YouVersion Logo
Search Icon

Mat 19

19
1 # Mar 10,1-12. Awo Yezu bwe yasirissa ebigambo ebyo, n'avaayo e Galilaaya, n'ajja mu bitundu bya Buyudaaya, emitala wa Yorudani. 2Ebibiina bingi ne bimugoberera, n'abawonyeza eyo.
3Abafarisaayo ne basembera w'ali ne bamukema, ne bamubuuza nti: “Omusajja akkirizibwa okugoba mukazi we ng'amulanga buli nsonga yonna?” 4#Amas 1,27; 5,2.N'abaanukula nti: “Temusomanga nti eyabakola okuva mu masooka yabakola omusajja n'omukazi?” 5#Amas 2,24.Era n'agamba nti: “Olw'ekyo omusajja kyaliva alirekanga kitaawe ne nnyina n'agattibwa ne mukazi we; ababiri balifuuka omubiri gumu. 6Olwo nga tebakyali babiri, wabula omuntu omu. Awo nno Katonda ky'aggasse awamu, omuntu takigattululanga.”
7 # Et 24,1-4; Mat 5,31. Ne bamugamba nti: “Ate Musa yalagirira ki okuwandiika ebbaluwa ey'obugobe n'okumusiibula?” 8N'abagamba nti: “Musa yabakkiriza okugoba bakazi bammwe olw'okubeera obukakanyavu bw'emitima gyammwe, sso ng'olubereberye si bwe kyali. 9#5,32; 1 Kor 7,10-11.Awo nno nze mbagamba nti buli agoba mukazi we,#19,9 Ez'edda zongerako: aba amusudde mu bwenzi. wabula mpozzi olw'obwenzi, amala awasa omulala, aba ayenze.”#19,9 Ez'edda zongerako: era n'awasa agobeddwa aba ayenze.
Ku butawasa n'obutafumbirwa
10Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Obanga ensonga bwe ziri zityo ku musajja ne mukazi we, tekigwana kuwasa.” 11Naye ye n'abagamba nti: “Si bonna nti bategeera ekigambo kino, wabula abo abakiweereddwa, 12kubanga waliwo abalaawo abaazaalibwa bwe batyo, ne wabaawo abalaawo abaalaayibwa abantu, ate ne wabaawo n'abalaawo abeeraawa bokka olw'okubeera obwakabaka obw'omu ggulu. Kino ayinza okukitegeera, ategeere.”
Baleetera Yezu abaana abato
13Awo abaana ne baleetebwa w'ali abasseeko emikono asabe. Abayigirizwa ne babakomako. 14Naye Yezu n'abagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubaziyiza; kubanga abafaanana nga bano be bannannyini bwakabaka obw'omu ggulu.” 15N'abassaako emikono, n'agenda.
Omuvubuka omugagga alemwa okugoberera Yezu
16 # Mar 10,17-22; Luk 18,18-23. Awo ne wajjawo omu w'ali, n'agamba nti: “Muyigiriza, nnaakola kirungi ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” Ye n'amugamba nti: 17“Ombuuliza ki ku kirungi? Anti omulungi ali omu; naye obanga oyagala okuyingira mu bulamu, kwata ebiragiro.” 18#Okuv 20,13-16; Et 5,17-20.N'amugamba nti: “Biri wa?” Yezu n'amugamba nti: “Tottanga; Toyendanga; Tobbanga; Tojuliranga bya bulimba; 19#Okuv 20,13-16; Et 5,16; Abal 19,18.Ossangamu kitaawo ne nnyoko ekitiibwa; Oyagalanga munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.” 20Omuvubuka n'amugamba nti: “Ebyo byonna nabikwata; nkyabulwako ki ate?” 21Yezu n'amugamba nti: “Obanga oyagala okutuukirira, genda, tunda by'olina owe abaavu, olwo obugagga olibeera nabwo mu ggulu; ojje ongoberere.” 22Omuvubuka bwe yawulira ebigambo ebyo, n'agenda nga munakuwavu, kubanga yalina eby'obugagga bingi.
Akabi k'okwesiba ku bintu
23 # Mar 10,23-27; Luk 18,24-27. Yezu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mazima mbagamba nti nga kiriba kizibu abalina obugagga okuyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu! 24Ka mbabuulire era, kiba kyangu eŋŋamiya okuyita mu nnyindo y'empiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” 25Abayigirizwa bwe baawulira ebyo, ne bawuniikirira nnyo; ne bagamba nti: “Awo nno ani asobola okulokoka?” 26Yezu n'abatunuulira, n'abagamba nti: “Ku bantu kino tekisoboka, naye ku Katonda byonna bisoboka.”
Empeera y'abo abagoberera Yezu
27 # 4,18-22; Mar 10,28-31; Luk 18,28-30. Awo Petero n'addamu, n'amugamba nti: “Kale ffe twaleka byonna ne tukugoberera, kale tulifuna ki?” 28Yezu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti mmwe abangoberera, ensi bw'eriba ezziddwa obuggya, Omwana w'Omuntu bw'alituula ku nnamulondo ey'obukulu bwe, nammwe mulituula ku nnamulondo kkumi na bbiri nga mulamula ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli. 29Ate buli muntu eyaleka amayumba, oba baganda be, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba abaana, oba ebibanja olw'okubeera erinnya lyange, alifuna emirundi kikumi ko n'okusikira obulamu obutaggwaawo. 30Naye bangi ab'olubereberye baliba ab'oluvannyuma, n'ab'oluvannyuma baliba ab'olubereberye.”
Olugero lw'abakozi ab'omu mizabbibu

Currently Selected:

Mat 19: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in