Mat 18
18
1 #
Luk 22,24. Mu kaseera #Mar 9,33-37; Luk 9,46-48.ako, abayigirizwa bajja eri Yezu, ne bagamba nti: “Ani asinga obukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu?” 2Awo Yezu n'ayita omwana omuto, n'amuyimiriza mu makkati gaabwe, 3#Mar 10,15; Luk 18,17.n'agamba nti: “Mazima mbagamba nti bwe muteefuula ne mufaanana ng'abaana abato, temuliyingira mu bwakabaka bwa mu ggulu. 4Awo nno buli eyeetoowaza ng'omwana ono omuto, y'asinga obukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu. 5Ate era, buli ayaniriza omwana omuto ng'ono mu linnya lyange, aba ayanirizza nze.
Ebyesittazo
6 #
Mar 9,42-48; Luk 17,1-2. “Kyokka buli eyeesittaza omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandisinze obulungi ku ye, lwe lubengo olunene okusibibwa mu bulago bwe n'abbikibwa mu ddubi mu nnyanja. 7Ensi zigisanze olw'ebyesittazo! Weewaawo ebyesittazo tebirema kujja, naye zimusanze oyo eyeesittaza! 8#5,30.Obanga omukono #5,29-30; 17,27.gwo gukwesittaza, yadde ekigere kyo, bitemeko, obisuule wala; waakiri oyingire mu bulamu ng'oli wa kikuggu, mulema, n'otosuulibwa mu muliro ogutazikira ng'olina emikono gyombi n'ebigere byombi. 9Era obanga eriiso lyo likwesittaza, liggyeemu olikasuke eri, waakiri oyingire mu bulamu ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu lukonko olw'omuliro#18,9 Oba: mu Geyenna ow'omuliro. ng'olina amaaso gombi. 10Mwegendereze obutagayanga n'omu ku bato bano; ka mbabuulire, mu ggulu bamalayika baabwe ennaku zonna balaba amaaso ga Kitange ali mu ggulu.#18,10 Ez'edda zongerako: 11 Kubanga Omwana w'Omuntu yajja okulokola ekyali kibuze. Laba ne Luk 19,10.
Okufa ku ndiga ebuze
12 #
Luk 15,3-7. “Mmwe mulowooza mutya? Omuntu bw'abeera n'endiga ekikumi, emu ku zo n'ewaba, taleka awo ku nsozi ekyenda mu omwenda, n'agenda anoonya ebuze? 13Ate singa agizuuula, mazima ka mbabuulire, agisanyukira okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaawaba. 14Bwe kityo ne Kitammwe ali mu ggulu tayagalangako omu ku bato bano azikirire.
Okukomaganako
15 #
Abal 19,17; Et 19,15; Luk 17,3; 1 Kor 6,1-6; Gal 6,1; Yak 5,19-20. “Muganda wo bw'abangako ky'akusobezzaamu, genda omukomeko, nga muli bwababiri mwekka. Bw'akuwuliranga, muganda wo oliba omuzzizza. 16Naye bw'atakuwuliranga, ddira munno omu oba babiri ogende nabo, anti buli kigambo kyonna kikakasibwa n'obujulizi bw'abajulizi babiri oba basatu. 17Abo bw'agaana okubawulira, n'olyoka obuulira Ekleziya. N'Ekleziya bw'atagiwulira, mutwalenga ng'omukafiiri oba ng'omusolooza w'omusolo.
18 #
16,19; Yow 20,23. “Mazima mbagamba nti byonna bye munaasibanga ku nsi, ne mu ggulu nga bisibiddwa; era byonna bye munaasumululanga ku nsi, ne mu ggulu nga bisumuluddwa. 19Era mazima mbagamba nti ababiri mu mmwe bwe munassanga ekimu ku nsi okusaba ekintu, Kitange ali mu ggulu agendanga kukibakolera, 20kubanga ababiri oba abasatu we bakuŋŋaanira mu linnya lyange, nange mbeerawo mu makkati gaabwe.”
Okusonyiwa; olugero lw'omuweereza atasonyiwa
21 #
Amas 4,24; Luk 17,3-4. Awo Petero n'amusemberera, n'amugamba nti: “Mukama, muganda wange anansobyanga emirundi emeka nga musonyiwa? Kutuusa ku mirundi musanvu?” 22Yezu n'amugamba nti: “Sikugamba nti kutuusa ku mirundi musanvu, naye kutuusa ku nsanvu emirundi musanvu.#18,22 Oba: emirundi nsanvu mu musanvu. 23Obwakabaka obw'omu ggulu kyebuva bufaanaanyirizibwa omuntu kabaka eyayagala okutereeza ebibye n'abaweereza be. 24Yali asoose okubawozesa, ne bamuleetera omu alina ebbanja lye lya talenta kakumi.#18,24 Ze dolla 60,000,000 oba empeera y'omupakasi akoledde emyaka 100,000 (empeera y'olunaku yali dinaari emu). 25Naye kubanga yali tasobola kuzisasula, mukama we n'alagira okumutunda, ne mukazi we n'abaana be na byonna by'alina, alyoke asasulibwe. 26Omuweereza n'avunnama mu maaso ge n'amugamba nti: ‘Nkwata mpola; ndikusasula byonna.’ 27Mukama w'omuweereza n'akwatibwa ekisa, n'amuta, n'amusonyiwa n'ebbanja.
28“Naye omuweereza ye omu bwe yafuluma, n'asanga muweereza munne eyamulinako ebbanja lya dinaari kikumi.#18,28 Ze dolla 200 oba empeera y'omupakasi akoledde ennaku 100. N'amukwata, n'amukka mu bulago ng'agamba nti: ‘Nsasula ebbanja’ 29Muweereza munne n'avunnama, n'amwegayirira n'agamba nti: ‘Nkwata mpola, ndikusasula.’ 30Ye n'agaana, n'agenda amuggalira mu kkomera okutuusa lw'alimusasula ebbanja.
31“Baweereza banne bwe baalaba ekibaddewo, ne banakuwala nnyo; banne ne bajja babuulira mukama waabwe byonna ebifuddeyo. 32Mukama we n'amuyita, n'amugamba nti: ‘Muweereza ggwe omubi! Nakusonyiye ebbanja lyonna, kubanga wanneegayiridde, 33kale naawe obadde tolagiddwa okusaasira muweereza munno nga nze bwe nakusaasidde?’ 34Mukama we n'akalala, n'amukwasa abakuumi b'ekkomera okutuusa lw'alimala okusasula ebbanja lye lyonna. 35Ne Kitange ali mu ggulu bw'alibakola atyo obanga buli omu tasonyiwa munne na mutima gwonna.”
IV. YEZU AYIGIRIZA MU BUYUDAAYA NE MU YERUZAALEMU
A. OLUGENDO LW'E YERUZAALEMU
Ku bufumbo n'okugattululwa
Currently Selected:
Mat 18: BIBU1
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.