1 ABAKORINTO 13
13
Okwagala
1Ne bwe njogera ennimi z'abantu n'eza bamalayika, naye ne siba na kwagala, mba ng'ekide ekimala gavuga, oba ng'ebirebe ebikubagana. 2Ne bwe mba n'ekirabo eky'obulanzi, ne ntegeera ebyama byonna, era ne mmanya ebintu byonna, era ne bwe mba n'okukkiriza kwonna, okunsobozesa n'okusiguukulula ensozi, naye ne siba na kwagala, mba siriiko kye ngasa.#Laba ne Mat 17:20; 21:21; Mak 11:23 3Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuliisa abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne gwokebwa, naye nga sirina kwagala, sibaako kye ngasiddwa.
4Okwagala kugumiikiriza era kulina ekisa. Okwagala tekuba na buggya. Okwagala tekwenyumiikiriza era okwagala tekwekulumbaza. 5Tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo byokka, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo. 6Okwagala tekusanyukira butali bwenkanya, wabula kusanyukira mazima. 7Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, era kugumiikiriza byonna.
8Ne bwe wabaawo obulanzi, bulivaawo. Ne bwe wabaawo ekirabo eky'okwogera ennimi, kirikoma. Ne bwe wabaawo amagezi, galiggwaawo. Naye okwagala tekuggwaawo. 9Okumanya kwaffe kwa kitundu, n'obulanzi bwaffe nabwo bwa kitundu. 10Naye ebituukiridde bwe birijja, eby'ekitundu biriggwaawo. 11Bwe nali nkyali muto, nayogeranga ng'omuto. Naye bwe nakula, ne ndeka eby'obuto. 12Kaakano tulaba kifaananyi bufaananyi, ng'abeerabira mu ndabirwamu eteraba bulungi. Naye luli tulirabira ddala bulungi. Kaakano mmanyiiko kitundu butundu. Naye luli ndimanyira ddala byonna, nga kaakano Katonda bw'ammanyidde ddala.
13Naye kaakano ebiriwo biri bisatu: okukkiriza, okusuubira, era n'okwagala. Naye ekisinga obukulu, kwe kwagala.
Currently Selected:
1 ABAKORINTO 13: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.