YouVersion Logo
Search Icon

Mat 10

10
1 # Mar 3,13-19; Luk 6,12-16. Awo n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'abawa obuyinza ku myoyo emigwagwa, bagigobe era bawonye buli bulwadde na buli buyongobevu. 2Amannya g'Abatume ekkumi n'ababiri ge gano: Omubereberye Simoni, ayitibwa Petero, ne Andureya muganda we; Yakobo mutabani wa Zebedaayo ne Yowanna muganda we; 3Filippo ne Barutolomaawo; Toma ne Matayo omusolooza w'omusolo; Yakobo mutabani wa Alufayo ne Taddewo; 4Simoni Omukanaani ne Yuda Yisikariyoti eyamulyamu olukwe. 5#Luk 9,52-53.Ekkumi n'ababiri bano Yezu yabatuma, n'abalagira nti: “Temukwata makubo gagenda mu b'amawanga, temuyingira mu bibuga bya Basamariya; 6wabula mugende eri endiga ezaabula ez'omu nnyumba ya Yisirayeli. 7#4,17; Luk 9,2; 10,9-11.Bwe mugenda, #Luk 10,4-12.mulangirire nga mugamba nti: ‘Obwakabaka obw'omu ggulu busembedde.’ 8Abalwadde mubawonye, abafu mubazuukize, abagenge mubalongoose, emyoyo emibi mugigobe; mwaweebwa buweebwa, nammwe muwe buwi.
9“Temubeera na zaabu newandibadde ffeeza, newandibadde ensimbi ez'ekikomo mu misipi gyammwe; 10#1 Kor 9,14; 1 Tim 5,18.newandibadde ensawo ey'entanda, newandibadde ekkanzu ebbiri, newandibadde engatto, newandibadde omuggo, kubanga omukozi asaanira okuweebwa ekyokulya.
11“Buli kibuga na buli kyalo kye muyingiramu, mubuuze ani alimu asaanye, awo we muba musula okutuusa lwe muvaayo. 12Nga muyingira mu nnyumba eyo, mulamusenga abalimu.#10,12 Oba: mugiramusenga. 13Ennyumba eyo bw'eneebanga esaanidde, omukisa gwammwe gugijjengako; naye bw'eneebanga tesaanidde, omukisa gwammwe gubaddirenga.
14 # Ebik 13,51. “Yenna ataabaanirize oba okukkiriza ebigambo byammwe, bwe mubanga muva mu nnyumba eyo oba mu kibuga ekyo, mukunkumulanga enfuufu y'ebigere byammwe. 15#Mar 6,7-13; Luk 9,1-6.Ka mbabuulire, ekirituukirira ensi y'e Sodoma n'ey'e Gomorra ku lunaku olw'okulamulibwa kiriba kigumiikirizika okusinga ekirituukirira ekibuga ekyo.
Obutatya biyigganyizo
16 # Amas 3,1; Rom 16,19. “Wuuno nze mbatumye kyenkana ng'endiga mu misege wakati; awo nno mubeere balabufu ng'emisota, ate nga temuliiko kibavunaanibwa ng'enjiibwa.
17 # Mar 13,9-11; Luk 12,11-12; 21,12-15. “Mwerinde abantu; kubanga balibawaayo mu nkiiko, era banaabaswanyuliranga mu sinaagooga zaabwe; 18mulitwalibwa mu maaso g'abaamasaza n'aga bakabaka okubeera nze, okujulira gye bali n'eri ab'amawanga. 19Bwe babawangayo, temweraliikiriranga bwe munaayogera oba kye munaagamba; kye munaayogeranga kiribaweebwanga mu kabanga ako. 20Kubanga si mmwe munaabanga mwogera, wabula Mwoyo wa Kitammwe y'anaayogeranga mu mmwe.
21 # Mar 13,12; Luk 21,16. “Ow'oluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w'omwana omwana we; abaana balisitukira mu babazaala ne babawaayo battibwe. 22#24,9.13; Mar 13,13; Luk 21,17.Mulikyayibwa mwenna olw'okubeera erinnya lyange. Naye aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero, y'alirokoka. 23Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu, muddukiranga mu kirala. Kubanga nze mbagambira ddala nti temulibuna byalo bya nsi ya Yisirayeli ng'Omwana w'Omuntu tannajja.
24 # Luk 6,40; Yow 13,16; 15,20. “Omuyigirizwa takira muyigiriza, n'omuweereza takira mukama we. 25#9,34; 12,24; Mar 3,22; Luk 11,15.Kimala kasita omuyigirizwa abeera ng'omuyigiriza we, n'omuweereza nga mukama we. Kale obanga nnannyinimu bamuyise Beelizebuli, tebaasinzeewo bye banaayita ab'omu maka ge?
26 # Mar 4,22; Luk 8,17. “Awo nno temubatya;#Luk 12,2-7. kubanga tewali kibikkiddwa kitalibikkulibwa; tewali kikisiddwa kitalimanyibwa. 27Kye mbagamba mu nzikiza, mukyogeranga mu kitangaala; ate kye muwulira mu kaama mukirangiriranga ku ntikko z'ennyumba. 28Temutyanga abo abatta omubiri obubiri, naye nga tebayinza kutta mwoyo; wabula mutyenga oyo asobola okuzikiriza omwoyo n'omubiri mu Geyenna.
29“Kale enkazaluggya ebbiri tezitundibwa ssente emu? Sso ku ezo tewali egwa ku ttaka nga Kitammwe tayagadde. 30N'enviiri zennyini ku mitwe gyammwe mbale. 31Awo nno temutya; muli ba muwendo okusinga enkazaluggya enkumu.
32 # Luk 12,8-9; 2 Tim 2,12; Okub 3,5. “Buli alinjatula mu maaso g'abantu, nange ndimwatula mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 33#2 Tim 2,12.Naye alinneegaana mu maaso g'abantu nange ndimwegaana mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
Okugumira byonna olwa Kristu
34 # Luk 12,51-53; Mik 7,6. “Temulowooza #Luk 12,51-53; 14,26-27.nga najja kuleeta mirembe ku nsi; sajja kuleeta mirembe, wabula ekitala. 35#Mik 7,6.Anti najja okukyawaganya omuntu ne kitaawe, omuwala ne nnyina, mukaamwana ne nnyazaala we; 36oli abalabe be baliba abo ab'omu maka ge.
37 # Luk 14,26-27. “Ayagala kitaawe ne nnyina okusinga nze, tansaanidde; n'ayagala mutabani we oba muwala we okusinga nze, tansaanidde. 38#Mat 16,24; Mar 8,34; Luk 9,23.N'oli atakwata musaalaba gwe n'angoberera, tansaanidde. 39#16,25; Mar 8,35; Luk 9,24; 17,33; Yow 12,25.Asanga obulamu bwe, alibubuza, naye oli abubuza okubeera nze, alibusanga.
40 # Mar 9,37; 9,41; Luk 9,48; 10,16; Yow 13,20; Gal 4,14. “Abaaniriza ng'ayanirizza nze; ate ayaniriza nze ng'ayanirizza Oli eyantuma. 41Ayaniriza omulanzi kubanga mulanzi, alifuna ku mpeera y'obulanzi; n'oli ayaniriza omutuukirivu olw'obutuukirivu bwe, alifuna ku mpeera ey'omutuukirivu; 42na buli omu aliwa omu ku bato abo ekikopo ky'amazzi amannyogovu ku lw'okuba nti muyigirizwa, mazima ka mbabuulire, talibulwa mpeera ye.”
D. OKUSALAWO KU LW'OBWAKABAKA BW'OMU GGULU

Currently Selected:

Mat 10: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in