1 ABAKORINTO 1
1
1Nze Pawulo eyayitibwa okuba omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda bwe yayagala, nze ne Sotene owooluganda, 2tuwandiikira ab'ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo eky'omu Korinto.
Mwayitibwa okuba abatukuvu, ne mutukuzibwa mu Kristo Yesu, awamu ne bonna abakoowoola mu buli kifo erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, Mukama waabwe era owaffe.#Laba ne Bik 18:1 3Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo, babakwatirwe mmwe ekisa, era babawe emirembe.
Emikisa mu Kristo
4Katonda wange eyabakwatirwa mmwe ekisa ng'ayita mu Kristo Yesu, mmwebaza bulijjo olw'ekyo kye yabakolera. 5Mwagaggawalira mu Kristo, ne mufuna buli kintu, omuli bye mwogera byonna ne bye mumanyi byonna, 6kubanga ebyo bye twabategeeza ku Kristo, byanywerera ddala mu mmwe. 7N'olwekyo mulina buli kirabo kyonna, nga mulindirira okulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo. 8Era alibanyweza okutuusa ku nkomerero, muleme kuba na kye munenyezebwamu ku lunaku Mukama waffe Yesu Kristo lw'aliddirako. 9Katonda eyabayita okwegatta n'Omwana we, Mukama waffe Yesu Kristo, mwesigwa.
Okwawukanamu
10Abooluganda, mbeegayirira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mwenna mukkiriziganyenga mu bye mwogera, mulemenga kwawukanamu, naye mubenga ba mwoyo gumu n'emmeeme emu. 11Ab'omu nnyumba ya Kuloowe bantegeeza ebifa ku mmwe baganda bange, nga mu mmwe mulimu ennyombo. 12Kye ŋŋamba kye kino nti buli omu mu mmwe agamba nti nze ndi wa Pawulo, oba nti ndi wa Apollo, oba nti ndi wa Keefa, oba nti ndi wa Kristo.#Laba ne Bik 18:24 13Kwe kugamba Kristo ayawuliddwamu? Pawulo yali akomereddwa ku musaalaba ku lwammwe? Oba mwabatizibwa mu linnya lya Pawulo?
14Neebaza Katonda, kubanga nze sibatizanga wadde omu ku mmwe, okuggyako Krispo ne Gaayo.#Laba ne Bik 18:8; 19:29; Bar 16:23 15N'olwekyo tewali ayinza kugamba nti yabatizibwa mu linnya lyange. 16(Era nabatiza n'ab'omu nnyumba ya Siteefano. Okuggyako abo, simanyi oba nga nabatizaayo omulala.)#Laba ne 1 Kor 16:15 17Kristo teyantuma kubatiza, wabula yantuma okutegeeza abantu Amawulire Amalungi, awatali kwesigama ku magezi ag'abantu obuntu, si kulwa ng'omusaalaba gwa Kristo guggwaamu amaanyi.
Kristo ge maanyi n'amagezi ga Katonda
18Ebigambo ebifa ku musaalaba birabika nga bya busirusiru eri abo abali mu kkubo erigenda mu kuzikirira, naye eri ffe abalokolebwa, biba maanyi ga Katonda, 19kubanga kyawandiikibwa nti: “Ndizikiriza amagezi g'abagezi, ne nzigyawo okutegeera kw'abategeevu.”#Laba ne Yis 29:14
20Omugezi ali ludda wa? Omunnyonnyozi w'amateeka ali ludda wa? Omuwakanyi ow'omulembe guno ali ludda wa? Amagezi g'ensi Katonda tagafudde busirusiru?#Laba ne Yob 12:17; Yis 19:12; 33:18; 44:25
21Katonda mu magezi ge, alaze nti abantu tebasobola kumumanya lwa magezi agaabwe, kyavudde asiima okuyita mu busirusiru bw'ebigambo bye tutegeeza abantu, alyoke alokole abo abamukkiriza. 22Abayudaaya baagala kulaba byewuunyo. Abayonaani banoonya magezi. 23Naye ffe tutegeeza abantu Kristo eyakomererwa ku musaalaba. Kristo oyo nkonge eri Abayudaaya, ate busirusiru eri ab'amawanga amalala. 24Naye Kristo maanyi ga Katonda, era magezi ga Katonda eri abo Abayudaaya n'Abayonaani, Katonda b'ayise, 25kubanga obusirusiru bwa Katonda, businga abantu amagezi; n'obunafu bwa Katonda, businga abantu amaanyi.
26Kale abooluganda, mujjukire nga bwe mwali, Katonda bwe yabayita. Batono mu mmwe ensi be yandiyise ab'amagezi, batono abaali ab'obuyinza, era batono abaali abeekitiibwa. 27Kyokka Katonda yalonda ebyo ensi by'eyita ebisirusiru, alyoke akwase ab'amagezi ensonyi. Era yalonda ebyo ensi by'eyita ebinafu, alyoke akwase eby'amaanyi ensonyi.
28Katonda yalonda ebyo ensi by'egaya era by'enyooma, era by'eyita ebitaliiwo, alyoke azikirize ebyo ensi by'eyita ebikulu, 29waleme kubaawo yeenyumiriza mu maaso ga Katonda. 30Kyokka mmwe Katonda yabagatta ne Kristo, gwe yafuula amagezi gaffe. Mu Kristo ono, Katonda mwe yatufuulira abatuukirivu, mwe yatutukuliza era mwe yatununulira, 31nga bwe kyawandiikibwa nti: “Eyeenyumiriza, yeenyumiririzenga mu Mukama.”#Laba ne Yer 9:24
Currently Selected:
1 ABAKORINTO 1: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.