YouVersion Logo
Search Icon

Mat 4

4
1 # Abeeb 2,18; 4,15. Awo Yezu n'ayambusibwa Mwoyo mu ddungu okukemebwa Sitaani.#Mar 1,12-13; Luk 4,1-13; Abeeb 2,18; 4,15. 2N'asiiba emisana amakumi ana n'ebiro amakumi ana, oluvannyuma enjala n'emuluma. 3Omukemi n'asembera n'amugamba nti: “Oba oli Mwana wa Katonda, gamba amayinja gano gafuuke emigaati.” 4#Et 6,16. Ye n'ayanukula nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu taabenga mulamu lwa mugaati gwokka, naye na lwa buli kigambo ekifuluma mu kamwa ka Katonda.’ ” 5Awo Sitaani n'amutwala ku kibuga ekitukuvu, n'amuteeka ku kitikkiro ky'Ekiggwa, 6#Zab 91,11-12. n'amugamba nti: “Oba oli Mwana wa Katonda, weesuule wansi, kubanga kyawandiikibwa nti:
“ ‘Aliragira bamalayika be ku ggwe,
era balikutwalira mu mikono gyabwe
oleme kukoona kigere kyo ku jjinja.’ ”
7Yezu n'amugamba nti: “Era kyawandiikibwa nti: ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ” 8Sitaani n'amuddira ate, n'amutwala ku lusozi oluwanvu, n'amwoleka amawanga gonna ag'ensi n'ekitiibwa kyago, 9n'amugamba nti: “Ebyo byonna nnaabikuwa bw'onoovunnama omala onsinza.” 10#Et 6,13. Awo Yezu kwe kumugamba nti: “Vvaawo, Sitaani, kubanga kyawandiikibwa nti:
“ ‘Osinzanga Omukama Katonda wo,
era yekka gw'oweerezanga.’ ”
11Awo Sitaani n'amuleka; laba, amangu ago bamalayika ne basembera ne bamuweereza.
III. YEZU AYIGIRIZA MU GALILAAYA
Yezu addayo mu Galilaaya
12 # 14,3; Mar 6,17; Luk 3,19-20. Yezu bwe yawulira nga Yowanna bamusibye, n'addayo mu Galilaaya; 13#Yow 2,12; Luk 4,23; Mar 1,21. n'ava e Nazareti, n'agenda abeeranga e Kafarunawumu eky'oku nnyanja, ku nsalo za Zebuluni ne Nafutali, 14omulanzi Yisaaya kye yalanga kituukirire nti:
15 # Yis 9,1-2. “Ensi ya Zebuluni n'ensi ya Nafutali;
Ekkubo ery'oku Nnyanja, emitala wa Yorudani;
Galilaaya ey'Amawanga;
16abantu abaali batudde mu kizikiza,
balabye ekitangaala ekinene;
n'abaali batudde mu nsi ne mu kisiikirize eky'olumbe
ekitangaala kibaakidde.”
17 # 3,2. Okuva ku olwo Yezu n'asooka okuyigiriza, ng'agamba nti: “Mwenenye, kubanga obwakabaka obw'omu ggulu busembedde.”
Abatume abana abaasooka okuyitibwa
18 # Mar 1,16-20; Luk 5,1-11; Yow 1,35-42. Bwe yali atambula ku lubalama lw'ennyanja y'e Galilaaya, n'alaba ab'oluganda babiri: Simoni ayitibwa Petero ne Andureya muganda we, nga basuula akatimba mu nnyanja, kubanga baali bavubi, 19n'abagamba nti: “Mungoberere, ndibafuula abavubi b'abantu.” 20Amangu ago ne baleka obutimba bwabwe, ne bamugoberera.
21Bwe yatambulako okuva awo, n'alaba ab'oluganda abalala babiri: Yakobo mutabani wa Zebedaayo ne Yowanna muganda we, nga bali mu lyato wamu ne kitaabwe Zebedaayo, nga basanirira obutimba bwabwe, n'abayita. 22Amangu ago ne baleka obutimba bwabwe ne kitaabwe, ne bamugoberera.
Yezu agenda ayigiriza nga bw'awonya
23 # 3,2; 9,35; 10,7; Mar 1,39; Luk 4,15. Awo Yezu n'atalaaga Galilaaya yonna ng'ayigiriza mu sinaagooga zaabwe, ng'ababuulira Evangili y'obwakabaka ate ng'awonya buli bulwadde bwonna na buli nkenyera mu bantu. 24Ettutumu lye ne lituuka wonna mu Siriya; ne bamuleetera abalwadde bonna, abaalina endwadde eza buli ngeri, n'abalumizibwa, n'abakwatiddwa emyoyo emibi, n'ab'ensimbu, n'abakonzibye, n'abawonya. 25Ebibiina bingi ne bimugoberera okuva mu Galilaaya, mu Dekapoli, mu Yeruzaalemu, mu Buyudaaya n'emitala wa Yorudani.
A. OKUYIGIRIZA KU LUSOZI

Currently Selected:

Mat 4: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in