1
Mat 8:26
BIBULIYA ENTUKUVU
BIBU1
N'abagamba nti: “Mutya biki, mmwe ab'okukkiriza okutono?” N'agolokoka, omuyaga n'ennyanja n'abikomako; ne guba mulaala nnyo.
Compare
Explore Mat 8:26
2
Mat 8:8
Senturiyo n'addamu n'amugamba nti: “Mukama, sisaanidde ggwe kuyingira mu nnyumba yange, wabula yogera bwogezi kigambo, omuweereza wange anaawona
Explore Mat 8:8
3
Mat 8:10
Yezu bwe yawulira ebyo, ne yeewuunya, n'agamba abaali bamugoberera nti: “Mazima mbagamba nti yadde mu Yisirayeli, sinnasanga kukkiriza kuli ng'okwo.
Explore Mat 8:10
4
Mat 8:13
Yezu n'agamba senturiyo nti: “Genda, kikukolerwe nga bw'okkiriza.” Mu kaseera ako kennyini omuweereza n'awona.
Explore Mat 8:13
5
Mat 8:27
Abantu ne beewuunya nga bagamba nti: “Muntu wa kika ki ono okuba nti omuyaga n'ennyanja bimuwulira?”
Explore Mat 8:27