2 ABAKORINTO 1
1
Okulamusa
1Nze Pawulo omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda bwe yayagala, era n'owooluganda Timoteewo, tuwandiikira ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo, ekiri mu Korinto, era n'abantu ba Katonda bonna ab'omu Akaya yonna.#Laba ne Bik 18:1
2Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo, babakwatirwe ekisa era babawe emirembe.
Pawulo atendereza Katonda
3Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo era Kitaffe, ajjudde okusaasira, era Katonda asanyusa bonna, atenderezebwenga. 4Ye oyo atusanyusa mu buzibu bwaffe bwonna, naffe tulyoke tusobole okusanyusanga abo abali mu kubonaabona okwa buli ngeri, nga tubasanyusa n'ebyo ffe ffennyini bye tufunye okuva eri Katonda. 5Kuba nga bwe tugabana ku kubonaabona kwa Kristo okungi, era bwe tutyo bwe tusanyukira mu Kristo.
6Bwe tubonyaabonyezebwa, tubonaabona, mmwe mulyoke mufune essanyu, era mulokolebwe. Era bwe tusanyuka, nammwe musanyuka, ne mufuna amaanyi okuyita mu bizibu ng'ebyaffe bye tuyitamu, nga muli bagumiikiriza. 7Tubalinamu nnyo essuubi, kubanga tumanyi nti nga bwe mubonaabonera awamu naffe, era muligabana ku ssanyu lyaffe.
8Abooluganda, twagala mumanye okubonyaabonyezebwa okwatutuukako nga tuli mu Asiya. Twabonyaabonyezebwa nnyo ekiyitiridde, n'essuubi ery'okuba abalamu ne lituggwaamu.#Laba ne 1 Kor 15:32 9Twalowooleza ddala nti tusaliddwa gwa kufa. Ekyo kyatutuukako, tuleme kwesiga maanyi gaffe, wabula twesige Katonda yekka azuukiza abafu. 10Katonda oyo ye yatuwonya mu kabi akanene bwe katyo ak'okufa, era ye alituwonya, era gwe tulinamu essuubi ery'okutuwonyanga. 11Nammwe mutuyambe nga mutusabira, bangi balyoke beebaze Katonda ku lwaffe, olw'emikisa egituweereddwa olw'okusaba kw'abangi.
Pawulo akyusa mu ntegeka ye
12Ekituleetera okwenyumiriza kye kino nti emmeeme etukakasa nti mu nsi muno, n'okusingira ddala mu mmwe, tubadde ba mpisa nnungi, si lwa magezi ga bantu, naye kubanga ekisa kya Katonda kye kitufuula ab'amazima era abatuukirivu. 13Tubawandiikira ebyo byokka bye musobola okusoma era n'okutegeera. Era nsuubira nti mulitegeerera ddala 14ekyo kaakano kye mutegeerako ekitundu, mulyoke mwenyumirize ku lwaffe, nga ffe bwe tulyenyumiriza ku lwammwe, ku lunaku lwa Mukama Yesu.
15Olw'okwekakasa mu ekyo, nayagala nsooke kukyalira mmwe, mulyoke mufune omukisa gwa mirundi ebiri. 16Nayagala mbakyalire nga ŋŋenda e Makedooniya, era nkomewo gye muli nga nva e Makedooniya, mulyoke munnyambe nga ŋŋenda e Buyudaaya.#Laba ne Bik 19:21 17Bwe nayagala okukola ekyo, mulowooza nti nali munnanfuusi? Bye nkola mbikola ng'omuntu ow'ensi, agamba nti: “Weewaawo,” ate mu kaseera ke kamu n'agamba nti: “Nedda”?
18Nga Katonda bw'ali omwesigwa, tetubagambangako nti: “Weewaawo,” ate ne tukyusa nti: “Nedda.” 19Yesu Kristo, Omwana wa Katonda eyabategeezebwa Siluvaano ne Timoteewo era nange, teyali nti: “Weewaawo,” ate nti “Nedda,” wabula mu ye bulijjo mulimu “Weewaawo,”#Laba ne Bik 18:5 20kubanga mu Kristo, byonna Katonda bye yasuubiza, mwe bituukiririra. Ku bwa Kristo, kyetuva tugamba nti: “Amiina,” nga tuwa Katonda ekitiibwa.
21Ffe nammwe, Katonda yatukakasa nti mu Kristo mwe tufunira obulamu, era Katonda yennyini yatufukako omuzigo, 22n'atuteekako akabonero ke, bwe yatuwa Mwoyo we mu mitima gyaffe, abe omusingo gw'ebyo by'atuterekedde.
23Katonda ye mujulirwa wange nti olw'okubasaasira mmwe, kyennava sijja Korinto. 24Tetubalagira bulagizi kye muteekwa okukkiriza, wabula tukolera wamu nammwe, mulyoke musanyuke, kubanga muli banywevu mu kukkiriza.
Currently Selected:
2 ABAKORINTO 1: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.