1 ABAKORINTO 15
15
Kristo yazuukira
1Abooluganda, mbajjukiza Amawulire Amalungi ge nabategeeza ne mugakkiriza era mwe munyweredde, 2era ag'okubalokola bwe munaagakuumira ddala nga bwe nagabategeeza. Bwe kitaba bwe kityo, mpozzi nga mwakkiririza bwereere.
3Nabatuusaako ekigambo ekikulu, nange kye naweebwa, ekigamba nti Kristo yafa olw'ebibi byaffe, ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba,#Laba ne Yis 53:5-12 4era nti yaziikibwa, n'azuukira ku lunaku olwokusatu ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba;#Laba ne Zab 16:8-10; Mat 12:40; Bik 2:24-32 5era nti yalabikira Keefa, ate n'alabikira abatume ekkumi n'ababiri;#Laba ne Mat 28:16-17; Mak 16:14; Luk 24:34,36; Yow 20:19 6n'oluvannyuma n'alabikira baganda baffe abasukka mu bikumi ebitaano, bonna nga bali wamu. Abasinga obungi ku bo bakyali balamu, newaakubadde nga abamu baafa. 7Awo n'alabikira Yakobo, n'oluvannyuma n'alabikira abatume bonna.
8Bwe yamala okulabikira abo bonna, n'alyoka alabikira nange, newaakubadde nga ndi ng'omwana omusowole,#Laba ne Bik 9:3-6 9kubanga nze nsembayo mu batume. Era sisaanira na kuyitibwa mutume, kubanga nayigganya ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo.#Laba ne Bik 8:3 10Naye olw'ekisa kya Katonda, kyenva mbeera nga bwe ndi kaakano, era ekisa kye yankwatirwa tekyafa bwereere. Nakola nnyo okusinga abatume abalala bonna, naye si nze nakola, wabula ekisa kya Katonda ekiri nange kye kyakola. 11Oba yali nze oba bo, bwe tutyo bwe tutegeeza abantu, era bwe mutyo bwe mwakkiriza.
Okuzuukira kwaffe
12Kale oba nga abantu bategeezebwa nti Kristo yazuukira, lwaki abamu mu mmwe bagamba nti tewali kuzuukira? 13Kale oba nga tewali kuzuukira, ne Kristo teyazuukira. 14Era oba nga Kristo teyazuukira, bye twabategeeza tebiriiko kye bigasa, era n'okukkiriza kwammwe tekugasa. 15Ate era tuba ng'abaayogera eby'obulimba ku Katonda, kubanga twakakasa nti Katonda yazuukiza Kristo, gw'ataazuukiza, bwe kiba nga ddala abafu tebazuukira. 16Kale oba nga abafu tebazuukira, ne Kristo teyazuukira.
17Oba nga Kristo teyazuukira, okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa, era mukyali mu bibi byammwe. 18Era n'abo abaafa nga bakkiriza Kristo, baazikirira. 19Oba nga Kristo tumusuubiramu bya bulamu buno bwokka, tuli ba kusaasirwa okusinga abantu bonna.
20Naye kya mazima Kristo yazuukira. Ekyo kye kikakasa nti n'abo abaafa balizuukira. 21Kuba ng'okufa bwe kwaleetebwa omuntu, era n'okuzuukira kwaleetebwa muntu. 22Kuba ng'abantu bonna bwe bafa olw'Adamu, era bwe batyo bonna balifuuka balamu olwa Kristo, 23kyokka buli omu mu luwalo lwe. Kristo ye yasooka, era bw'alijja, ababe ne baddako, 24olwo enkomerero n'eryoka etuuka. Kristo ng'amaze okuggyawo obufuzi bwonna, n'obuyinza bwonna era n'amaanyi gonna, n'akwasa Katonda Kitaawe Obwakabaka, 25kubanga Kristo ateekwa okufuga okutuusa lw'alirinnyirira abalabe be bonna.#Laba ne Zab 110:1 26Omulabe we alisembayo okuzikirizibwa, ye Kufa, 27kubanga kyawandiikibwa nti: “Katonda yamuwa okufuga ebintu byonna.” Naye bwe kyogera ku bintu byonna, tekitwaliramu Katonda, eyawa Kristo okufuga ebintu byonna.#Laba ne Zab 8:6
28Ebintu byonna bwe birimala okussibwa mu buyinza bwa Kristo, olwo Kristo yennyini, Mwana, n'alyoka afugibwa Katonda eyamuwa okufuga byonna. Era olwo Katonda n'alyoka afugira ddala byonna. 29Oba ng'abafu tebazuukira, abo ababatizibwa ku lw'abafu bagenderera ki? Kale lwaki babatizibwa ku lw'abafu? 30Era ffe lwaki tweteeka mu kabi buli kaseera?
31Abooluganda, olw'okwenyumiriza kwe munninamu, era kwe nsanyukiramu mu Kristo Yesu Mukama waffe, nnyinza okukakasa nti nfa buli lunaku. 32Kale oba nga nalwana n'ensolo mu Efeso ng'omuntu obuntu, kingasa ki? Oba ng'abafu tebazuukira, “Kale tulye tunywe, kubanga enkya tujja kufa.”#Laba ne Yis 22:13
33Temulimbibwalimbibwanga, kubanga “Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” 34Mweddemu, mulekere awo okukola ebibi, kubanga abamu mu mmwe tebamanyi Katonda. Kino nkyogera kubakwasa nsonyi.
Okuzuukira kw'omubiri
35Naye omuntu ayinza okubuuza nti: “Abafu bazuukira batya?” Era nti: “Mubiri gwa ngeri ki gwe bajja nagwo?” 36Musirusiru ggwe! Ensigo gy'osiga temeruka nga tennafa. 37Era eyo gy'osiga eba mpeke buweke: oba ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala, sso tekiba kimera nga bwe kiriba nga kimaze okukula. 38Naye Katonda agiwa omubiri nga bw'ayagala, era buli ngeri ya nsigo agiwa omubiri gwayo, 39kubanga emibiri gyonna tegiba gya ngeri emu. Waliwo ogw'abantu, waliwo ogw'ensolo, waliwo ogw'ennyonyi, era waliwo n'ogw'ebyennyanja.
40Waliwo emibiri egy'omu ggulu, n'emibiri egy'omu nsi. Naye ekitiibwa ky'egy'omu ggulu kirala, era n'eky'egy'omu nsi kirala. 41Waliwo ekitiibwa eky'enjuba, waliwo ekitiibwa eky'omwezi, era waliwo ekitiibwa eky'emmunyeenye. Naye n'emmunyeenye tezenkanankana kwaka.
42Era bwe kiri ne mu kuzuukira. Omubiri guziikibwa nga gwa kuvunda, naye guzuukizibwa nga si gwa kuvunda. 43Guziikibwa nga si gwa kitiibwa, naye guzuukizibwa nga gwa kitiibwa. Guziikibwa nga munafu, naye guzuukizibwa nga gwa maanyi. 44Guziikibwa nga mubiri bubiri, naye guzuukizibwa nga guli ng'omwoyo.
Oba nga waliwo omubiri obubiri, era waliwo n'omubiri oguli ng'omwoyo. 45Era bwe kityo kyawandiikibwa nti “Adamu, omuntu eyasooka, yatondebwa ng'alina obulamu.” Kyokka Adamu ow'oluvannyuma yafuuka mwoyo oguleeta obulamu.#Laba ne Nta 2:7 46Naye eky'omwoyo si kye kyasooka, wabula eky'omubiri obubiri, n'oluvannyuma eky'omwoyo ne kijja.
47Omuntu eyasooka yava mu ttaka, yakolebwa mu nfuufu. Omuntu owookubiri yava mu ggulu. 48Ng'eyakolebwa mu nfuufu bw'ali, n'abo abaakolebwa mu nfuufu bwe bali. Era ng'eyava mu ggulu bw'ali, n'abo ab'omu ggulu bwe bali. 49Nga bwe twawumbibwa ne tufaanana oyo eyakolebwa mu nfuufu, era bwe tutyo bwe tuliwumbibwa ne tufaanana oyo eyava mu ggulu.
50Abooluganda, kye ŋŋamba kye kino nti omubiri n'omusaayi tebiyinza kufuna Bwakabaka bwa Katonda, n'okuvunda tekusikira butavunda.
51Ka mbabuulire ekyama: si ffenna abalifa, naye eŋŋombe ey'enkomerero bw'erivuga, ffenna tulifuukira#Laba ne 1 Bat 4:15-17 52mu kaseera katono, ng'ak'okutemya n'okuzibula, kubanga eŋŋombe erivuga, n'abafu balizuukizibwa, nga tebakyaddayo kufa, era ffenna tulifuuka. 53Kubanga omubiri guno oguvunda, gwa kufuuka ogutavunda, era omubiri ogufa, gwa kufuuka ogutafa. 54Omubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, n'ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira, ekigamba nti:#Laba ne Yis 25:8
55“Ggwe Kufa, obuwanguzi bwo buluwa?
Ggwe Kufa, obuyinza bwo
obulumya buluwa?”#Laba ne Hos 13:14
56Obuyinza bw'Okufa obulumya buva mu kibi, n'amaanyi g'ekibi gava mu mateeka. 57Kyokka Katonda yeebazibwe, atuwanguza ffe ku lwa Mukama waffe Yesu Kristo.
58N'olwekyo baganda bange abaagalwa, mubenga banywevu, era abatasagaasagana, mweyongerenga bulijjo okukola omulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi nti okufuba kwammwe nga mukolera Mukama waffe, si kwa kufa bwereere.
Currently Selected:
1 ABAKORINTO 15: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.