1
Mat 5:15-16
BIBULIYA ENTUKUVU
BIBU1
Era tebakoleeza ttawaaza ne bagissa mu kibbo, wabula ku kikondo, n'emulisa bonna abali mu nnyumba. Ekitangaala kyammwe kyakire bwe kityo abantu, balabe ebikolwa byammwe ebirungi, balyoke bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.
Compare
Explore Mat 5:15-16
2
Mat 5:14
“Mmwe kitangaala ky'ensi. Ekibuga ekikubiddwa ku lusozi, tekiyinza kukisibwa.
Explore Mat 5:14
3
Mat 5:8
Beesiimye ab'omutima omulongoofu, kubanga baliraba Katonda.
Explore Mat 5:8
4
Mat 5:6
Beesiimye abalumwa enjala n'ennyonta eby'obutuukirivu, kubanga balikkuta.
Explore Mat 5:6
5
Mat 5:44
Naye nze mbagamba nti mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya
Explore Mat 5:44
6
Mat 5:3
“Beesiimye abaavu mu mwoyo, kubanga obwakabaka bw'omu ggulu bwabwe.
Explore Mat 5:3
7
Mat 5:9
Beesiimye abaleeta emirembe, kubanga baliyitibwa baana ba Katonda.
Explore Mat 5:9
8
Mat 5:4
Beesiimye abasinda, kubanga balikubagizibwa.
Explore Mat 5:4
9
Mat 5:10
Beesiimye abayigganyizibwa olw'obutuukirivu, kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bwabwe.
Explore Mat 5:10
10
Mat 5:7
Beesiimye ab'ekisa, kubanga baligirirwa ekisa.
Explore Mat 5:7
11
Mat 5:11-12
Mwesiimye bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe baboogerera buli kigambo kibi kyonna okubeera nze, nga balimba. Musanyuke, mujaguze, kubanga empeera yammwe mu ggulu nnene. Anti bwe batyo bwe baayigganya abalanzi abaabasooka.
Explore Mat 5:11-12
12
Mat 5:5
Beesiimye abateefu, kubanga balirya ensi.
Explore Mat 5:5
13
Mat 5:13
“Mmwe munnyo gw'ensi. Kale omunnyo bwe gusaabulukuka, gunazzikamu gutya ensa? Guba tegukyalina kye gugasa, wabula okumansibwa ebweru, ne gulinnyirirwa abantu.
Explore Mat 5:13
14
Mat 5:48
Awo nno mube batuufu nga Kitammwe ow'omu ggulu bw'ali omutuufu.”
Explore Mat 5:48
15
Mat 5:37
Wabula kye mwogera kibenga ‘Yee’ aweetaagisa yee, oba ‘Nedda,’ aweetaagisa nedda; ekisinga ku ebyo kiva mu mubi.
Explore Mat 5:37
16
Mat 5:38-39
“Mwawulira nga baagamba nti: ‘Liiso olw'eriiso, linnyo olw'erinnyo,’ Naye nze mbagamba nti teweereeganga na mubi; oli bw'akukubanga ku ttama erya ddyo, omukyusizanga n'eddala.
Explore Mat 5:38-39
17
Mat 5:29-30
Obanga eriiso lyo erya ddyo likwesittaza, linokolemu olisuule eri, kubanga kisingako ekitundu ekimu ku ggwe okukufa okusinga omubiri gwo gwonna okusuulibwa mu Geyenna. Obanga omukono gwo ogwa ddyo gukwesittaza, gutemeko ogusuule eri; kubanga kisingako okufiirwa ekitundu ekimu ku ggwe okusinga omubiri gwo gwonna okugenda mu Geyenna.
Explore Mat 5:29-30