Mat 16
16
1 #
12,38; Luk 11,16. Awo Abafarisaayo #Mar 8,11-12; Luk 11,16.29.n'Abasaddukaayo ne basembera; okumugeza, ne bamusaba abalage akabonero okuva mu ggulu. 2N'ayanukula n'abagamba nti: “Obudde buba buwungeera, mugamba nti: ‘Bunaaba bulungi, kubanga eggulu limyukiridde.’ 3Bwe bukya, nti: ‘Olwa leero kikunta, kubanga eggulu limyukiridde ate likutte.’ Bwe kityo, mumanyi okusoma enfaanana y'eggulu, naye temusobola kusoma bubonero bwa biseera. 4#12,39; Luk 11,29.Ezzadde ebbi era esseegu linoonya akabonero; naye tewali kabonero kajja kuliweebwa, wabula aka Yona.” N'abaleka, n'agenda.
Okwekuuma Abafarisaayo n'Abasaddukaayo
5 #
Mar 8,13-21. Abayigirizwa be bwe bajja emitala w'eri, baali beerabidde okuleeta emigaati. 6#Luk 12,1.N'abagamba nti: “Mwegendereze, mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo n'eky'Abasaddukaayo.” 7Ne beebuuzaganya bokka na bokka nti: “Tetwaleese migaati.” 8Yezu n'ategeera, n'abagamba nti: “Mmwe ab'okukkiriza okutono, lwaki mwebuuzaganya nti temulina migaati? 9#14,17-21.Temunnaba kutegeera? Temujjukira emigaati etaano olw'abantu enkumi ettaano, ebisero bimeka bye mwakuŋŋaanya? 10#15,34-38.Oba n'emigaati omusanvu olw'abantu enkumi ennya, ebisero bimeka bye mwakuŋŋaanya? 11Ekibalobedde okutegeera nga soogedde ku migaati bugaati kiki? Mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo n'eky'Abasaddukaayo.” 12Ne balyoka bategeera nga tabagambye kwekuuma kizimbulukusa kya migaati, wabula enjigiriza y'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo.
Petero ayatula nti Yezu ye Kristu
13 #
Mar 8,27-30; Luk 9,18-21. Awo Yezu n'alaga mu kitundu ky'e Kayisariya ekya Filippo, n'abuuza abayigirizwa be nti: “Omwana w'Omuntu abantu bagamba ye ani?” 14#14,1-2; Mar 6,14-15; Luk 9,7-8.Bo ne bagamba nti: “Abamu nti ye Yowanna Batista, abalala nti ye Eliya, ate abalala nti ye Yeremiya oba omu ku balanzi.” 15N'abagamba nti: “Naye nga mmwe mugamba nze ani?” 16#Yow 6,68-69.Simoni Petero n'ayanukula nti: “Ggwe Kristu, Omwana wa Katonda omulamu.”#16,16 Kristu mu Lweb. Messiya, byombi bitegeeza Omusiige. 17Yezu n'amuddamu nti: “Simoni mutabani wa Yona, weesiimye, kubanga omubiri n'omusaayi si bye byakubikkulidde ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu. 18Nange ka nkubuulire, oli Lwazi,#16,18 Oba: Petero. ku lwazi okwo kwe ndizimba Ekleziya wange; n'emiryango gy'emagombe tegirimusobola. 19#18,18; Yow 20,23.Era ndikuwa ebisumuluzo by'obwakabaka bw'omu ggulu; kyonna ky'olisiba ku nsi, nga ne mu ggulu kisibiddwa; kyonna ky'olisumulula ku nsi, nga ne mu ggulu kisumuluddwa.” 20Awo n'akuutira nnyo abayigirizwa be obutabuulirako muntu nti ye Kristu.
Yezu alanga okubonaabona kwe n'okuzuukira
21 #
Mar 8,31–9,1; Luk 9,22-27. Okuva olwo Yezu n'asooka okutegeeza abayigirizwa be nti yalina okugenda e Yeruzaalemu, n'okubonyaabonyezebwa abakadde, abawandiisi n'abakulu b'abakabona, n'okuttibwa, n'okuzuukizibwa ku lunaku olwokusatu. 22Petero n'amuddira, n'atandika okumukomako, ng'amugamba nti: “Kikafuuwe! Mukama, ekyo tekigenda kukutuukirira.” 23Ye n'akyuka n'agamba Petero nti: “Nva mu maaso, Sitaani! Onfuukidde kyesittazo, kubanga by'olowooza si bya Katonda, wabula by'abantu.”
Engoberera ya Yezu entuufu
24 #
10,38-39; Luk 14,27; 17,33; Yow 12,25. Awo Yezu n'agamba abayigirizwa be nti: “Obanga oli ayagala okungoberera, yeerese, yeetikke omusaalaba gwe, angoberere. 25#10,39; Luk 17,33; Yow 12,25.Kubanga buli alyagala okuwonya obulamu bwe, alibubuza; naye buli alibuza obulamu bwe okubeera nze, alibusanga. 26Kale omuntu kirimugasa ki okulya ensi yonna, sso n'afiirwa obulamu bwe? Ye omuntu aliwaayo ki okununula obulamu bwe? 27#Zab 62,12; Mat 25,31; Rom 2,6.Kubanga Omwana w'Omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe wamu ne bamalayika be; olwo aliweera buli muntu okusinziira ku bikolwa bye. 28Mazima mbagamba nti waliwo abamu ku bayimiridde wano abatalirega ku lumbe okutuusa nga balabye Omwana w'Omuntu ng'ajja mu bwakabaka bwe.”
Yezu afuuka obulala
Currently Selected:
Mat 16: BIBU1
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.