza, tetuterebuka. 2Twaleka ebyo ebikolebwa mu nkukutu eby'ensonyi, n'empisa ez'obukuusa, era tetukyamya kigambo kya Katonda, wabula tulaga amazima nga bwe gali, ne tuleka buli muntu ow'omutima omulungi atulowoozeeko nga bw'alaba mu maaso ga Katonda. 3Era oba ng'Amawulire Amalungi ge tutegeeza abantu, makweke, abo ab'okuzikirira be gakwekeddwa. 4Be bo abatakkiriza, Sitaani omufuzi w'ensi eno be yaziba emitima, n'abaziyiza okukkiriza era n'okulaba ekitangaala ky'Amawulire Amalungi ag'ekitiibwa kya Kristo, alabirwamu ekifaananyi kya Katonda.
5Ffe tetweyogerako, wabula tutegeeza abantu nti Kristo Yesu ye Mukama, era nti tuli baweereza bammwe olwa Kristo. 6Katonda eyalagira ekitangaala kyake awabadde ekizikiza, ye yayaka mu mitima gyaffe okuleetera abantu ekitangaala, bamanye ekitiibwa kya Katonda, ekirabikira mu Kristo.#Laba ne Nta 1:3
7Naye ffe abali ng'ebibya eby'ebbumba, ffe tulimu ekyo eky'omuwendo ennyo, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, sso si bwaffe. 8Tubonaabona mu buli ngeri, naye tetubulwa bwekyusizo. Tusoberwa, naye tetuggwaamu ssuubi. 9Tuyigganyizibwa, naye tetwabulirwa. Tumeggebwa, naye tetubetentebwa.
10Bulijjo buli we tulaga, tugenda n'okufa kwa Yesu mu mibiri gyaffe, obulamu bwe bulyoke bulabikire mu mibiri gyaffe. 11Newaakubadde nga tuli balamu, naye bulijjo tuba mu kabi ak'okufa olwa Yesu, obulamu bwa Yesu bulyoke bulabikire mu mibiri gyaffe egy'okufa. 12N'olwekyo okufa kukolera mu ffe, naye obulamu bukolera mu mmwe.
13Nga bwe tulina omutima ogw'okukkiriza ng'ogw'oyo eyawandiika nti: “Nakkiriza, kyennava njogera,” naffe tukkiriza, era kyetuva twogera#Laba ne Zab 116:10 14nga tumanyi nti oyo eyazuukiza Mukama Yesu, naffe alituzuukiza wamu ne Yesu, n'atuleeta wamu nammwe mu maaso ge. 15Byonna biriwo ku lwammwe, ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere okubuna mu bantu, nabo beeyongere okwebaza Katonda, n'okumuweesa ekitiibwa.
Bwe tulifa tulifuna obulamu obulala
16Newaakubadde ng'obulamu bwaffe obw'omubiri bugenda buseebengerera, naye obulamu bwaffe obw'omwoyo bufuulibwa buggya buli lunaku, kyetuva tulema okuddirira. 17Okubonaabona kuno okutono era okw'akaseera obuseera, kututeekerateekera ekitiibwa ekinene ekitaliggwaawo, era ekitageraageranyizika. 18Amaaso gaffe tetugatadde ku ebyo ebirabika, wabula ku ebyo ebitalabika. Ebyo ebirabika bya kaseera buseera, naye ebyo ebitalabika, bya lubeerera.

Currently Selected:

2 ABAKORINTO 4: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in