Mat 5
5
1Bwe yalaba ebibiina, n'ayambuka ku lusozi, n'atuula, abayigirizwa be ne bamusemberera. 2N'ayasamya akamwa ke n'abayigiriza nti:
3 #
Luk 6,20-23. “Beesiimye abaavu mu mwoyo, kubanga obwakabaka bw'omu ggulu bwabwe.
4 #
Yis 61,2. Beesiimye abasinda, kubanga balikubagizibwa.
5 #
Zab 37,11. Beesiimye abateefu, kubanga balirya ensi. #5,5 Mu zimu ebiri mu nny. 4 ne 5 biwaanyisaganyizibwa.
6 #
Yis 55,1-2; Okub 22,4. Beesiimye abalumwa enjala n'ennyonta eby'obutuukirivu, kubanga balikkuta.
7Beesiimye ab'ekisa, kubanga baligirirwa ekisa.
8 #
Zab 24,3-4. Beesiimye ab'omutima omulongoofu, kubanga baliraba Katonda.
9Beesiimye abaleeta emirembe, kubanga baliyitibwa baana ba Katonda.
10 #
1 Pet 3,14; 4,14. Beesiimye abayigganyizibwa olw'obutuukirivu,
kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bwabwe.
11Mwesiimye bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe baboogerera buli kigambo kibi kyonna okubeera nze, nga balimba. 12#2 Ebyaf 36,16; Ebik 7,52. Musanyuke, mujaguze, kubanga empeera yammwe mu ggulu nnene. Anti bwe batyo bwe baayigganya abalanzi abaabasooka.
Munnyo gwa nsi, kitangaala kyayo
13 #
Mar 9,50; Luk 14,34-35. “Mmwe munnyo gw'ensi. Kale omunnyo bwe gusaabulukuka, gunazzikamu gutya ensa? Guba tegukyalina kye gugasa, wabula okumansibwa ebweru, ne gulinnyirirwa abantu.
14 #
Yow 8,12; 9,5. “Mmwe kitangaala ky'ensi. Ekibuga ekikubiddwa ku lusozi, tekiyinza kukisibwa. 15#Mar 4,21; Luk 8,16; 11,33. Era tebakoleeza ttawaaza ne bagissa mu kibbo, wabula ku kikondo, n'emulisa bonna abali mu nnyumba. 16#1 Pet 2,12.Ekitangaala kyammwe kyakire bwe kityo abantu, balabe ebikolwa byammwe ebirungi, balyoke bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.
Amateeka n'Abalanzi bya kukwatibwa
17“Muleke kulowooza nga najja kudibya Tteeka oba Abalanzi; sajja kudibya wabula okutuukiriza. 18#Luk 16,17. Mazima mbagamba nti okutuusa eggulu n'ensi lwe biriggwaawo, mpaawo kanyukuta, yadde akatonnyeze, biriva mu Tteeka okutuusa nga byonna bituukiridde. 19Awo nno oyo yenna alimenya wadde ekimu ku biragiro bino ebisinga obutono, aliyitibwa asinga obutene mu bwakabaka obw'omu ggulu. Sso alibikwata n'abiyigiriza, aliyitibwa mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu, 20kubanga, ka mbabuulire, obutuukirivu bwammwe bwe butalikira bwa bawandiisi na Bafarisaayo, temuliyingira mu bwakabaka bwa mu ggulu.
Okufuga obusungu
21 #
Okuv 20,13; Et 5,17. “Mwawulira ng'ab'edda baabagamba nti: ‘Tottanga; alitta alisalirwa omusango.’ 22Naye nze mbagamba nti buli yenna alisunguwalira muganda we, alisalirwa omusango. Aligamba muganda we nti: ‘Oli kintuntu!’ alisalirwa omusango mu Lukiiko. Ate aligamba muganda we nti: ‘Oli musiru!’ alisalirwa omusango gw'omuliro gwa Geyenna.#5,22 Geyenna: mu Luger. (Geenna) Kye kiwonvu Yinnomu omwayokerwanga abantu. 23Awo nno, bw'obanga otwala ekitone kyo ku mwaliiro, n'ojjuukirira awo nga muganda wo akulinako ekigambo, 24leka awo ekitone kyo mu maaso g'omwaliiro, osooke ogende otabagane ne muganda wo; awo olyoke odde oweereze ekitone kyo.
25 #
Luk 12,57-59. “Tabagana mangu ne gw'owoza naye nga mukyali mu kkubo, gw'owoza naye aleme kukutwala wa mulamuzi; omulamuzi aleme kukuwa mukuumi, n'osibibwa mu kkomera. 26Mazima, ka nkubuulire, omwo tolivaamu, okutuusa ng'omaze okusasula akasente akasembayo.
Obwenzi n'ebyesittazo
27 #
Okuv 20,14; Et 5,18. “Mwawulira nga baagamba nti: ‘Toyendanga,’ 28naye nze mbagamba nti buli atunuulira omukazi ng'amwegomba, ng'amwenzeeko muli mu mutima gwe. 29#18,9; Mar 9,47. Obanga eriiso lyo erya ddyo likwesittaza, linokolemu olisuule eri, kubanga kisingako ekitundu ekimu ku ggwe okukufa okusinga omubiri gwo gwonna okusuulibwa mu Geyenna. 30#18,8; Mar 9,43.Obanga omukono gwo ogwa ddyo gukwesittaza, gutemeko ogusuule eri; kubanga kisingako okufiirwa ekitundu ekimu ku ggwe okusinga omubiri gwo gwonna okugenda mu Geyenna.
31 #
Et 24,1-4; Mat 19,7; Mar 10,4. “Baagamba era nti: ‘Anaagobanga mukazi we, amuwanga ebbaluwa ey'obugobe.’ 32#Et 24,1-4; Mat 19,9; Mar 10,11-12; Luk 16,18; 1 Kor 7,10-11. Naye nze mbagamba nti buli agoba mukazi we, wabula mpozzi olw'obwenzi, aba amusudde mu bwenzi; n'oyo awasa omukazi agobeddwa, aba ayenze.
Okulayira
33 #
Abal 19,12; Emiw 30,2; Et 23,21. “Era mwawulira ng'ab'edda baabagamba nti: ‘Tolayiriranga bya bulimba; by'olayidde obituukirizanga ew'Omukama.’#23,16-22; Yak 5,12; Abal 19,12; Emiw 30,2; Et 23,21. 34#Yak 5,12; Yis 66,1; Mat 23,22. Naye nze, ka mbabuulire, temulayiranga n'akatono, newandibadde okulayira eggulu, kubanga ye ntebe ya Katonda; 35#Yis 66,1; Zab 48,2. newandibadde ensi, kubanga ke katebe k'ebigere bye; n'ewandibadde Yeruzaalemu, kubanga kye kibuga kya Kabaka omukulu; 36newandibadde omutwe gwo, kubanga oluviiri olumu toyinza kulufuula lweru yadde oluddugavu. 37Wabula kye mwogera kibenga ‘Yee’ aweetaagisa yee, oba ‘Nedda,’ aweetaagisa nedda; ekisinga ku ebyo kiva mu mubi.
Obutawoolera ggwanga n'okwagala abatukolera obubi
38 #
Okuv 21,24; Abal 24,20; Et 19,21. “Mwawulira nga baagamba nti: ‘Liiso olw'eriiso, linnyo olw'erinnyo,’ #5,38 Oba: ‘Eriiso ligattibwa liiso, n'erinnyo ligattibwa linnyo.’ 39#Luk 6,29-30; 1 Kor 6,7. Naye nze mbagamba nti teweereeganga na mubi; oli bw'akukubanga ku ttama erya ddyo, omukyusizanga n'eddala. 40Oli bw'ayagalanga okukutwala mu mbuga okubowa ekkanzu yo, mulekere n'omunagiro, 41na buli akuwalirizanga okugenda naye ebigere olukumi, genda naye enkumi bbiri,#5,41 Oba: mayilo emu…mayilo bbiri; mayilo ey'ekiroma eweza kilomita 1.5; erimu ebigere lukumi. 42Akusabanga, omuwanga; ne kw'oli ayagala okukwewolako tokyukiranga eri.
43 #
Abal 19,18. “Mwawulira nga baagamba nti: ‘Oyagalanga munno, n'okyawa omulabe wo.’ #Abal 19,18; Eng 25,21-22; Luk 6,27-28.32-36. 44Naye nze mbagamba nti mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya, 45lwe mulibeera abaana ba Kitammwe ali mu ggulu, ayasiza enjuba ye ababi n'abalungi, n'atonnyeseza enkuba ye abatuukirivu n'abatali batuukirivu. 46Obanga mwagala babaagala, mufunamu mpeera ki? Abasolooza b'omusolo nabo si bakola kye kimu? 47Obanga mulamusa baganda bammwe bokka, kiki kye mukola kye musinza abalala? Ne bannamawanga si bwe bakola? 48#19,21; Abal 19,2; Et 18,13; 1 Pet 1,16. Awo nno mube batuufu nga Kitammwe ow'omu ggulu bw'ali omutuufu.”
Okugabira abanaku
Currently Selected:
Mat 5: BIBU1
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.