Mat 9
9
1Bwe yasaabala eryato n'awunguka, n'atuuka mu kibuga kyabowo. 2Awo ne bamuleetera omulwadde akonzibye nga bamugalamizza ku lunnyo. Yezu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba akonzibye nti: “Guma, mwana wange; ebibi byo bisonyiyiddwa.” 3Awo abamu ku bawandiisi ne bagamba munda yaabwe nti: “Ono avuma Katonda.” 4Yezu bwe yalaba bye balowooza, n'agamba nti: “Mulowooleza ki obubi mu mitima gyammwe? 5Ekisinga obwangu kiruwa, okugamba nti: ‘Ebibi byo bisonyiyiddwa,’ nandiki okugamba nti: ‘Situka otambule?’ 6Kale mmwe okumanya ng'Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi obw'okusonyiwa ebibi,” - awo n'agamba akonzimbye nti: “Situka, kwata olunnyo lwo ogende ewammwe.” 7N'asituka n'agenda ewaabwe. 8Ebibiina bwe byalaba, ne bitya, ne bigulumiza Katonda eyawa abantu obuyinza obwenkana awo.
Matayo ayitibwa
9 #
Mar 2,13-17; Luk 5,27-32. Yezu bwe yali ayita ng'ava eyo, n'alaba omusajja ng'atudde mu ggwoolezo, erinnya lye ye Matayo, n'amugamba nti: “Ngoberera.” N'asituka, n'amugoberera. 10#Luk 5,29-32; 15,1-2; Mar 2,15-17.Bwe yali mu nnyumba ng'atudde ku lujjuliro okulya, abasolooza b'omusolo bangi n'aboonoonyi ne bajja ne batuula wamu ne Yezu n'abayigirizwa be. 11Abafarisaayo bwe baalaba ekyo, ne bagamba abayigirizwa be nti: “Omuyigiriza wammwe lwaki alya n'abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi?” 12Yezu bwe yawulira, n'agamba nti: “Abalamu si be beetaaga omusawo, wabula abalwadde. 13#Mat 12,7; Oz 6,6; 1 Tim 1,15.Kale mugende muyige kino kye kitegeeza, nti: ‘Njagala kisa sso si kitambiro.’ Abatuukirivu si be najja okuyita, wabula aboonoonyi.”
Abayigirizwa obutasiiba
14 #
Mar 2,18-22; Luk 5,33-39. Abayigirizwa ba Yowanna ne bajja gy'ali, ne bagamba nti: “Lwaki ffe n'Abafarisaayo tusiiba, sso ng'abayigirizwa bo tebasiiba?” 15Yezu n'abagamba nti: “Ddala abagenyi ku mbaga y'obugole bayinza okukungubaga ng'awasizza akyali nabo? Ennaku zirituuka, awasizza n'abaggyibwako, olwo balisiiba. 16Mpaawo assa kiwero kiggya ku kyambalo kikadde; kubanga ekiraka kyeyuza ku kyambalo, okuyulika ne kweyongera bweyongezi. 17N'evviini ensu tefukibwa mu nsawo nkadde; bwe bakola batyo, ensawo tezirema kutulika, evviini n'eyiika n'ensawo ne zoonooneka. Evviini ensu efukibwa mu nsawo mpya; byombi lwe bikuumibwa obulungi.”
Omulwadde wa ggerenge ne muwala wa Yayiro
18 #
Mar 5,21-43; Luk 8,40-56. Yezu yali akyayogera nabo ebigambo ebyo, ne wajjawo omukungu, n'amuvunnamira, n'agamba nti: “Muwala wange yaakakutuka; naye jjangu omusseeko omukono gwo, alamuke.” 19Yezu n'asituka n'agenda naye wamu n'abayigirizwa be. 20Awo omukazi eyali alwadde ekikulukuto ekya ggerenge okumala emyaka kkumi n'ebiri, n'afuluma emabega, n'akwata ku mukugiro gw'ekyambalo kye, 21kubanga yali agamba mu mwoyo gwe nti: “Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye, nzija kuwona.” 22Yezu n'akebuka, n'amulaba, n'amugamba nti: “Guma, muwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Omukazi n'awona mu kaseera ako. 23Yezu bwe yatuuka mu nnyumba y'omukungu, n'alaba abafuuwa emirere n'ekibiina nga kiyogaana, n'agamba nti: 24“Muveewo, omuwala tafudde, yeebase bwebasi.” Ne bamusekerera. 25Ekibiina bwe kyamala okugobebwawo, n'ayingira, n'amukwata omukono, omuwala n'ayimirira. 26Amawulire ne gabuna mu nsi eyo yonna.
Bamuzibe babiri bawonyezebwa
27Bwe yali ayita ng'ava eyo, bamuzibe babiri ne bamugoberera nga bakoowoola nti: “Tusaasire, Omwana wa Dawudi.” 28Bwe yatuuka eka, bamuzibe ne basembera w'ali. Yezu n'abagamba nti: “Mukkiriza nga kino nnyinza okukikola?” Bo ne bamugamba nti: “Yee, Mukama.” 29Awo n'akwata ku maaso gaabwe, n'agamba nti: “Kale, kibakolerwe nga bwe mukkiriza.” 30Amaaso gaabwe ne gazibuka. Yezu n'abakuutira ng'agamba nti: “Mulabe nga tewaba kino akimanyaako.” 31Naye bo olwafuluma, ne bamulaalaasa mu nsi eyo yonna.
Kasiru awona
32Bwe baali bafuluma, ne bamuleetera omuntu kasiru akwatiddwa omwoyo omubi. 33Omwoyo omubi bwe gwamala okugobwamu, kasiru n'ayogera; ekibiina ne kyewuunya, abantu ne bagamba nti: “Ekifaanana kiti tekirabikangako mu Yisirayeli.” 34#10,25; 12,24; Mar 3,22; Luk 11,15.Naye Abafarisaayo bo ne bagamba nti: “Emyoyo emibi agigoba ku bwa mukulu w'emyoyo emibi.”
Abakunguzi batono
35 #
4,23; Mar 1,39; Luk 4,44. Awo Yezu ne yeetooloola ebibuga byonna n'ebyalo, ng'ayigiriza mu sinaagooga zaabwe, era ng'alangirira Evangili y'obwakabaka, era ng'awonya buli bulwadde na buli buyongobevu bwonna. 36#Emiw 27,17; 1 Bak 22,17; 2 Ebyaf 18,16; Ez 34,5; Mar 6,34.Naye bwe yalaba ebibiina by'abantu, ne bamukwasa ekisa, kubanga baali bakabiriddwa nga basaasaanye ng'endiga ezitaliiko musumba. 37#Luk 10,2.Awo n'agamba abayigirizwa be nti: “Amakungula mangi, naye abakozi batono. 38Mwegayirire nno Omukama nnannyini makungula asindike abakozi mu makungula ge.”
C. EBIBUULIRIRO ERI ABATUME
Ekkumi n'ababiri balondebwa
Currently Selected:
Mat 9: BIBU1
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.