YouVersion Logo
Search Icon

2 ABAKORINTO Ennyanjula

Ennyanjula
Ebbaluwa eyookubiri Pawulo gye yawandiikira Abakorinto, Pawulo yagiwandiika mu kiseera ekyali ekizibu mu nkolagana ye n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'e Korinto. Abamu ku b'omu kibiina ekyo, balabika nga baali bawakanyizza nnyo Pawulo. Wabula ye Pawulo alaga nga yeegomba nnyo okutabagana nabo, era ayatula essanyu lye eringi ekyo eky'okutabagana bwe kituukirira.
Mu kitundu ky'ebbaluwa ekisooka, Pawulo ayogera ku nkolagana ye n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo ekyo eky'e Korinto, ng'annyonnyola ensonga eyamukwasisa n'obukambwe abo abaamuvuma n'abaamuwakanya mu kibiina ekyo. Ayatula essanyu ly'alina okulaba ng'obukambwe bwe obwo, bwavaamu ebibala eby'okwenenya era n'okutabagana. Olwo azzaako okusaba ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo ekyo eky'e Korinto okuyamba abagoberezi ba Kristo ab'omu Buyudaaya abaali mu bwetaavu.
Mu mutwe ogusembayo, Pawulo yeerwanako ng'alaga nti ye Mutume omutuufu, ng'awakanya abantu abamu ab'e Korinto abaali beeyita abatume abatuufu, nga balumiriza Pawulo nti ye si mutume mutuufu.
Ebiri mu bbaluwa eno mu bufunze
Ennyanjula 1:1-11
Pawulo n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'e Korinto 1:12–7:16
Okuwaayo eby'okuyamba Abakristo ab'omu Buyudaaya 8:1–9:15
Pawulo alwanirira obukulu bwe obw'omutume wa Kristo 10:1–13:10
Okufundikira 13:11-14

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in