Mat 6
6
1 #
23,5. “Mwekkaanyenga, ebikolwa byammwe eby'obutuukirivu obutabikolanga mu maaso g'abantu nga mugoberera babalabe; kubanga olwo temulifuna mpeera ewa Kitammwe ali mu ggulu.
2“Awo nno ggwe bw'ogabanga, tokulembezangamu kkondeere ng'abakuusa bwe bakola mu sinaagooga ne mu mbuga, abantu balyoke babawe ekitiibwa. Mazima mbagamba nti empeera yaabwe yonna bagifunye. 3Naye ggwe bw'ogabanga, omukono gwo ogwa kkono togulekanga kumanya gwa ddyo kye gukoze, 4bwe kityo ky'ogabye kibeere kya kyama; ye Kitaawo alaba ebiri mu kyama alikuweera.
Okwegayirira
5 #
Luk 18,10-14. “Bwe mwegayiriranga, temubeeranga ng'abakuusa abaagala okwegayirira nga bayimiridde mu sinaagooga ne mu masaŋŋanzira g'enguudo, abantu balyoke babalabe. Mazima mbagamba nti empeera yaabwe yonna bagifunye.#Luk 11,2-4. 6Naye ggwe nga weegayirira, oyingiranga mu nnyumba yo, n'oggalawo oluggi n'olyoka weegayirira Kitaawo ali mu kyama. Kitaawo alaba ebiri mu kyama alikuweera. 7Ate nga mwegayirira, temubujjabujjananga ng'abakafiiri bwe bakola; balowooza nti mu kutontoma ebingi mwe banaawulirirwa. 8Temubafaanana, anti Kitammwe kye mwetaaga muba temunnaba na kukimusaba, ng'akimanyi. 9#Luk 11,2-4. Kale nno mwegayiriranga bwe muti:
“Kitaffe ali mu ggulu,
erinnya lyo litiibwe.
10Obwakabaka bwo bujje;
by'oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.
11Tuwe leero emmere yaffe eya buli lunaku.
12Tusonyiwe amabanja gaffe,
nga naffe bwe tusonyiye be tubanja.
13Totutwala mu kukemebwa,
naye tuwonye mu bubi.#6,13 Oba: naye tuwonye omubi
14 # Mar 11,25-26; Ef 4,32; Kol 3,13. “Kubanga bwe munaasonyiwanga abantu ensobi zaabwe, nammwe ne Kitammwe ow'omu ggulu anaabasonyiwanga. 15Naye bwe mutaasonyiwenga bantu, ne Kitammwe taabasonyiwenga nsobi zammwe.
Okusiiba
16“Bwe musiibanga, temwenakuwazanga ng'abakuusa bwe bakola; bafumyafumya amaaso gaabwe abantu balyoke babalabe nti basiiba; ka mbabuulire, empeera yaabwe yonna bagifunye. 17Naye ggwe ng'osiiba, omutwe gwo ogusiiganga omuzigo, amaaso go n'oganaaba, 18abantu baleme kukulaba nti osiiba, wabula Kitaawo ali mu nkiso y'aba akulaba; oyo Kitaawo alaba ebiri mu nkiso alikuweera.
Ku kweraliikirira okukyamu n'okutuufu
19 #
Yak 5,2-3. “Temwekuŋŋaanyirizanga bya bugagga kuno ku nsi ennyenje n'obutalagge mwe bibwonoonera, n'ababbi gye bamenya ne babubba,#Yob 22,24-26; Luk 12,33-34; Mar 10,21; 1 Tim 6,17-19; Yak 5,1-3. 20wabula obugagga bwammwe mubwekuŋŋaanyirizenga mu ggulu eyo ennyenje n'obutalagge gye bitabwonoonera n'ababbi gye batamenya kububba, 21kubanga awabeera obugagga bwo, eyo era n'omutima gwo gye gulibeera.
22 #
Luk 11,34-36. “Eriiso ye ttawaaza y'omubiri. Awo nno eriiso lyo bwe liba eddamu, n'omubiri gwo gwonna gutangaala. 23Naye eriiso lyo bwe liba eddwadde, omubiri gwo gwonna gujja kubeera mu nzikiza. Kale obanga ekitangaala ekikulimu nzikiza, enzikiza eyo nga nnyingi!
24 #
Luk 16,13; 12,22-31. “Mpaawo ayinza kuweereza baami babiri; kubanga oba alikyawako omu n'ayagala omulala, oba alyesiba ku omu omulala n'amunyooma. Temuyinza kuweereza Katonda na byabugagga.
25“Kyenva mbagamba nti temweraliikiriranga bulamu bwammwe, nti munaalya ki, oba nti munaanywa ki, newandibadde omubiri gwammwe nti munaayambala ki. Obulamu si bwe bukira emmere n'omubiri si gwe gukira ekyokwambala? 26Mutunuulire ebinyonyi eby'omu bbanga, tebisiga wadde okukungula wadde okukuŋŋaanyiza mu byagi, sso Kitammwe ali mu ggulu abiriisa. Mmwe temuli ba muwendo okubisinga? 27Ani mu mmwe, ne bwe yeeraliikirira atya, ayinza okwongera omukono ogumu ku buwanvu bwe?#6,27 Oba: ku bulamu bwe. 28N'ebyokwambala lwaki mubyeraliikirira? Mwetegereze amalanga g'okuttale, tegakola wadde okulanga engoye, 29naye, ka mbabuulire, newandibadde Solomoni mu kitiibwa kye kyonna, teyayambalanga ng'erimu ku go. 30Kale obanga omuddo ogw'oku ttale oguliwo leero enkya ne gusuulibwa mu kabiga, Katonda agwambaza bw'atyo, talisingawo nnyo okubambaza, mmwe ab'okukkiriza okutono? 31Awo nno temweraliikiriranga, nga mugamba nti: ‘Tunaalya ki?’ oba nti: ‘Tunaanywa ki?’ oba nti: ‘Tunaayambala ki?’ 32Ab'amawanga bettanira ebyo byonna; ye Kitammwe ow'omu ggulu amanyi ng'ebyo byonna mubyetaaga. 33Musookenga kunoonya bwakabaka bwe na butuukirivu bwe, n'ebyo byonna biribongerwako. 34Awo nno mulekenga kweraliikirira lwa nkya; olw'enkya lulyeraliikirira ebyalwo. Olunaku lubeera n'emitawaana gyalwo egirumala.”
Obutateerera
Currently Selected:
Mat 6: BIBU1
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.