YouVersion Logo
Search Icon

1 ABAKORINTO Ennyanjula

Ennyanjula
Ebbaluwa embereberye Pawulo gye yawandiikira Abakorinto, Pawulo yagiwandiika okukola ku bizibu mu bulamu bw'Abakristo ne ku kukkiriza kwabwe mu kibiina kyabwe eby'Abakristo Pawulo kye yatandikawo e Korinto. Mu kiseera ekyo Korinto kyali kibuga kya Bayonaani ekigatta amawanga mangi, era nga kye kibuga ekikulu eky'ettwale ly'Abarooma ery'e Akaya. Kyali kimanyiddwa olw'okukulaakulana kwakyo mu by'obusuubuzi, eby'obuwangwa bye kyenyumiririzaamu, n'eddiini ezenjawulo.
Ekikulu Omutume ky'afaako, gye mitawaana egitali gimu, okugeza: okweyawulayawulamu n'empisa ez'obugwenyufu mu kibiina ky'Abakkiriza Kristo; ebyebuuzibwa ku ntabagana y'abasajja n'abakazi, n'ebifa ku bufumbo; ebifa ku ntereeza y'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, ku bitone bya Mwoyo Mutuukirivu, ne ku kuzuukira kw'abafu. Pawulo akozesa okulengera ewala n'alaga Amawulire Amalungi nga bwe gagamba ku byebuuzibwa ebyo byonna.
Omutwe ogw'ekkumi n'esatu ogulaga okwagala nga bwe okwali ekitone ekisingira ddala mu byonna Katonda by'atuwa, kye kitundu mpozzi ekisinga okumanyibwa mu bbaluwa eno.
Ebiri mu bbaluwa eno mu bufunze
Ennyanjula 1:1-9
Okweyawulayawulamu okuli mu kibiina ky'abakkiriza Kristo 1:10–4:21
Ebikwata ku kuwasa n'okufumbirwa n'obulamu bw'amaka 5:1–7:40
Abakkiriza Kristo n'abatamanyi Katonda 8:1–11:1
Obulamu bw'ekibiina ky'abakkiriza Kristo wamu n'engeri gye basinzaamu Katonda 11:2–14:40
Okuzuukira kwa Kristo n'okw'abagoberezi be 15:1-58
Ebiweebwayo olw'abakkiriza Kristo ab'omu Buyudaaya 16:1-4
Okufundikira n'okusiibula 16:5-24

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in