YouVersion Logo
Search Icon

Mat 20

20
1“Kale nno obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ng'omuntu ssemaka eyakeera ku makya okupakasisa abakozi bakole mu mizabbibu gye. 2Bwe yamala okuteesa n'abakozi okubawa dinaari emu ng'olunaku luwedde, n'abasindika mu mizabbibu gye. 3Nafuluma ate ku ssaawa eyookusatu, n'alaba abalala abayimiridde mu mbuga nga balendera bulendezi, 4n'abagamba nti: ‘Nammwe mugende mu nnimiro yange ey'emizabbibu, nnaabawa kyonna ekinaaba kigwanidde.’ Ne bagenda. 5N'afuluma era nga ku ssaawa eyoomukaga n'eyoomwenda, n'akola kye kimu. 6N'afuluma era ku ssaawa nga kkumi n'emu, n'asangayo abalala abayimiridde, n'abagamba nti: ‘Ekibayimirizza awo omusana gwonna, nga mulendera bulendezi kiki?’ 7Ne bamugamba nti: ‘Kubanga tewali atupakasizza.’ N'abagamba nti: ‘Nammwe mugende mu nnimiro yange ey'emizabbibu.’
8 # Abal 19,13; Et 24,15. “Naye obudde bwe bwawungeera, nnannyini mizabbibu nagamba nnampala nti: ‘Yita abakozi, obasasule empeera yaabwe ng'osookera ku bazze oluvannyuma okutuusa ku baasoose.’ 9Abajja nga ku ssaawa ey'ekkumi n'emu bwe baatuuka, ne bafuna dinaari emu buli omu. 10Abaasooka okukola bwe baasembera, ne balowooza nga banaafuna ekisingako; naye era nabo ne bafuna dinaari emu. 11Bwe baagifuna, ne beemulugunyiza ssemaka, 12ne bagamba nti: ‘Ab'oluvannyuma bano abakoledde essaawa emu yokka obenkanyizza naffe abattunse n'omulimu olunaku lwonna n'olubabu lw'omusana?’ 13N'addamu omu ku bo nti: ‘Munnange, sikukoze bubi; kale tetwalagaanye naawe dinaari emu? 14Kwako ekikyo ogende. Njagadde okuwa ono omuvannyuma nga ggwe bwe nkuwadde. 15Ebyange sikkirizibwa kukola nabyo nga bwe njagala? Nandiki nze okubeera omulungi kye kikuleetera eriiso ebbi?’ 16#19,30; Mar 10,31; Luk 13,30.Ab'oluvannyuma bwe balibeera batyo ab'olubereberye, n'ab'olubereberye ne baba ab'oluvannyuma.”
Alanga okubonaabona kwe omulundi ogwokusatu
17 # 16,21; 17,12.22-23; 26,2; Mar 10,32-34; Luk 18,31-34. Yezu bwe yali ayambuka e Yeruzaalemu n'azza ebbali abayigirizwa ekkumi n'ababiri bokka, ku kkubo n'abagamba nti: 18“Tuutuno twambuka e Yeruzaalemu; Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bakabona abakulu n'abawandiisi; balimusalira ogw'okufa, 19ne bamuwaayo mu b'amawanga okuduulirwa, okuswanyuulibwa, n'okukomererwa ku musaalaba; ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.”
Ku bukulu ne ku buweereza
20 # Mar 10,35-41. Awo nnyina w'abatabani ba Zebedaayo n'ajja w'ali n'abaana be, n'amuvunnamira, n'abaako ky'amusaba. 21Ye n'amugamba nti: “Oyagala ki?” N'amugamba nti: “Lagira abaana bange bano bombi batuule omu ku mukono gwo ogwa ddyo n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono mu bwakabaka bwo.” 22Naye Yezu n'addamu nti: “Kye musaba temukimanyi. Muyinza okunywa ekikompe kye ŋŋenda okunywa?” Ne bamugamba nti: “Tuyinza” 23N'abagamba nti: “Weewaawo, ekikompe kyange mulikinywa, naye okutuula ku mukono ogwa ddyo oba ku mukono gwange ogwa kkono okukibawa si mulimu gwange; wabula ky'abo be kyategekerwa Kitange.” 24Ekkumi bwe baawulira, ne banyiigira ab'oluganda abo bombi.
25 # Luk 22,25-26. Awo Yezu n'abayita w'ali, #Mar 10,42-45; Luk 22,25-27.n'agamba nti: “Mumanyi abakulembera amawanga bagalaga obuyinza, n'abakulu baabwe babafuza maanyi. 26#23,11; Mar 9,35; Luk 22,26.Sso mu mmwe si bwe kiriba; buli ayagala okuba omukulu mu mmwe abeere muweereza wammwe, 27na buli ayagala okubeera omubereberye mu mmwe, abeere muweereza wammwe. 28N'omwana w'Omuntu bw'atyo, teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe ng'omutango ku lw'abangi.”
Bamuzibe ababiri ab'e Yeriko bawonyezebwa
29 # 9,27-31; Mar 10,46-52; Luk 18,35-43. Bwe baafuluma e Yeriko, ekibiina kinene ne kimugoberera. 30Laba, bamuzibe babiri baali batudde ku kkubo, ne bawulira nga Yezu ayita, ne bakoowoola nga bagamba nti: “Tusaasire, Omwana wa Dawudi!” 31Ekibiina ne kibakomako basirike; naye bo ne baleekaana n'okusingawo nti: “Mukama, Omwana wa Dawudi, tusaasire!” 32Yezu n'ayimirira, n'abayita, n'agamba nti: “Mwagala mbakolere ki?” 33Bo ne bagamba nti: “Mukama, amaaso gaffe gazibulwe.” 34Yezu n'akwatibwa ekisa, n'akwata ku maaso gaabwe; amangu ago ne baddamu okulaba, ne bamugoberera.
B. OKUWAKANYIZIBWA MU YERUZAALEMU
Yezu ayingira n'ekitiibwa mu Yeruzaalemu

Currently Selected:

Mat 20: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in