1
Mat 3:8
BIBULIYA ENTUKUVU
BIBU1
Kale nno mulage ebibala ebiva mu kubonerera kwammwe.
Compare
Explore Mat 3:8
2
Mat 3:17
Awo eddoboozi ne liva mu ggulu, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe neesiimiramu.”
Explore Mat 3:17
3
Mat 3:16
Yezu olwamala okubatizibwa, amangu ago n'ava mu mazzi. Awo eggulu ne libikkuka, n'alaba Mwoyo wa Katonda ng'akkirira ng'enjiibwa, n'amukkako.
Explore Mat 3:16
4
Mat 3:11
Weewaawo nze mbatiza na mazzi olw'okwenenya, naye oyo ananziririra y'ansinga amaanyi, gwe sisaanira na kukwatira ngatto ze; oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutuukirivu n'omuliro.
Explore Mat 3:11
5
Mat 3:10
Na kati embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti. Buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwa gusuulibwe mu muliro.
Explore Mat 3:10
6
Mat 3:3
Anti ono ye wuuyo eyayoogerwako Yisaaya omulanzi nti: “Eddoboozi ery'oyo aleekaana mu ddungu nti: ‘Mutegeke ekkubo ly'Omukama, muluŋŋamye obukubo bwe.’ ”
Explore Mat 3:3
Home
Bible
Plans
Videos