YouVersion Logo
Search Icon

Mat 7

7
1 # Luk 6,37-38; Rom 2,1; 14,10. “Temulamulanga, muleme kulamulibwa.#Luk 6,37-38.41-42. 2#Mar 4,24.Kubanga nga bwe mulamula, nammwe bwe munaalamulibwanga; n'ekipimo kye mugera, nammwe kye kiribagererwa.
3“Lwaki olaba akasubi akali mu liiso lya muganda wo, ggwe n'otolaba kisiki kiri mu liryo? 4Oba kale, ogamba otya muganda wo nti: ‘Ka nkuggye akasubi mu liiso lyo,’ sso nga mu liryo mulimu kisiki? 5Mukuusa ggwe, sooka weggye ekisiki mu liiso lyo, awo lw'onoolaba obulungi n'oggya akasubi mu liiso lya muganda wo.
Obutajaajaamya bitukuvu
6“Ebitukuvu temubiwanga mbwa; n'amalulu gammwe temugasuuliranga mbizzi, sikulwa nga zigalinnyirira n'ebigere byazo ate ne zibakyukira ne zibataagulataagula.
Okwegayirira
7“Musabe, muliweebwa; munoonye, mulizuula; mukonkone, muliggulirwawo. 8kubanga buli asaba afuna, buli anoonya azuula, na buli akonkona aliggulirwawo. 9Kale ani mu mmwe awa mutabani we ejjinja ng'amusabye omugaati? 10Obanga amusabye ekyennyanja, n'amuwa omusota? 11Kale oba mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinzaawo okuwa ebirungi ababa bamusabye?
12 # Luk 6,31; 11,9-13; Mar 11,24; Yow 14,13. “Kale nno kyonna kye mwagala abantu babakolere, nammwe kye mubanga mubakolera. Anti eryo lye Tteeka n'Abalanzi.
Ekkubo effunda n'ekkubo eggazi
13 # Luk 13,24. “Muyingirire mu mulyango omufunda; kubanga omulyango mugazi n'ekkubo lyangu eritwala mu kuzikirira, n'abo abalikwata bangi. 14Naye omulyango ogutwala mu bulamu gwa kanyigo, n'ekkubo erituusaayo zzibu, n'abaliggukamu batono.
Abalanzi ab'obulimba
15 # Mat 12,33-35; Luk 6,43-44; Yak 3,12. “Mwerinde abalanzi ab'obulimba abajja gye muli mu byambalo eby'endiga, sso nga munda gye misege emikwakkuzi. 16Ku bibala byabwe kwe mulibategeerera. Kazzi emizabbibu baginoga ku maggwa n'emikunyu ku matovu? 17Anti omuti omulungi, gubala ebibala birungi, n'omuti omubi gubala ebibala bibi. 18Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, era ng'omuti omubi bwe gutayinza kubala bibala birungi. 19#3,10; Luk 3,9.Buli muti ogutabala bibala birungi gutemebwa, ne gukanyugwa mu muliro. 20Bwe #Mat 12,33.kityo nno, ku bibala byabwe kwe mulibategeerera.
Abayigirizwa abannamaddala
21“Si buli muntu aŋŋamba nti: ‘Mukama, Mukama,’ y'aliyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu, wabula oyo akola Kitange ali mu ggulu ky'ayagala.
22 # Mat 25,12; Luk 13,25-27. “Ku lunaku luli, bangi baliŋŋamba nti: ‘Mukama, Mukama, tetwalanganga mu linnya lyo, tetwagobanga emyoyo emibi mu linnya lyo, tetwakolanga ebikolwa eby'amaanyi bingi mu linnya lyo?’ 23Ndibaatulira nti: ‘Sibamanyangako n'akamu; munnyamuke mmwe abakola ebibi.’
24 # Luk 6,47-49; Yak 1,22-25. “Buli awulira ebigambo byange bino n'abissa mu nkola, alifaanaanyirizibwa omuntu omugezi eyazimba ennyumba ye ku lwazi; 25enkuba yafukumuka, mukoka n'ajja, kibuyaga n'akunta, ne byebundula ku nnyumba eyo, sso n'etegwa, kubanga yali ezimbiddwa ku lwazi.
26“Ate buli awulira ebigambo byange bino n'atabissa mu nkola, alifaanaanyirizibwa omuntu omusiru eyazimba ennyumba ye ku musenyu; 27enkuba yafukumuka, mukoka n'ajja, kibuyaga n'akunta, ne byebundula ku nnyumba eyo, n'egwa, ate ekigwo kyayo ne kiba kinene.”
Abantu beewuunya
28 # Mar 1,22; Luk 4,32. Yezu bwe yamala okwogera ebyo, ebibiina ne biwuniikirira olw'enjigiriza ye, 29kubanga yali abayigiriza ng'alina obuyinza, sso si ng'abawandiisi baabwe.
B. KRISTU AKAKASA OBUYINZA BWE
Omugenge awonyezebwa

Currently Selected:

Mat 7: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in