YouVersion Logo
Search Icon

Mat 22

22
1 # Luk 14,15-24. Awo Yezu n'addamu okwogera nabo mu ngero, n'agamba nti: 2“Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa kabaka eyakolera mutabani we embaga ey'obugole, 3n'atuma abaweereza be okunona abaayitiddwa ku mbaga, naye bo ne bagaana okujja. 4N'atuma abaweereza abalala, n'abagamba nti: ‘Mugambe abayitiddwa nti nteeseteese embaga yange, nzise zisseddume zange ko n'ente ensava; byonna biwedde okuteekateeka; mujje ku mbaga.’ 5Naye bali ne bateefiirayo, ne beetambulira; omu n'agenda mu nnimiro ye, omulala mu byamaguzi bye; 6#21,35.abaasigalawo ne bakwata abaweereza be ne babajolonga, n'okubatta ne babatta. 7Kabaka n'akalala n'asindika amagye ge, n'azikiriza abatemu abo, ekibuga kyabwe n'akyokya omuliro.
8“Awo n'agamba abaweereza be nti: ‘Embaga yiino ewedde okuteekateeka, naye ababadde bayitiddwa tebasaanidde. 9Kale nno mugende mu masaŋŋanzira muyite ku mbaga bonna be munaasanga.’ 10Abaweereza ne bagenda mu nguudo ne mu makubo ne bakuŋŋaanya bonna be baasaangiriza: ababi n'abalungi, ekisenge omwali embaga ne kijjula abagenyi. 11Kabaka bwe yayingira okulaba abagenyi, n'asangamu omuntu atayambadde kyambalo kya mbaga; 12n'amugamba nti: ‘Munnange, oyingidde otya muno nga tolina kyambalo kya mbaga?’ Oli n'asirika busirisi. 13#Mat 8,12; 25,30; Luk 13,28.Awo kabaka n'agamba abaweereza be nti: ‘Mumusibe emikono n'amagulu, mumusuule ebweru mu kizikiza, eyo awaliba okukaaba n'okuluma obujiji’ 14Kubanga abayitiddwa bangi, naye abalondemu batono.”
Omusolo gwa Kayisari
15 # Mar 12,13-17; Luk 20,20-26. Awo Abafarisaayo ne bagenda ne bateesa amagezi bamutege mu bigambo. 16Ne bamusindikira abayigirizwa baabwe wamu n'ab'ekibiina kya Erode, nga bagamba nti: “Muyigiriza, tumanyi ng'oli wa mazima era ng'oyigiriza mu mazima ekkubo lya Katonda, ate nga teweeguya muntu, kubanga obukulu bw'omuntu si bw'otunuulira. 17Kale tubuulire ky'olowooza: kisaanye okuwa Kayisari omusolo, nandiki tekisaanye?” 18Yezu n'ategeera omutima gwabwe omubi, n'abagamba nti: “Bakuusa mmwe, munkemera ki? 19Mundage dinaari ey'omusolo.” Bo ne bamuleetera dinaari. 20N'abagamba nti: “Ekifaanaanyi kino n'ekiwandiiko ebiriko by'ani?” 21Ne bamugamba nti: “Bya Kayisari.” N'abagamba nti: “Awo nno ebya Kayisari mubiddize Kayisari, n'ebya Katonda mubiddize Katonda.” 22Bwe baawulira ebyo ne beewuunya, ne bamuleka, ne bagenda.
Okuzuukira kw'abafu
23 # Ebik 23,8. Ku lunaku olwo #Mar 12,18-27; Luk 20,27-38.Abasaddukaayo ne bajja gy'ali, abo abagamba nti tewali kuzuukira, ne bamubuuza nti: 24#Et 25,5.“Muyigiriza, Musa yagamba nti: ‘Omuntu bw'afanga nga talina baana, muganda we awasanga mukazi we n'asibusiza muganda we ezzadde.’ 25Kale nno mu ffe waaliwo ab'oluganda musanvu: omubereberye yawasa, n'afa nga tazadde mwana; mukazi we n'amulekera muganda we. 26N'owookubiri bw'atyo, n'owookusatu, okutuusa ku woomusanvu. 27Oluvannyuma lwa bonna n'omukazi n'afa. 28Kale mu mazuukira ku abo omusanvu aliba muka ani? Anti bonna omusanvu baamuwasaako.”
29Awo Yezu n'addamu nti: “Musobya obutamanya Biwandiiko n'obuyinza bwa Katonda. 30Ndaba mu mazuukira tebagenda kuwasa yadde okufumbirwa, wabula baliba nga bamalayika mu ggulu. 31Ku kuzuukira kw'abafu, temusomanga Katonda kye yabagamba nti: 32#Okuv 3,6.‘Nze Katonda wa Yiburayimu, Katonda wa Yizaake ne Katonda wa Yakobo?’ Katonda taba wa bafu, wabula wa balamu.” 33Ekibiina bwe kyawulira, ne bawuniikirira olw'enjigiriza ye.
Ekiragiro ekisinga obukulu
34 # Mar 12,28; Luk 10,25-28. Abafarisaayo bwe baawulira ng'asirisizza Abasaddukaayo ne beekuŋŋaanya. 35#Luk 10,25-28.Munnaabwe omu omuyigiriza w'amateeka n'amubuuza ng'amukema nti: 36“Muyigiriza, kiragiro ki ekikulu mu Tteeka?” 37#Et 6,5.N'amugamba nti: “Oyagalanga Omukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna. 38Ekyo kye kiragiro ekikulu era ekisooka. 39#Abal 19,18.Ekyokubiri kifaanana ng'ekyo: ‘Oyagalanga munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.’ 40Ku biragiro bino ebibiri kwe kwesigamye Etteeka lyonna n'Abalanzi.”
Kristu mwana sso era Mukama wa Dawudi
41Awo Abafarisaayo ne beekuŋŋaanya. Yezu n'ababuuza 42n'agamba nti: “Mmwe Kristu mumulowoozaako mutya? Mwana w'ani?” Ne bamugamba nti: “Wa Dawudi.” 43Ye n'abagamba nti: “Kiri kitya nno Dawudi ku bwa Mwoyo okumuyita Mukama bw'agamba nti:
44 # Zab 110,1. “ ‘Omukama yagamba Mukama wange,
nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo”
okutuusa abalabe bo lwe ndibassa wansi w'ebigere byo’?
45Kale, obanga Dawudi amuyita Mukama, ate abeera atya omwana we?” 46Ne wataba muntu yaguma kumwanukula kigambo; era okuva ku olwo, tewaali n'omu aguma kumubuuza nate.
Obukuusa bw'abawandiisi n'Abafarisaayo

Currently Selected:

Mat 22: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in