1
Mat 7:7
BIBULIYA ENTUKUVU
BIBU1
“Musabe, muliweebwa; munoonye, mulizuula; mukonkone, muliggulirwawo.
Compare
Explore Mat 7:7
2
Mat 7:8
kubanga buli asaba afuna, buli anoonya azuula, na buli akonkona aliggulirwawo.
Explore Mat 7:8
3
Mat 7:24
“Buli awulira ebigambo byange bino n'abissa mu nkola, alifaanaanyirizibwa omuntu omugezi eyazimba ennyumba ye ku lwazi
Explore Mat 7:24
4
Mat 7:12
“Kale nno kyonna kye mwagala abantu babakolere, nammwe kye mubanga mubakolera. Anti eryo lye Tteeka n'Abalanzi.
Explore Mat 7:12
5
Mat 7:14
Naye omulyango ogutwala mu bulamu gwa kanyigo, n'ekkubo erituusaayo zzibu, n'abaliggukamu batono.
Explore Mat 7:14
6
Mat 7:13
“Muyingirire mu mulyango omufunda; kubanga omulyango mugazi n'ekkubo lyangu eritwala mu kuzikirira, n'abo abalikwata bangi.
Explore Mat 7:13
7
Mat 7:11
Kale oba mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinzaawo okuwa ebirungi ababa bamusabye?
Explore Mat 7:11
8
Mat 7:1-2
“Temulamulanga, muleme kulamulibwa. Kubanga nga bwe mulamula, nammwe bwe munaalamulibwanga; n'ekipimo kye mugera, nammwe kye kiribagererwa.
Explore Mat 7:1-2
9
Mat 7:26
“Ate buli awulira ebigambo byange bino n'atabissa mu nkola, alifaanaanyirizibwa omuntu omusiru eyazimba ennyumba ye ku musenyu
Explore Mat 7:26
10
Mat 7:3-4
“Lwaki olaba akasubi akali mu liiso lya muganda wo, ggwe n'otolaba kisiki kiri mu liryo? Oba kale, ogamba otya muganda wo nti: ‘Ka nkuggye akasubi mu liiso lyo,’ sso nga mu liryo mulimu kisiki?
Explore Mat 7:3-4
11
Mat 7:15-16
“Mwerinde abalanzi ab'obulimba abajja gye muli mu byambalo eby'endiga, sso nga munda gye misege emikwakkuzi. Ku bibala byabwe kwe mulibategeerera. Kazzi emizabbibu baginoga ku maggwa n'emikunyu ku matovu?
Explore Mat 7:15-16
12
Mat 7:17
Anti omuti omulungi, gubala ebibala birungi, n'omuti omubi gubala ebibala bibi.
Explore Mat 7:17
13
Mat 7:18
Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, era ng'omuti omubi bwe gutayinza kubala bibala birungi.
Explore Mat 7:18
14
Mat 7:19
Buli muti ogutabala bibala birungi gutemebwa, ne gukanyugwa mu muliro.
Explore Mat 7:19