1
Mat 19:26
BIBULIYA ENTUKUVU
BIBU1
Yezu n'abatunuulira, n'abagamba nti: “Ku bantu kino tekisoboka, naye ku Katonda byonna bisoboka.”
Compare
Explore Mat 19:26
2
Mat 19:6
Olwo nga tebakyali babiri, wabula omuntu omu. Awo nno Katonda ky'aggasse awamu, omuntu takigattululanga.”
Explore Mat 19:6
3
Mat 19:4-5
N'abaanukula nti: “Temusomanga nti eyabakola okuva mu masooka yabakola omusajja n'omukazi?” Era n'agamba nti: “Olw'ekyo omusajja kyaliva alirekanga kitaawe ne nnyina n'agattibwa ne mukazi we; ababiri balifuuka omubiri gumu.
Explore Mat 19:4-5
4
Mat 19:14
Naye Yezu n'abagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubaziyiza; kubanga abafaanana nga bano be bannannyini bwakabaka obw'omu ggulu.”
Explore Mat 19:14
5
Mat 19:30
Naye bangi ab'olubereberye baliba ab'oluvannyuma, n'ab'oluvannyuma baliba ab'olubereberye.”
Explore Mat 19:30
6
Mat 19:29
Ate buli muntu eyaleka amayumba, oba baganda be, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba abaana, oba ebibanja olw'okubeera erinnya lyange, alifuna emirundi kikumi ko n'okusikira obulamu obutaggwaawo.
Explore Mat 19:29
7
Mat 19:21
Yezu n'amugamba nti: “Obanga oyagala okutuukirira, genda, tunda by'olina owe abaavu, olwo obugagga olibeera nabwo mu ggulu; ojje ongoberere.”
Explore Mat 19:21
8
Mat 19:17
“Ombuuliza ki ku kirungi? Anti omulungi ali omu; naye obanga oyagala okuyingira mu bulamu, kwata ebiragiro.”
Explore Mat 19:17
9
Mat 19:24
Ka mbabuulire era, kiba kyangu eŋŋamiya okuyita mu nnyindo y'empiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”
Explore Mat 19:24
10
Mat 19:9
Awo nno nze mbagamba nti buli agoba mukazi we, wabula mpozzi olw'obwenzi, amala awasa omulala, aba ayenze.”
Explore Mat 19:9
11
Mat 19:23
Yezu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mazima mbagamba nti nga kiriba kizibu abalina obugagga okuyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu!
Explore Mat 19:23