Tetugamba nti twemalirira, oba nti tulina kye tukola ku bwaffe, wabula amaanyi gaffe gava eri Katonda. Ye yatusaanyiza okuba abaweereza b'endagaano empya, eteri ya mateeka mawandiike, naye eya Mwoyo. Amateeka amawandiike galeeta kufa, naye Mwoyo aleeta bulamu.