YouVersion Logo
Search Icon

Mat 21

21
1 # Mar 11,1-11; Luk 19,28-40; Yow 12,12-19. Bwe baasemberera Yeruzaalemu nga batuuse e Betifage, ku Lusozi lw'Oliva, Yezu n'atuma abayigirizwa be babiri, 2n'abagamba nti: “Mugende mu kyalo ekibali mu maaso, mangu awo mujja kusanga endogoyi esibiddwa ng'erina omwana gwayo; muziyimbule, muzindeetere. 3Bwe wabaawo aliko ky'abagamba, muddamu nti: Omukama azeetaaga, ajja kuzisindika mangu.” 4Ebyo byonna byaba bityo omulanzi kye yayogera kituukirire, nti:
5 # Yis 62,11; Zak 9,9. “Mugambe muwala wa Siyoni nti:
‘Wuuno kabaka wo ajja gy'oli,
muteefu, yeebagadde endogoyi,
ne ku kalogoyi,
omwana gw'endogoyi.’ ”
6Awo abayigirizwa ne bagenda, ne bakola nga Yezu bwe yali abalagidde, 7ne baleeta endogoyi n'omwana gwayo, ne bassaako ebyambalo byabwe, ye n'akeebagala. 8Bangi mu kibiina ne baaliira ebyambalo byabwe mu kkubo, abamu ne bamenya amatabi ku miti ne bagaaliirira mu kkubo. 9#Zab 118,26.27.Ebibiina ebyali bimukulembeddemu n'ebyo ebyali bimugoberera ne biyoogaana nti:
“Hosanna eri Omwana wa Dawudi!
Agulumizibwe oyo ajja mu linnya ly'Omukama!
Hosanna waggulu eyo!”
10Bwe yayingira mu Yeruzaalemu, ekibuga kyonna ne kiyuuguuma, nga bagamba nti: “Ani oyo?” 11Ebibiina nga bigamba nti: “ Ono ye Yezu omulanzi ow'e Nazareti ekya Galilaaya.”
Agoba abaali batundira mu Kiggwa
12 # Mar 11,15-19; Luk 19,45-48; Yow 2,13-16. Yezu n'ayingira mu Kiggwa, n'agobamu abatunda n'abagulira mu Kiggwa, n'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi n'entebe z'abatunda enjiibwa, 13#Yis 56,7; Yer 7,11.n'abagamba nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kwegayiririramu;’ sso mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.”
14Bamuzibe n'abalema ne bajja gy'ali mu Kiggwa, n'abawonya. 15Bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baalaba ebyewuunyisa bye yakola n'abaana nga baleekaana mu Kiggwa nga bagamba nti: “Hosanna eri Omwana wa Dawudi!” ne banyiiga, 16#Zab 8,3.ne bamugamba nti: “Owulira abo kye bagamba?” Yezu n'abagamba nti: “Yee; mmwe temusomangako nti:
“ ‘Mu kamwa k'abawere n'abayonka
mwe waggya ettendo ettuufu’?”
17N'abaleka, n'ava mu kibuga, n'alaga e Betaniya, n'asula eyo.
Omukunyu ogutabala gukala
18 # Mar 11,12-14. Ku makya bwe yali addayo mu kibuga, enjala n'emuluma; 19n'alaba omukunyu ogumu ku bbali w'oluguudo, n'agenda gye guli, naye n'atasangako kantu, wabula amakoola gokka. N'agugamba nti: “Ku ggwe tekuvangako kibala emirembe gyonna!” Amangu ago omukunyu ne gukala. 20#Mar 11,20-25.Abayigirizwa bwe baalaba, ne beewuunya, ne bagamba nti: “Omukunyu gukaze gutya amangu gati?” 21#Mat 17,20; 1 Kor 13,2.Yezu n'ayanukula nti: “Mazima mbagamba nti bwe munaabeera n'okukkiriza nga temubuusabuusa, ekikoleddwa ku mukunyu si kye munaakolanga kyokka, naye ne bwe muligamba olusozi nga luno nti: ‘Weesitule, weesuule mu nnyanja,’ bwe kiriba. 22Na byonna bye munaasabanga nga mwegayirira, mulibifuna, bwe munaabanga n'okukkiriza.”
Yezu abuuzibwa ku buyinza bwe
23 # Mar 11,27-33; Luk 20,1-8. Bwe yajja mu Kiggwa, bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bajja w'ali bwe yali ayigiriza, ne bagamba nti: “Ebyo obikozesa buyinza ki? Ani yakuwa obuyinza obwo?” 24Yezu n'ayanukula, n'abagamba nti: “Nange nzija kubabuuza ekigambo kimu; bwe munanziramu, nange ne ndyoka mbabuulira obuyinza obunkoza ebyo. 25Kale, batismu ya Yowanna yava wa? Yava mu ggulu, nandiki mu bantu?” Ne beebuuzaganya nga bagamba nti: 26“Ate bwe tugamba nti: ‘Yava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti: ‘Awo nno lwaki temwamukkiriza?’ Bwe tugamba nti: ‘Yava mu bantu,’ tutya ekibiina, kubanga bonna Yowanna bamuyita mulanzi.” 27Kwe kuddamu Yezu nti: “Tetumanyi.” Naye n'abagamba nti: “Nange sijja kubabuulira buyinza bunkoza ebyo.
Olugero lw'abaana ababiri
28“Kino mukiraba mutya? Waaliwo omusajja ng'alina batabani be babiri, n'agenda eri omu n'amugamba nti: ‘Mutabani, olwa leero genda okole mu mizabbibu.’ 29N'ayanukula nti: ‘Sijja kugenda.’ Naye oluvannyuma ne yeddamu, n'agenda. 30Ate n'agenda eri owookubiri, n'amugamba kyenkana. Ye n'ayanukula nti: ‘Nzija kugenda, ssebo,’ naye ate n'atagenda. 31Kale ku bombi ani yakola kitaawe kye yalagira?” Ne bamugamba nti: “Omubereberye.” Yezu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti abasolooza b'omusolo ne bamalaaya bagenda okubasooka mu bwakabaka bwa Katonda. 32Kubanga Yowanna yajja gye muli ng'akutte ekkubo ery'obutuukirivu, ne mutamukkiriza; sso abasolooza b'omusolo ne bamalaaya baamukkiriza; mmwe ekyo ne bwe mwakiraba, oluvannyuma temweddamu mumukkirize.
Olugero lw'abalimi mu mizabbibu
33 # Mar 12,1-12; Luk 20,9.19. “Ate muwulire olugero olulala: Waaliwo omuntu ssemaka eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agisibako olukomera, n'asimamu essogolero, n'azimbamu omunaala, n'agikwasa abalimi, n'agenda ku ggwanga. 34Obudde obw'ebibala bwe bwasembera, n'atuma abaweereza abalimi banone ku bibala bye. 35Naye abalimi ne bakwata abaweereza be omu ne bamukuba, n'omulala ne bamutta, n'omundi ne bamukuba amayinja. 36N'abatumira ate abaweereza abalala, abangi n'okusinga abaasooka, nabo ne babakola kyenkana. 37Oluvannyuma n'abatumira mutabani we, ng'agamba nti: ‘Omwana wange banaamutya.’ 38Naye abalimi bwe baalaba ku mutabani we ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika; mugire tumutte, obusika bwe tubutwale.’ 39Ne bamukwata, ne bamugobera ebweru w'ennimiro y'emizabbibu, ne bamutta. 40Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu bw'alijja, abalimi abo alibakola atya?” 41Ne bamugamba nti: “Bakafulu abo ababi alibazikiriza, ennimiro ye ey'emizabbibu n'agikwasa abalimi abalala, abalimuwa ebibala mu budde bwabyo.”
42Awo Yezu n'abagamba nti: “Temusomanga mu Biwandiiko nti:
“ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana
lye lyafuuka lukulwe mu nsonda;
ekyo Omukama ye yakikola,
kya kyewuunyo mu maaso gaffe’?
43Kyenva mbagamba nti obwakabaka bwa Katonda bulibaggyibwako ne buweebwa eggwanga eriribala ebibala byabwo.” #21,43 Ez'edda zongerako: 44 Ate aligwa ku jjinja lino alisesebbuka; buli yenna gwe lirigwaako, lirimubetenta.
45Bakabona abakulu n'Abafarisaayo bwe baawulira engero ze, ne bategeera ng'ayogera ku bo. 46Naye bwe baanoonya okumukwata, ne batya ebibiina, kubanga abantu baali bamutwala ng'omulanzi.
Olugero lw'embaga y'obugole

Currently Selected:

Mat 21: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in