1
2 ABAKORINTO 1:3-4
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo era Kitaffe, ajjudde okusaasira, era Katonda asanyusa bonna, atenderezebwenga. Ye oyo atusanyusa mu buzibu bwaffe bwonna, naffe tulyoke tusobole okusanyusanga abo abali mu kubonaabona okwa buli ngeri, nga tubasanyusa n'ebyo ffe ffennyini bye tufunye okuva eri Katonda.
Compare
Explore 2 ABAKORINTO 1:3-4
2
2 ABAKORINTO 1:5
Kuba nga bwe tugabana ku kubonaabona kwa Kristo okungi, era bwe tutyo bwe tusanyukira mu Kristo.
Explore 2 ABAKORINTO 1:5
3
2 ABAKORINTO 1:9
Twalowooleza ddala nti tusaliddwa gwa kufa. Ekyo kyatutuukako, tuleme kwesiga maanyi gaffe, wabula twesige Katonda yekka azuukiza abafu.
Explore 2 ABAKORINTO 1:9
4
2 ABAKORINTO 1:21-22
Ffe nammwe, Katonda yatukakasa nti mu Kristo mwe tufunira obulamu, era Katonda yennyini yatufukako omuzigo, n'atuteekako akabonero ke, bwe yatuwa Mwoyo we mu mitima gyaffe, abe omusingo gw'ebyo by'atuterekedde.
Explore 2 ABAKORINTO 1:21-22
5
2 ABAKORINTO 1:6
Bwe tubonyaabonyezebwa, tubonaabona, mmwe mulyoke mufune essanyu, era mulokolebwe. Era bwe tusanyuka, nammwe musanyuka, ne mufuna amaanyi okuyita mu bizibu ng'ebyaffe bye tuyitamu, nga muli bagumiikiriza.
Explore 2 ABAKORINTO 1:6