YouVersion Logo
Search Icon

1 ABAKORINTO 2

2
Kristo ku musaalaba
1Abooluganda, bwe najja gye muli, okubategeeza ekyama kya Katonda, saakozesa bigambo bizibu okutegeera, oba eby'amagezi ennyo, 2kubanga bwe nali nammwe nasalawo okwerabira ebirala byonna, okuggyako Yesu Kristo, eyakomererwa ku musaalaba. 3Bwe nali mu mmwe, nali munafu era nga nkankana nnyo olw'okutya.#Laba ne Bik 18:9 4Era mu kwogera kwange ne mu kuyigiriza kwange, temwalimu bigambo bya magezi ebisendasenda, wabula mwalimu amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu, 5okukkiriza kwammwe kuleme kunywerera ku magezi ga bantu buntu, wabula ku maanyi ga Katonda.
Amagezi ga Katonda
6Naye mu abo abakulu mu mwoyo, twogera eby'amagezi, naye eby'amagezi agatali ga bantu ab'oku nsi kuno, wadde ag'abafuzi b'ensi eno, abaggwaawo, 7wabula twogera eby'amagezi ga Katonda agatamanyiddwa bantu, era agaakisibwa. Katonda yagateekateeka edda n'edda lyonna, gabe ekitiibwa kyaffe. 8Tewali n'omu ku bafuzi ku nsi kuno ategeera magezi ago, kubanga singa baagategeera, tebandikomeredde ku musaalaba Mukama oweekitiibwa. 9Naye nga bwe kyawandiikibwa: “Ebyo eriiso bye litalabangako, n'okutu bye kutawulirangako, era ebitalowoozebwangako muntu n'omu, by'ebyo Katonda bye yategekera abamwagala.”#Laba ne Yis 64:4
10Kyokka ffe, Katonda ng'ayita mu Mwoyo we, yatumanyisa ekyama ekyo, kubanga Mwoyo anoonyereza buli kintu, n'ekyo ekiri mu Katonda yennyini. 11Tewali amanya birowoozo bya muntu, wabula omwoyo gwe gwe gubimanya. Bwe kityo ne Mwoyo wa Katonda ye yekka amanya ebya Katonda. 12Tetwaweebwa mwoyo gwa ku nsi kuno, wabula twaweebwa Mwoyo eyava ewa Katonda, tulyoke tutegeerenga ebyo Katonda by'atuwa.
13N'olwekyo tetwogera bigambo bya magezi ga bantu buntu, wabula twogera ebyo Mwoyo by'ayigiriza, ne tubinnyonnyola abo abategeera ebya Mwoyo. 14Naye omuntu atafugibwa Mwoyo wa Katonda, tasobola kukkiriza bya Mwoyo wa Katonda, kubanga abiraba ng'eby'obusirusiru. Era tayinza kubitegeera, kubanga byekenneenyezebwa muntu alina Mwoyo wa Katonda. 15Oyo afugibwa omwoyo yeekenneenya byonna, naye ye tewali n'omu amwekenneenya, 16kubanga, “ani amanyi Mukama by'alowooza alyoke amuwabule”? Kyokka ffe tumanyi endowooza ya Kristo.#Laba ne Yis 40:13

Currently Selected:

1 ABAKORINTO 2: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in