YouVersion Logo
Search Icon

Mat 17

17
1 # 2 Pet 1,17-18. Nga wayise ennaku mukaaga, Yezu n'atoola Petero ne Yakobo ne Yowanna muganda we, n'abambusa ku lusozi oluwanvu ku bbali bokka, 2n'afuuka mu maaso gaabwe; amaaso ge ne gayakaayakana ng'enjuba, ebyambalo bye nga byeru ng'ekitangaala. 3Awo ne balabikirwa Musa ne Eliya; baali boogera naye. 4Awo Petero n'agamba Yezu nti: “Mukama, kirungi ffe okubeera wano; obanga oyagala, nzija kukola wano ensiisira ssatu: emu yiyo, emu ya Musa n'emu ya Eliya.” 5#Amas 22,2; Et 18,15; Zab 2,7; Yis 42,1; Mat 3,17; 12,18; Mar 1,11; Luk 3,22.Yali akyayogera atyo, ekire ekitangalijja ne kibabuutikira; eddoboozi ne liva mu kire, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe neesiimiramu, mumuwulirenga.” 6Abayigirizwa bwe baawulira, ne bagwa ku maaso gaabwe, ne batya nnyo. 7Yezu n'asembera n'abakwatako, n'abagamba nti: “Musituke, muleke kutya.” 8Bwe baayimusa amaaso, nga tebakyalabawo mulala, wabula Yezu yekka. 9Bwe baali baserengeta olusozi, Yezu n'abalagira nti: “Kye mulabye temukibuulirangako muntu okutuusa Omwana w'Omuntu ng'amaze okuzuukira mu bafu.”
Kye bagamba ku Eliya
10 # Mal 3,23-24. Awo abayigirizwa #Mal 3,23-24; Mat 11,14; Mar 9,11-13.ne bamubuuza ne bamugamba nti: “Ate lwaki abawandiisi bagamba nti Eliya alina okusooka okujja?” 11N'ayanukula n'abagamba nti: “Kituufu Eliya ajja, era ajja kutereeza byonna. 12#11,14.Naye nze mbagamba nti Eliya yajja dda, ne batamutegeera, wabula ne bamukola kyonna kye baayagala. N'Omwana w'Omuntu bw'atyo bw'agenda okubonaabonera mu mikono gyabwe.” 13Awo abayigirizwa be ne bategeera nga yali ayogera ku Yowanna Batista.
Okuwonya omugwi w'ensimbu eyaliko omwoyo omubi
14 # Mar 9,14-27; Luk 9,37-43. Bwe baatuuka awali ekibiina, omusajja n'ajja w'ali, n'amufukaamirira, n'agamba nti: 15“Mukama, saasira mutabani wange, kubanga agwa ensimbu, mulwadde nnyo; agwa lutata mu muliro, ne mu mazzi lunye. 16Abayigirizwa bo namubaleetera, ne batasobola kumuwonya.” 17Yezu n'ayanakula n'agamba nti: “Owa, ezzadde lino eritakkiriza, eryonoonefu! Ndituusa wa okubeera nammwe? Ndituusa wa okubagumiikiriza? Mumundeetere wano.” 18Awo Yezu n'akabukira omwoyo omubi, ne gumuvaako; omulenzi n'awonera ddala okuva mu kaseera ako.
19 # Mar 9,28-29. Abayigirizwa be ne bajja gy'ali mu kyama, ne bagamba nti: “Lwaki ffe tetwasobodde kugugoba?” 20Yezu n'abagamba nti: “Lwa kubeera kukkiriza kwammwe okutono. Mazima mbagamba nti singa muba n'okukkiriza okwenkana ng'empeke ya kaladaali, mwandigambye olusozi luno nti: ‘Vva wano, genda eri,’ ne lugenda; tewaliba kantu ke mutalisobola.”#17,20 Ez'edda zongerako: 21 Kyokka ogw'ekika kino tegugobeka, wabula na kwegayirira na kusiiba.”
Yezu addamu okulanga okubonaabona n'okuzuukira kwe
22 # 16,21; 20,17-19; 26,2; Mar 9,30-32; Luk 9,43-45. Bwe baali bakyakuŋŋaana mu Galilaaya, Yezu n'abagamba nti: “Omwana w'Omuntu agenda kuweebwayo mu mikono gy'abantu; 23balimutta, kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.” Ne banakuwala nnyo.
Omusolo gw'Ekiggwa
24 # Okuv 30,13; 38,26. Bwe baatuuka e Kafarunawumu, abasolooza b'ekitundu kya sekeli#17,24 Oba: durakima ebbiri (ssente bbiri). ne bajja eri Petero, ne bamugamba nti: “Mukama wammwe tawa kitundu kya sekeli?” 25Ye n'addamu nti: “Awa.” Bwe yayingira mu nnyumba, Yezu n'amwesooka n'amugamba nti: “Simoni, olowooza otya? Bakabaka b'ensi bawooza ku baani empooza oba omusolo? Ku baana baabwe bennyini nandiki ku balala?” 26N'agamba nti: “Ku balala.” Awo Yezu n'amugamba nti “Awo nno abaana ba ddembe. 27Kyokka obutabeesittaza, genda mu nnyanja osuulemu eddobo, ekyennyanja ekinaasooka okwambuka kikwate; bw'onooyasamya akamwa kaakyo, onoosangamu sekeli;#17,27 Oba: sitatera; sitatera yali nsimbi eweza durakima nnya (sente 80). gitwale ogibawe ku lwange ne ku lulwo.”
G. ABAYIGIRIZWA BABUULIRIRWA OKULUMIRWAGANA
Obukulu

Currently Selected:

Mat 17: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in