1
Mat 22:37-39
BIBULIYA ENTUKUVU
BIBU1
N'amugamba nti: “Oyagalanga Omukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna. Ekyo kye kiragiro ekikulu era ekisooka. Ekyokubiri kifaanana ng'ekyo: ‘Oyagalanga munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.’
Compare
Explore Mat 22:37-39
2
Mat 22:40
Ku biragiro bino ebibiri kwe kwesigamye Etteeka lyonna n'Abalanzi.”
Explore Mat 22:40
3
Mat 22:14
Kubanga abayitiddwa bangi, naye abalondemu batono.”
Explore Mat 22:14
4
Mat 22:30
Ndaba mu mazuukira tebagenda kuwasa yadde okufumbirwa, wabula baliba nga bamalayika mu ggulu.
Explore Mat 22:30
5
Mat 22:19-21
Mundage dinaari ey'omusolo.” Bo ne bamuleetera dinaari. N'abagamba nti: “Ekifaanaanyi kino n'ekiwandiiko ebiriko by'ani?” Ne bamugamba nti: “Bya Kayisari.” N'abagamba nti: “Awo nno ebya Kayisari mubiddize Kayisari, n'ebya Katonda mubiddize Katonda.”
Explore Mat 22:19-21