YouVersion Logo
Search Icon

2 ABAKORINTO 2

2
1N'olwekyo namalirira obutakomawo eyo, nneme kuddamu kubanakuwaza. 2Nze bwe mbanakuwaza, ani anansanyusa? Si mmwe be nnakuwaza? 3Kyennava mbawandiikira, bwe ndijja, nneme kunakuwazibwa abo abandinsanyusizza. Nkakasa nti bwe nsanyuka, era nammwe musanyuka. 4Nabawandiikira nga ndi mu kubonaabona kungi, nga n'omutima gujjudde obulumi, era nga nkaaba amaziga mangi. Mu kubawandiikira, saagenderera kubanakuwaza, wabula nayagala kubalaga nga bwe mbaagala ennyo.
Okusonyiwa eyasobya
5Bwe wabaawo eyaleetera munne okunakuwala, teyakuleetera nze, wabula ku ludda olumu, bwe mba siyitirizza, yakuleetera mmwe mwenna. 6Omuntu ng'oyo, ekibonerezo ekyo ky'aweereddwa abangi, kimala. 7N'olwekyo musaanidde okumusonyiwa, n'okumugumya, aleme okunakuwala ekiyitiridde, n'okuterebukira ddala. 8Kyenva mbeegayirira, mumulage nti mumwagala. 9Era kyennava mbawandiikira, ndabe nga muli bawulize mu byonna. 10Buli gwe musonyiwa, nange mmusonyiwa. Nange kye nasonyiwa, oba nga weekiri, nakisonyiwa ku lwammwe, mu maaso ga Kristo, 11Sitaani aleme kutuzingiza, kubanga tumanyi enkwe ze.
Pawulo mu Turoowa
12Bwe natuuka mu Turoowa okutegeeza abantu Amawulire Amalungi aga Kristo, newaakubadde nasanga nga Mukama anziguliddewo oluggi,#Laba ne Bik 20:1 13omutima gwange tegwatereera, kubanga saasangayo muganda wange Tito. Kyennava nsiibula abantu baayo, ne ŋŋenda e Makedooniya.
Obuwanguzi mu Kristo
14Kyokka Katonda yeebazibwe, atuwanguza bulijjo olwa Kristo. Katonda ye atukozesa okumanyisa Kristo mu bantu bonna, era Amawulire Amalungi gali ng'akawoowo akasaasaanira wonna. 15Tuli kawoowo ka Kristo, k'aweereza eri Katonda, akatuuka ku abo abalokolebwa, ne ku abo abazikirira. 16Mu abo abazikirira, tuli kivundu kya lumbe ekireeta okufa. Naye mu abo abalokolebwa, tuli kawoowo ka bulamu, akaleeta obulamu. Kale ebyo ani abisobola?
17Tetuli ng'abangi abo abakozesa ekigambo kya Katonda olw'okwenoonyeza ebyabwe, naye ffe, kubanga twatumibwa Katonda, twogera nga tetuliimu bukuusa mu maaso ga Katonda, nga tuli mu Kristo.

Currently Selected:

2 ABAKORINTO 2: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in