Mat 8
8
1 #
Mar 1,40-45; Luk 5,12-16. Awo Yezu bwe yava ku lusozi, ebibiina bingi ne bimugoberera. 2Omusajja omugenge n'ajja gy'ali, n'amuvunnamira ng'agamba nti: “Mukama, bw'oyagala, osobola okunnongoosa.” 3N'agolola omukono gwe, n'amukwatako, n'agamba nti: “Njagala, longooka.” Amangu ago ekigenge kye ne kirongooka. 4#Abal 14,1-32.Yezu n'amugamba nti: “Laba nti tobaako gw'obuulira; wabula genda weeyoleke ewa kabona, oweeyo ekitone Musa kye yalagira, ng'obukakafu gye bali.”
Omuweereza wa Senturiyo
5 #
Luk 7,1-10; Yow 4,46-53. Bwe yali ayingira mu Kafarunawumu, senturiyo omu n'ajja gy'ali, n'amwegayirira 6ng'agamba nti: “Mukama, omuweereza wange eka akonzibidde wansi, alumizibwa ekiyitiridde.” 7Yezu n'amugamba nti: “Kale, ka nzije ntuukeyo, mmuwonye.” 8Senturiyo n'addamu n'amugamba nti: “Mukama, sisaanidde ggwe kuyingira mu nnyumba yange, wabula yogera bwogezi kigambo, omuweereza wange anaawona, 9kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nnina n'abaserikale be ntwala. Bwe ŋŋamba omu nti: ‘Genda,’ ng'agenda; n'omulala nti: ‘Jjangu,’ ng'ajja; n'omuddu wange nti: ‘Kino kikole’ ng'akikola.” 10Yezu bwe yawulira ebyo, ne yeewuunya, n'agamba abaali bamugoberera nti: “Mazima mbagamba nti yadde mu Yisirayeli, sinnasanga kukkiriza kuli ng'okwo. 11#Luk 13,29.Ka mbabuulire: Bangi baliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba ne batuula wamu ne Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo mu bwakabaka obw'omu ggulu; 12#22,13; 25,30; Luk 13,28-29.bo abaana b'obwakabaka ne bagoberwa ebweru mu nzikiza omuliba okukaaba n'okuluma obujiji.” 13Yezu n'agamba senturiyo nti: “Genda, kikukolerwe nga bw'okkiriza.” Mu kaseera ako kennyini omuweereza n'awona.
Nnyina muka Petero awonyezebwa
14 #
Mar 1,29-34; Luk 4,38-41. Yezu bwe yayingira mu nnyumba ya Petero, n'alaba nnyina mukazi we ng'agalamidde wansi alina omusujja; 15n'amukwata ku mukono, omusujja ne gumuta; n'agolokoka n'amuweereza. 16Obudde nga buwungedde, ne bamuleetera bangi abakwatiddwa emyoyo emibi; emyoyo n'agigoba na kigambo bugambo, n'awonya bonna abaali abalwadde. 17#Yis 53,4.Yisaaya omulanzi kye yayogera kituukirire nti: “Yatwala obuyongobevu bwaffe, ne yeetikka endwadde zaffe.”
Ebyetaagibwa mu kubeera omutume
18 #
Luk 9,57-62. Yezu bwe yalaba ebibiina ebinene ebimwebunguludde, n'alagira baveewo bagende emitala. 19Awo omuwandiisi omu n'asembera, n'amugamba nti: “Muyigiriza, nzija kukugobereranga yonna gy'onoogendanga.” 20Yezu n'amugamba nti: “Ebibe birina ebinnya n'ebinyonyi eby'omu bbanga birina ebisu byabyo, naye Omwana w'Omuntu talina w'awunzika mutwe.” 21Omulala mu bayigirizwa be n'amugamba nti: “Mukama, nzikiriza nsooke ŋŋende nziike kitange.” 22Yezu n'amugamba nti: “Ngoberera; leka abafu baziike abafu baabwe.”
Yezu akkakkanya omuyaga
23Awo n'asaabala mu lyato, abayigirizwa be ne bamugoberera. 24Awo omuyaga mungi ne gusituka ku nnyanja, ng'eryato amayengo galibuutikira. Ye yali yeebase. 25Ne basembera w'ali ne bamuzuukusa, nga bagamba nti: “Mukama, tuwonye; tusaanawo.” 26N'abagamba nti: “Mutya biki, mmwe ab'okukkiriza okutono?” N'agolokoka, omuyaga n'ennyanja n'abikomako; ne guba mulaala nnyo. 27Abantu ne beewuunya nga bagamba nti: “Muntu wa kika ki ono okuba nti omuyaga n'ennyanja bimuwulira?”
Abakwatiddwa emyoyo emibi ab'e Gedara
28 #
Mar 5,1-20; Luk 8,26-39. Bwe yatuuka emitala mu nsi y'Abagadara,#8,28 Oba: Abagerasa; Abagerigesa. abantu babiri abakwatiddwa emyoyo emibi ne bajja okumusisinkana nga bava mu biggya; baali bakambwe nnyo nga tewali na muntu ayinza kusala kkubo eryo. 29Ne bawowoggana nga bagamba nti: “Otwagaza ki ggwe, Omwana wa Katonda? Ozze wano okutubonyaabonya ng'obudde tebunnatuuka?” 30Kati nno waaliwo eggana ly'embizzi nnyingi nga lirya ewalako okuva we baali. 31Emyoyo emibi ne gimusaba nti: “Bw'otugobamu, tusindike mu ggana ly'embizzi.” 32N'agigamba nti: “Mugende.” Ne gibamaamukako, ne gyefubitika mu mbizzi. Awo eggana lyonna ne lifubutuka okuva waggulu ku bbanga, ne lyesolessa mu nnyanja, ne lifiira mu mazzi. 33Abaali bazirunda ne badduka, ne bagenda mu kibuga, ne banyumya byonna, n'ebya bali abaali bakwatiddwa emyoyo emibi. 34Awo ekibuga kyonna ne kifuluma okusisinkana Yezu. Bwe baamulaba, ne bamwegayirira ave mu kitundu kyabwe.
Akonzibye awonyezebwa
Currently Selected:
Mat 8: BIBU1
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.