1 ABAKORINTO 14
14
Ebirabo ebigasa omwoyo
1Kale muluubirirenga okwagalana, era mwegombenga ebirabo ebigasa omwoyo, na ddala ekirabo eky'okutuusa ku bantu obubaka bwa Katonda. 2Kubanga ayogera ennimi, tayogera na bantu, wabula ayogera na Katonda, kubanga by'ayogera, tewali abitegeera. Ebyama by'ayogera Mwoyo ye abimwogeza. 3Kyokka oyo atuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, abategeeza ebibazimba, ebibakubiriza era ebibagumya. 4Oyo ayogera ennimi, yeegasa yekka. Naye oyo atuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, agasa ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo.
5Nandyagadde mwenna mwogere ennimi. Naye ekisingira ddala, nandyagadde mwenna mutuuse ku bantu obubaka bwa Katonda, kubanga oyo atuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, agasa nnyo okusinga oyo ayogera ennimi, okuggyako mpozzi nga waliwo avvuunula, ekibiina ky'abakkiriza Kristo kiryoke kiganyulwe. 6Kale abooluganda, bwe njija gye muli ne njogera ennimi, mbagasa ki nga sibategeezezza ebyo Katonda by'andaze, oba bye mmanyi, oba bye nnanga, oba bye njigiriza?
7Era n'ebivuga, ebitalina bulamu, ng'endere oba ennanga, bwe bitavuga maloboozi gategeerekeka, omuntu amanya atya ekifuuyibwa oba ekikubibwa? 8Era singa eŋŋombe tevaamu ddoboozi litegeerekeka, ani ayinza okweteekerateekera olutalo? 9Ne ku mmwe bwe kiri. Bwe mwogera mu lulimi olutategeerekeka, omuntu ayinza atya okutegeera ebyogeddwa? Muba mwogeredde bwereere.
10Kya mazima waliwo ennimi nnyingi mu nsi, era tewali na lumu lutalina makulu. 11Naye bwe mba nga simanyi bigambo kye bitegeeza, mba ng'omugwira eri oyo ayogera, era naye aba ng'omugwira gye ndi. 12Bwe mutyo nammwe, nga bwe mwegomba okufuna ebirabo ebigasa omwoyo, mufubenga nnyo, mulyoke muzimbe ekibiina ky'abakkiriza Kristo.
13N'olwekyo ayogera olulimi lw'atamanyi, asabe Katonda, amuwenga okuluvvuunula, 14kubanga bwe nsinza Katonda mu lulimi lwe sitegeera, omutima gwange gusinza, naye amagezi gange tegabaako kye gakola. 15Kale nkole ki? Bwe nsinza Katonda, njagala omutima gwange era n'amagezi gange bisinze. Bwe nnyimba, njagala omutima gwange era n'amagezi gange biyimbe. 16Kale bwe kitaba bwe kityo, bwe weebaza Katonda mu lulimi olutategeerekeka, omuntu atategeera ky'ogamba asobola atya okuddamu nti “Amiina,” ng'omalirizza okwebaza? 17Weewaawo oyinza okuba nga weebazizza bulungi nnyo Katonda, naye omulala taganyulwa.
18Neebaza Katonda, kubanga mwenna nze mbasinga okwogera ennimi. 19Naye mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, njagala njogere n'amagezi gange ebigambo bitaano ebitegeerekeka, ndyoke njigirize abalala, okusinga lwe njogera ebigambo olukunkumuli, mu lulimi olutategeerekeka.
20Abooluganda, temulowoozanga ng'abaana abato. Naye mu bye mukola, mube ng'abaana abato abatalina musango, wabula mube bakulu mu kulowooza. 21Mu Kitabo Ekitukuvu kyawandiikibwa nti:
“Ndyogera n'abantu bano,
nga njogeza abantu ab'ennimi endala,
n'emimwa gy'ab'amawanga amalala,
naye era abantu bange
tebalimpuliriza.
Ekyo Mukama ky'agamba.”#Laba ne Yis 28:11-12
22N'olwekyo, ennimi tezireetebwa lw'abo abalina okukkiriza, wabula lw'abo abatalina kukkiriza. Naye okutuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, kuliwo lw'abo abalina okukkiriza, sso si lw'abo abatalina kukkiriza. 23Kale singa ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo kikuŋŋaana, ne mwogera ennimi, ab'ebweru, oba abo abatalina kukkiriza ne bayingira, tebagamba nti mulaluse? 24Naye singa bonna batuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, atalina kukkiriza oba ow'ebweru n'ayingira, ebyo ebyogerwa bonna, bijja kumuleetera okulumwa olw'ebibi bye, yeesalire omusango, 25ebyo by'alowooza mu mutima gwe bibikkulwe, afukamire asinze Katonda, nga bw'agamba nti: “Ddala Katonda ali mu mmwe.”
Byonna bikolebwenga mu butebenkevu
26Kale abooluganda, bibe bitya? Bwe mukuŋŋaana, omu aba n'oluyimba, omulala aba n'eky'okuyigiriza, omulala aba n'ekyo Katonda ky'amulaze, omulala okwogera ennimi, n'omulala okuvvuunula. Ebyo byonna bikolebwenga olw'okwezimba.
27Singa wabaawo aboogera ennimi, abangi bandibadde babiri; bwe basingawo, tebandisusse ku basatu. Era buli omu ayogerenga mu luwalo lwe, nga waliwo n'omulala avvuunula. 28Naye bwe wataba avvuunula, olwo ayogera ennimi asirikenga busirisi ng'ali mu lukuŋŋaana, wabula ayogerenga yekka ne Katonda. 29Kyokka abatuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, boogerenga babiri oba basatu, ng'abalala bageraageranya ebyogeddwa.
30Naye singa omu ku batudde ajjirwa ekigambo kya Katonda, oli abadde ayogera asirikenga, 31kubanga mwenna, mu mpalo, muyinza okutuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, bonna balyoke bayige, era bonna bongerwemu amaanyi. 32Abo abafuna ekirabo eky'okutuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, basobola okwefuga, 33kubanga Katonda taleeta kutabukatabuka, wabula aleeta mirembe. Nga bwe kiri mu bibiina byonna eby'abantu ba Katonda abakkiriza Kristo, 34abakazi basirikenga busirisi nga mukuŋŋaanye, kubanga tebakkirizibwa kwogeranga, wabula okusirikanga, ng'amateeka g'Ekiyudaaya bwe galagira. 35Bwe banaabangako ne kye baagala okumanya, bakibuuzenga babbaabwe eka, kubanga kya nsonyi omukazi okwogerera mu lukuŋŋaana lw'abantu.
36Kale mulowooza nti ekigambo kya Katonda kyava mu mmwe, oba nti kyatuuka ku mmwe mwekka? 37Bwe wabeerawo omuntu eyeerowooza nti atuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, oba nti afugibwa mwoyo, ategeere nti bye mbawandiikira mmwe, kye kiragiro kya Mukama. 38Bwe wabaawo atafa ku kino, naye aleme kufiibwako. 39Kale baganda bange, mwegombenga nnyo okutuusa ku bantu obubaka bwa Katonda, naye temuziyizanga kwogera nnimi. 40Naye byonna bikolebwenga bulungi era mu butebenkevu.
Currently Selected:
1 ABAKORINTO 14: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.