Mat 3
3
1 #
Mar 1,3-8; Luk 3,2-17; Yow 1,6-8.19-28. Mu nnaku ezo Yowanna Batista n'ajja ng'ayigiriza mu ddungu ly'e Buyudaaya, 2#4,17; Mar 1,15. ng'agamba nti: “Mubonerere kubanga obwakabaka obw'omu ggulu busembedde.” 3#Yis 40,3. Anti ono ye wuuyo eyayoogerwako Yisaaya omulanzi nti:
“Eddoboozi ery'oyo aleekaana mu ddungu nti:
‘Mutegeke ekkubo ly'Omukama,
muluŋŋamye obukubo bwe.’ ”
4 #
2 Bak 1,8; Zak 13,4; Abal 11,22. Kati nno Yowanna yalina ekyambalo eky'ebyoya by'eŋŋamiya n'omusipi ogw'olukoba mu kiwato kye; emmere ye yabanga nzige n'omubisi gw'enjuki ogw'oku ttale. 5Yeruzaalemu ne Buyudaaya yenna n'ensi yonna ekoota Yorudani ne bagendanga gy'ali, 6n'ababatiza mu mugga Yorudani nga baatula ebibi byabwe.
7 #
12,34; 23,33. Bwe yalaba nga bangi mu Bafarisaayo ne mu Basaddukaayo bajja gy'ali okubatizibwa, n'abagamba nti: “Mmwe abaana b'amasalambwa, ani abalabudde okudduka obusungu obugenda okujja? 8Kale nno mulage ebibala ebiva mu kubonerera kwammwe. 9#Yow 8,33; Rom 4,16. Temulowooza nga mwegamba nti: ‘Tulina kitaffe Yiburayimu,’ kubanga, ka mbabuulire, mu mayinja gano gennyini Katonda ayinza okuggyiramu Yiburayimu abaana. 10#7,19.Na kati embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti. Buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwa gusuulibwe mu muliro. 11Weewaawo nze mbatiza na mazzi olw'okwenenya, naye oyo ananziririra y'ansinga amaanyi, gwe sisaanira na kukwatira ngatto ze; oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutuukirivu n'omuliro. 12#13,30. Olugali lwe lumuli mu ngalo, ajja okulongoosa egguuliro lye, eŋŋano ye agikuŋŋaanyize mu byagi bye, byo ebisusunku abyokye n'omuliro ogutayinza kuzikira.”
Yezu abatizibwa
13 #
Mar 1,9-11; Luk 3,21-22; Yow 1,31-34. Awo Yezu n'ava mu Galilaaya n'agenda ku Yorudani eri Yowanna amubatize. 14Yowanna yali amutangira, ng'agamba nti: “Nze nsaanye ggwe ombatize; ate ggwe n'ojja gye ndi?” 15Yezu n'ayanukula n'amugamba nti: “Mala gakkiriza kati; kubanga tugwanye okutuukiriza buli butuukirivu bwonna.” Awo n'amuleka.
16Yezu olwamala okubatizibwa, amangu ago n'ava mu mazzi. Awo eggulu ne libikkuka, n'alaba Mwoyo wa Katonda ng'akkirira ng'enjiibwa, n'amukkako. 17#Amas 22,2; Zab 2,7; Yis 42,1; Mat 12,18; 17,5; Mar 1,11; Luk 9,35. Awo eddoboozi ne liva mu ggulu, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe neesiimiramu.”
Yezu asiiba n'akemebwa
Currently Selected:
Mat 3: BIBU1
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.