YouVersion Logo
Search Icon

Mat 23

23
1 # Mar 12,37b-40; Luk 20,45-47; 11,39-52. Awo Yezu n'ayogera eri ebibiina n'abayigirizwa be, n'agamba nti: 2“Abawandiisi n'Abafarisaayo batudde ku ntebe ya Musa, 3byonna bye bagamba mubikwate, mubikole, naye temuyisa nga bo bwe bayisa, kubanga bye bagamba bo tebabikola. 4Basiba emigugu emizito, egiteetikkika, ne bagissa ku bibegabega by'abantu, sso nga bo tebaagala kuginyeenyako n'akatono na ngalo yaabwe. 5#Mat 6,1; Emiw 15,38; Et 6,8.Mu byonna bye bakola bagenderera abantu babalabe; kyebava beekolera filakiteriya#23,5 Filakiteriya: Bwabanga busawo obw'amaliba obwatungirwangamu obupapula obwabangako ebigambo eby'omu biwandiiko ebitukuvu, ng'Abayudaaya bagenderera okutuukiriza ekyabasabibwa mu Okuv 13,9.16 ne Et 6,8; 11,18. engazi n'ebituttwa#23,5 Ku bituttwa laba Emiw 15,38. ebiwanvu. 6Baagala ebifo ebisinga ekitiibwa ku bijjulo n'entebe ez'oku mwanjo mu sinaagooga, 7n'okulamusibwa mu mbuga n'abantu okubayita Rabbi. 8Mmwe muleke kuyitibwa Rabbi, kubanga omuyigiriza wammwe ali omu, ate mwenna muli ba luganda. 9Ku nsi temubangako na gwe muyita kitammwe, kubanga mulina Kitammwe omu yekka, ali mu ggulu. 10Temuyitibwanga Bayigisa, kubanga mulina Omuyigisa omu, Kristu. 11#20,26-27; Mar 9,35; 10,43-44; Luk 22,26.Asinga obukulu mu mmwe abeerenga muweereza wammwe; 12#Luk 14,1; 18,14.kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa; ate buli eyeetoowaza, aligulumizibwa.
13“Zibasanze, mmwe abawandiisi n'Abafarisaayo, bakuusa mmwe! Kubanga muggalira abantu obwakabaka obw'omu ggulu; mmwe mwennyini temuyingira, n'abandyagadde okuyingira temubaganya kuyingira.#23,13 Ezimu zongerako: 14 “Zibasanze, mmwe abawandiisi n'Abafarisaayo, bakuusa mmwe! Kubanga mukaliza ennyumba za bannamwandu, ne mwefukuutiriza essaala ezitakutuka; olw'okubeera ekyo ekibonerezo ekiribasalirwa kirisingawo obunene.”
15“Zibasanze, mmwe abawandiisi n'Abafarisaayo, bakuusa mmwe! Kubanga mutalaaga ennyanja n'olukalu okukyusa omuntu omu mu kiyudaaya, bw'amala okukyuka ne mumusaanyiza Geyenna emirundi ebiri okusinga mmwe. 16Zibasanze mmwe abakulembeze abazibe b'amaaso! Mugamba nti: ‘Buli alayidde Ekiggwa, ekyo si kantu, naye alayidde zaabu aweerezebwa Ekiggwa, ateekwa okutuukiriza ky'alayidde.’ 17Basiru mmwe abazibe b'amaaso! Ekisinga obukulu kiruwa, zaabu, nandiki Ekiggwa ekitukuza zaabu?
18“Era mugamba nti: ‘Buli aba alayidde omwaliiro, ekyo si kantu, naye alayidde ekitone ekiriko, ateekwa okutuukiriza ky'alayidde.’ 19Bamuzibe mmwe, ekisinga obukulu kiruwa? Ekitone, nandiki omwaliiro ogutukuza ekitone? 20Awo nno alayira omwaliiro, agulayira n'alayirirako na byonna ebiguliko. 21Na buli alayira Ekiggwa, akirayira n'alayiririramu n'oyo akisulamu. 22#5,34; Yis 66,1.Na buli alayira eggulu, alayira nnamulondo ya Katonda n'oyo agituulako.
23 # Abal 27,30. “Zibasanze, mmwe abawandiisi n'Abafarisaayo, bakuusa mmwe! Mutona ekyekkumi ekya nnabbugira, n'eky'aneta n'ekya kontamiiri, ne muleka ebisinga obukulu ebiragirwa mu mateeka: obutuukirivu, ekisa n'okukkiriza; sso ebyo mwanditeekeddwa okubikola nga na biri temubirese. 24Bakulembeze mmwe abazibe b'amaaso, musengejjako akabu obubu, eŋŋamiya ne mugimira.
25“Zibasanze, mmwe abawandiisi n'Abafarisaayo, bakuusa mmwe! Kubanga ebikopo n'essowaani mubitukuza kungulu, naye nga munda bijjudde#23,25 Oba: mujjudde. obunyazi n'omululu. 26Mufarisaayo ggwe omuzibe w'amaaso, sooka otukuze ekikopo n'essowaani munda, kungulu kw'abyo kulyoke nakwo kutukule.
27 # Ebik 23,3. “Zibasanze, mmwe abawandiisi n'Abafarisaayo, bakuusa mmwe! Kubanga mufaanana ng'amalaalo amatukuze n'ennoni, agalabika obulungi kungulu, sso nga munda gajjudde eŋŋumbagumba z'abafu, na buli bujama. 28Nammwe bwe mutyo bwe muli; kungulu abantu mubalabikira ng'abatuukirivu, sso nga munda mujjudde obukuusa n'obugwenyufu.
29“Zibasanze, mmwe abawandiisi n'Abafarisaayo, bakuusa mmwe! Kubanga muzimba amalaalo g'abalanzi, ne munyiriza ebiggya by'abatuukirivu, 30ne mugamba nti: ‘Singa twaliwo mu nsangi za bajjajjaffe, tetwandyetabye nabo kuyiwa musaayi gwa balanzi.’ 31Awo nno mwennyini mwerumiriza nga bwe muli abaana ba bali abattanga abalanzi. 32Kale, mmwe mujjuulirize bajjajjammwe we baalekera. 33#3,7; 12,34; Luk 3,7.Misota mmwe, abaana b'amasalambwa, mulisobola okudduka okusalirwa omusango gwa Geyenna?
34“Kale nno nzija kubatumira abalanzi, n'ab'amagezi, n'abawandiisi; abamu mujja kubatta mubakomerere ku misaalaba; abalala mujja kubaswanyuulira mu sinaagooga zammwe, mubayigganye okuva mu kibuga ekimu okudda mu kirala. 35#Amas 4,8; 2 Ebyaf 24,20-21.Awo nno omusaayi gubaddeko ogw'abatuukirivu gwonna ogwali guyiiyiddwa mu nsi okuviira ddala ku musaayi gwa Abeli ataaliko musango, okutuuka ku musaayi gwa Zakariya mutabani wa Barakiya, gwe mwatemulira wakati w'Ekiggwa n'Omwaliiro. 36#5,34-37.Mazima mbagamba nti ebyo byonna birijjira ab'ezzadde lino.
37 # Luk 13,34lud. “Yeruzaalemu, Yeruzaalemu, ggwe atta abalanzi n'abakutumirwa n'obakuba amayinja! Emirundi emeka gye nayagala okukuŋŋaanya abaana bo ng'enkoko bw'ekumiriza obwana bwayo wansi w'ebiwaawaatiro byayo, n'otaganya? 38#Yer 22,5.Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa ttayo. 39#Zab 118,26.Ka mbabuulire, temulindaba okutuusa lwe muligamba nti: ‘Atenderezebwe oyo ajja mu linnya ly'Omukama.’ ”
C. OKUYIGIRIZA KU BYOLUVANNYUMA
Yezu alanga okuzikirizibwa kw'Ekiggwa

Currently Selected:

Mat 23: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in